bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 16
Numbers 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Awo Koola, mutabani wa Izukali, Izukali mutabani wa Kokasi, asibuka mu Leevi, ng'ali wamu ne Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, ne Oni mutabani wa Peresi, ab'omu kika kya Lewubeeni,
2
ne bawakanya obukulembeze bwa Musa. Ne beegattibwako Abaisiraeri abalala bibiri mu ataano (250), abakulembeze abaatiikirivu abaalondebwa mu kibiina.
3
Ne balumba Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Muyitirizza okwekuza, kubanga buli muntu mu kibiina mutukuvu, kale lwaki mwegulumiza okusinga ekibiina kya Mukama kyonna?”
4
Awo Musa bwe yakiwulira, ne yeeyala ku ttaka nga yeevuunise.
5
Musa n'agamba Koola nti, “Enkya ku makya Mukama anaatulaga owuwe gw'alonze. Oyo owuwe gw'anaalonda, anaamuleka n'asembera gy'ali.
6
Mukole bwe muti; enkya ku makya, ggwe Koola, ne banno bonna,
7
mutwale ebyoterezo, mubisseeko omuliro n'obubaane nga muli mu maaso ga Mukama. Mukama omuntu gw'analonda ye anaaba omutukuvu; nammwe batabani ba Leevi, muyitirizza okwekuza.”
8
Musa n'agamba Koola nti, “Muwulire nno, mmwe batabani ba Leevi;
9
Mukiyita kitono, Katonda wa Isiraeri okubaawula mmwe mu kibiina ky'Abaisiraeri okubasembeza gy'ali, okukolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okukiweereza?
10
Mukama yakuwa ggwe ne Baleevi banno bonna ekitiibwa ekyo, era mukaayanira n'obwakabona?
11
Lwaki ggwe ne banno mujeemera Mukama; ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?”
12
Musa n'atumya Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu; ne bagamba nti, “Tetujja kujja.
13
Okiyita kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, n'otuleeta okututtira mu ddungu, era n'otwefuulirako omulangira?
14
N'ekirala totuleese mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu; kati oyagala kutubuzaabuza? Tetujja kujja.”
15
Awo Musa n'asunguwala nnyo n'agamba Mukama, nti, “Tokkiriza kiweebwayo kye bakuleetera. Sibaggyangako wadde endogoyi emu, era sirina n'omu ku bo gwe nali nkoze obubi.”
16
Musa n'agamba Koola nti, “Ggwe n'ekibiina kyo kyonna ne Alooni, enkya ku makya mujje mu maaso ga Mukama.
17
Ggwe Koola ne banno ebibiri mu ataano (250) ne Alooni, muddire ebyoterezo byammwe, mubiteekeko obubaane, mu bireete mu maaso ga Mukama.”
18
Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni.
19
Koola n'akuŋŋaanyiza ekibiina kyonna ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu nga boolekedde Musa ne Alooni; ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
20
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
21
“Muve wakati mu kibiina kino ndyoke nkizikirize mangu ago.”
22
Awo Musa ne Alooni ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna?”
23
Mukama n'agamba Musa nti,
24
“Gamba ekibiina nti, ‘Mugolokoke muve awali Weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu.’ ”
25
Musa n'agolokoka n'agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera.
26
N'agamba ekibiina nti, “Mbeegayiridde, muve awali weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyabwe kyonna, muleme okuzikirizibwa olw'ebibi byabwe byonna.”
27
Awo ne bava awali ennyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu. Naye Dasani ne Abiraamu, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe abakulu n'abato ne bafuluma ne bayimirira ku miryango gy'eweema zaabwe.
28
Musa n'agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola.
29
Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo nga tebatuukiddwako kibonerezo kya njawulo; kale Mukama nga teyantuma.
30
Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.”
31
Awo olwatuuka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka eryali wansi waabwe ne lyasama.
32
Ne libamira bo, wamu ne Koola n'abantu be bonna, n'ennyumba zaabwe, n'ebintu byabwe byonna.
33
Ne bakka bonna n'ebyabwe nga balamu mu bunnya, ettaka ne libasanikira ne basaanawo.
34
Abaisiraeri bonna abaali babeetooloodde ne badduka olw'okukaaba kwabwe, nga nabo batya ettaka okubamira.
35
Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano (250) abaawaayo obubaane.
36
Mukama n'agamba Musa nti,
37
“Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, aggye ebyoterezo mu bintu ebyokeddwa, kubanga ebyoterezo ebyo bitukuvu, era asaasaanye amanda g'omuliro agabirimu.
38
Ebyoterezo bya bajeemu abo abaafa biweesebwemu embaati zibikkenga ku kyoto, kubanga baabiwaayo mu maaso ga Mukama, era bitukuvu, binaabanga akabonero eri abaana ba Isiraeri bonna.”
39
Awo Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ekikomo, eby'abantu abayokebwa bye baawaayo, ne babiweesamu embaati ez'okubikkanga ku kyoto,
40
okujjukizanga Abaisiraeri nti buli muntu atali wa lulyo lwa Alooni, alemenga okusembera mu maaso ga Mukama okunyookeza obubaane, sikulwa ng'azikirizibwa nga Koola n'abagoberezi be. Ebyo byonna byakolebwa, nga Mukama bwe yagamba Eriyazaali ng'ayita mu Musa.
41
Naye ku lunaku olwaddirira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti, “Mwasse abantu ba Mukama.”
42
Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira Eweema ey'okusisinkanirangamu; era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.
43
Musa ne Alooni ne bajja mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
44
Mukama n'agamba Musa nti,
45
“Mugolokoke muve wakati mu kibiina kino, mbazikirize mangu ago.” Ne beeyala ku ttaka nga beevuunise.
46
Musa n'agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire; kubanga obusungu bufulumye eri Mukama, kawumpuli atanudde.”
47
Alooni n'addira nga Musa bwe yayogera, n'adduka n'agenda wakati mu kibiina; era, laba, kawumpuli ng'atanudde mu bantu.
48
N'ayimirira wakati w'abafu n'abalamu; kawumpuli n'aziyizibwa.
49
N'abo abaafa kawumpuli baali omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu (14,700), obutassaako abo abaafa olw'ebigambo bya Koola.
50
Alooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu; kawumpuli n'aziyizibwa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36