bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 18
Numbers 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 19 →
1
Mukama n'agamba Alooni nti, “Ggwe ne batabani bo n'ab'omu kika kyammwe, munaavunaanwanga ebinaabanga bisobye mu kifo ekitukuvu. Naye ebinaasobanga mu bwa kabona, binaavunaanwanga ggwe ne batabani bo mwekka.
2
Onooleetanga baganda bo, ab'omu kika kya Leevi, bakuyambenga mu kuweereza. Naye ggwe ne batabani bo, mmwe munaaweerezanga mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
3
Era baganda bo banaakolanga emirimu gy'obalagira, n'emirimu gyonna egy'omu Weema, naye tebasembereranga bintu eby'omu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa newakubadde mmwe.
4
Banaakoleranga wamu naawe, okulabirira Weema ey'okusisinkanirangamu, nga bakola emirimu gyamu gyonna. Naye atali Muleevi, tabasembereranga.
5
Mmwe munaalabiriranga awatukuvu n'ekyoto, nneme kusunguwaliranga baana ba Isiraeri nate.
6
Nange, laba, Nze nnonze baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri, okuba ekirabo gye muli. Baweereddwayo gyendi, Nze Mukama, okukolanga omulimu gw'obuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu.
7
Naye ggwe ne batabani bo munaakolanga omulimu gwammwe ogw'obwakabona ogw'oku kyoto n'awatukuvu. Okuweereza mu bwakabona, nkibawa mmwe ng'ekirabo. Omuntu omulala yenna anaasembereranga ebintu ebitukuvu, anattibwanga.”
8
Mukama n'agamba Alooni nti, “Laba, Nze nkuwadde ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, mbiwadde ggwe ne batabani bo, olw'okufukibwako amafuta, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna.
9
Ku bintu byonna ebitukuvu ennyo ebiweebwayo, ebinaafikkangawo ku by'okwokebwa, bino bye binaabanga ebyammwe: ku buli kye bawaayo eky'obutta, na ku buli kye bawaayo olw'ekibi, na buli kye bawaayo olw'omusango, bye banaaleetanga, binaabanga bitukuvu nnyo, binaabanga bibyo ne batabani bo.
10
Onoobiriranga mu kifo ekitukuvu, buli musajja yenna akkirizibwa okubiryangako. Binaabanga bitukuvu gye muli.”
11
“Era na bino bibyo: ebiweebwayo ebisitulibwa byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo, okuba omugabo gwammwe ennaku zonna; na buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaabiryangako.”
12
“Era nkuwadde amafuta gonna agasinga obulungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, n'ebibereberye ku ebyo bye banaawanga Mukama.
13
Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; na buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaabiryangako.
14
Buli kintu ekinaawongebwanga mu Isiraeri kinaabanga kikyo.
15
Buli ekiggulanda ekiweebwayo eri Mukama, oba nga muntu oba nsolo binaabanga bibyo. Naye on'okkirizanga ensimbi ez'okununula omwana omugulanda, era on'okkirizanga ensimbi ez'okununulanga ensolo eteri nnongoofu.
16
Abaana banaanunulibwanga nga ba mwezi gumu, ku muwendo omugereke ogwa sekeri ttaano eza ffeeza, ez'ekipimo ekitongole eky'omu kifo ekitukuvu, ze gera abiri (20) buli sekeri.
17
Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tozinunulanga ezo, ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
18
N'ennyama yaazo eneebanga yiyo, ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekya ddyo binaabanga bibyo
19
Byonna ebiweebwayo ebisitulibwa ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna; ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo.
20
Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri.”
21
“Era, laba, abaana ba Leevi mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi, abaana ba Isiraeri bye bawaayo okuba omugabo gwabwe n'empeera yaabwe olw'okuweereza kwe baweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
22
N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga Weema ya kusisinkanirangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa.
23
Naye Abaleevi, be banaakolanga omulimu ogw'okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu, era be banaavunaanyizibwanga ebyayo ebinaabanga bisobye. Lino lye tteeka ery'olubeerera, erinaakolanga ne ku bazzukulu bammwe, nti Abaleevi tebabanga na ttaka lya nsikirano,
24
Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika. Kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.”
25
Mukama n'agamba Musa nti,
26
Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti, “Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi, bye mbawadde mmwe okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu ebyo eby'ekkumi.
27
Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga ng'omulimi ky'awaayo, eky'emmere ey'empeke, gy'aggye mu gguuliro, n'eky'omwenge ogw'emizabbibu gw'aggye mu ssogolero, bwe kimubalirwa.
28
Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byammwe byonna eby'ekkumi abaana ba Isiraeri bye babawa, okuwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; era munaggyanga ku byo okuwa Alooni kabona ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa.
29
Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo.
30
Kyonoova obagamba nti, ‘Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero.
31
Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe; kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
32
Temuubeenga na musango okubirya, kasita munaamalanga okuwa Mukama ebisinga obulungi ku byo. Naye mwekuumenga obutavumaganyanga bitone Abaisiraeri bye bawaayo, nga mubaako bye mulya nga temunnawaayo eri Mukama ekitundu ekyo ekisinga obulungi. Bwe munaabiryangako nga temumaze ku kiwaayo, temulirema kufa.’”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36