bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 25
Numbers 25
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
1
Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu.
2
Abamowaabu baayitanga aba Isiraeri okugenda ku mbaga ze bakoleranga ba katonda babwe; ne balya era ne bavunamira ba katonda baabwe.
3
Isiraeri ne yeegatta ne Baali ow'e Pyoli; obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri.
4
Mukama n'agamba Musa nti, “Twala abakulembeze b'abantu bonna obattire mu maaso gange emisana ttuku; ekiruyi kyange kiryoke kive ku Isiraeri.”
5
Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti, “Buli muntu atte abasajja be abasinzizza Baali ow'e Pyoli.”
6
Mu kaseera ako, omu ku Baisiraeri n'aleeta mu weema ye omukazi Omumidiyaani, nga Musa n'Abaisiraeri bonna balaba, bwe baali nga bakungubagira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
7
Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, bwe yakiraba n'agolokoka n'ava wakati mu kibiina, n'akwata effumu lye;
8
n'agoberera omusajja Omuisiraeri n'omukazi Omumidiyaani mu weema gye baali, n'abafumita effumu ne libayitamu bombi. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri.
9
N'abo abaafa kawumpuli baali emitwalo ebiri mu enkumi nnya (24,000).
10
Mukama n'agamba Musa nti,
11
“Olw'ekyo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona, ky'akoze, akkakanyizza ekiruyi kyange ne sizikiriza baana ba Isiraeri.
12
Kale nno mugambe nti nkola naye endagaano ey'emirembe;
13
era eneebanga endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo, eri ye n'ezadde lye eririmuddirira, kubanga yakkakkanya ekiruyi kyange n'atangirira abaana ba Isiraeri.”
14
Era omusajja Omuisiraeri eyattirwa, awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye yali Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'emu ku nnyumba ez'omu kika kya Simyoni.
15
N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye yali Kozebi muwala wa Zuuli; eyali akulira abamu ku bakulu b'ennyumba mu bika bya Bamidiyaani.
16
Mukama n'agamba Musa nti,
17
“Lumba Abamidiyaani obatte,
18
kubanga balabe bammwe. Baabaasalira enkwe ne babasenderasendera e Pyoli, ne musobya; n'olwa Kozebi, mwannyinaabwe, muwala w'omukulu wa Midiyaani, eyattirwa ku lunaku lwa kawumpuli e Pyoli.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36