bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 1
Jeremiah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 2 →
1
Bino bye bigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Hilukiya, omu ku bakabona b'e Anatooti, mu nsi ya Benyamiini.
2
Mukama yayogera ne Yeremiya, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya.
3
Era yayogera naye nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka. N'oluvannyuma Mukama yayogera naye emirundi mingi, okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, ogw'obufuzi bwa Ssekabaka Zeddeekiya mutabani wa Yosiya. Mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogwo, abantu b'omu Yerusaalemu mwe baatwalirwa mu buwaŋŋanguse.
4
Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
5
“Nakulonda nga sinnakubumba mu lubuto lwa nnyoko. Era nakutukuza nga tonnazaalibwa, ne nkuteekawo okuba omulanzi eri amawanga.”
6
Awo nze ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, simanyi kwogera, ndi mwana muto.”
7
Naye Mukama n'aŋŋamba nti: “Togamba nti oli mwana muto. Naye genda eri abo gye nkutuma, era obategeeze byonna bye nkulagira okwogera.
8
Tobatyanga, kubanga Nze ndi wamu naawe okukuwonya. Nze Mukama, Nze njogedde.”
9
Awo Mukama n'agolola omukono gwe, n'akwata ku mimwa gyange, n'aŋŋamba nti: “Kaakano ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.
10
Olwaleero nkuwadde obuyinza ku mawanga ne ku bwakabaka, okukuula n'okumenya, okuzikiriza n'okusuula, okuzimba n'okusimba.”
11
Awo Mukama n'ambuuza nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ettabi ly'omuti gw'ebinyeebwa.”
12
Mukama n'aŋŋamba nti: “Olabye bulungi, kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.”
13
Mukama n'aŋŋamba omulundi ogwokubiri nti: “Kiki ekirala ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba entamu mu bukiikakkono, eyeesera nga yeewunzikidde eno.”
14
Mukama n'aŋŋamba nti: “Akabi kalifuluma mu bukiikakkono okutuuka ku bantu bonna abali mu ggwanga lino.
15
Ndiyita amawanga gonna ag'omu bwakabaka obw'omu bukiikakkono. Bakabaka baayo balijja ne bateeka entebe zaabwe ku miryango gya Yerusaalemu, n'okwetooloola ebisenge byakyo, n'okwetooloola ebibuga ebirala ebya Buyudaaya.
16
Ndisalira abantu bange omusango okubasinga olw'ebibi byabwe, kubanga bandeseewo ne bootereza balubaale obubaane, era ne basinza ebyo bo bennyini bye baakola.
17
Kale ggwe, situka weesibe ekimyu, obategeeze byonna bye nkulagira okwogera. Baleme kukutiisa, sikulwa nga Nze nkutiisa mu maaso gaabwe.
18
Olwaleero nkufudde ekibuga ekinywevu, empagi ey'ekyuma, era ekisenge eky'ekikomo, okulwanyisa ensi Buyudaaya yonna: bakabaka baayo, abakungu ne bakabona baayo, n'abantu baayo bonna.
19
Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula, kubanga Nze ndi wamu naawe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52