bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 49
Jeremiah 49
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 50 →
1
Bino Mukama bye yayogera ku Bammoni: “Tewali basajja mu Yisirayeli? Tewali bayinza kutaasa nsi yaabwe? Kale lwaki baleka abantu abasinza Milukomu okwefuga ekitundu ky'ab'Ekika kya Gaadi, ne bakisengamu?
2
Naye ekiseera kijja kutuuka, lwe ndiwuliza eŋŋoma z'olutalo nga zirayira mu Rabba, ekibuga ky'Abammoni ekikulu. Era kirirekebwa matongo, n'abantu baamu balyokebwa omuliro. Olwo Yisirayeli alyeddiza ekitundu kye ekyamunyagibwako.
3
Ab'e Hesubooni, mukube ebiwoobe, kubanga Ayi kinyagiddwa. Abakazi b'e Rabba, mwambale ebikutiya mukungubage. Mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate. Lubaale wammwe Milukomu anaatwalibwa mu busibe, awamu ne bakabona be, n'abakungu be.
4
Bantu mmwe abatali beesigwa, lwaki mwenyumiriza? Amaanyi gabawedde! Mwesigira ki obugagga bwammwe, nga mugamba nti: ‘Ani anaatulumba?’
5
Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nja kubaleetera entiisa okuva mu bonna ababeetoolodde. Mwenna mulidduka ne wataba akumaakuma magye gammwe.
6
“Naye oluvannyuma ndizzaawo ebirungi by'Abammoni. Nze Mukama, Nze njogedde.”
7
Bino Mukama, Nnannyinimagye bye yayogera ku Edomu: “Mu bantu b'e Temani temukyali bagezi? Abajagujagu tebakyamanyi kuteesa? Amagezi gaabwe gagenze?
8
Mmwe ab'e Dedani, mukyuke mudduke! Mwekweke! Ŋŋenda okuzikiriza bazzukulu ba Esawu, kubanga ekiseera kituuse, mbabonereze.
9
Abanoga emizabbibu balekako egimu, n'ababbi bwe bajja ekiro, batwalako ebyo bye baagala.
10
Naye Nze nnyambulidde ddala bazzukulu ba Esawu ne mbaleka bwereere, ne mbikkula ebifo bye beekwekamu, nga tebakyayinza kwekweka. Abantu ba Edomu bazikiriziddwa bonna, tewasigaddeewo n'omu.
11
Muleke bamulekwa bammwe, Nze nja kubalabirira. Ne bannamwandu bammwe banneesige.
12
“Oba nga n'abatasaanidde kubonerezebwa, nabo babonerezebwa, ne mulowooza nti temulibonerezebwa? Temugenda kutalizibwa, naye mulibonerezebwa.
13
Nneerayiridde nzennyini nti ekibuga Bozura kirifuuka ekyennyamiza, matongo, kivumo, era kikolimo. N'ebyalo ebiriraanyeewo biriba matongo ga lubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.”
14
Ne ŋŋamba nti: “Edomu, mpulidde obubaka obuva eri Mukama. Atumye omubaka okutegeeza amawanga gakuŋŋaanye amagye gaago okukulwanyisa.
15
Mukama agenda kukufuula mutono mu mawanga, onyoomebwenga mu bantu.
16
Okwekulumbaza kwo kukulimbye. Tewali akutya nga ggwe bw'olowooza. Obeera mu njatika ez'omu lwazi, waggulu ku ntikko z'ensozi. Naye ne bw'onoobeera waggulu ng'empungu, Mukama alikuwanulayo.”
17
Mukama agamba nti: “Akabi akalituuka ku Edomu, kaliba ka ntiisa, buli anaayitangawo okumpi, aneewuunyanga n'awuniikirira.
18
Nga Sodoma ne Gomora n'ebibuga ebiriraanyeewo bwe byazikirizibwa, n'ensi Edomu bw'erizikirizibwa n'eteddayo kubeerangamu bantu. Nze Mukama, Nze njogedde.
19
“Ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu eby'oku Mugga Yorudaani, n'erumba amalundiro amalungi, nange bwe ndijja ne ngoba Abeedomu mu nsi yaabwe amangwago. Olwo omukulembeze gwe ndironda ye alifuga mu Edomu. Ani ayinza okwegeza ku Nze? Ani ayinza okunvuganya? Mufuzi ki ayinza okumpakanya?
20
Kale muwulire kye nteesezza okukola ku bantu ba Edomu, ne kye mmaliridde okukola ku bantu b'omu Kibuga Temani. N'abaana baabwe abato balikululibwa, buli omu ne yeesisiwala.
21
Edomu bw'aligwa, walibaawo okwedomola okulikankanya ensi, n'eddoboozi ly'okukaaba kwabwe liriwulirwa ku Nnyanja Emmyufu.
22
Omulabe alirumba Bozura ng'empungu ekka ng'eyanjuluzza ebiwaawaatiro. Ku lunaku olwo abaserikale ba Edomu balitya ng'omukazi alumwa okuzaala.”
23
Bino Mukama bye yayogera ku Damasiko: “Ab'omu bibuga Amati ne Arapaadi beeraliikiridde, era basobeddwa, kubanga bafunye amawulire agatiisa. Okweraliikirira kubasiikudde emitima, ng'amayengo bwe gasiikuula ennyanja. Tebayinza kutereera.
24
Abantu b'e Damasiko baweddemu amaanyi, era badduse nga batidde. Bali mu bulumi ne mu buyinike, ng'omukazi alumwa okuzaala.
25
Ekibuga ekimanyifu era ekyabeerangamu essanyu, kirekeddwa awo ttayo.
26
Ku lunaku olwo abavubuka baakyo balittirwa mu nguudo zaakyo, n'abaserikale baakyo bonna balizikirizibwa. Bwe ntyo bwe ŋŋamba Nze Mukama Nnannyinimagye.
27
Nditeekera omuliro ku bisenge bya Damasiko, ne gwokya amayumba ga Kabaka Benadaadi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
28
Bino Mukama bye yayogera ku Kika kya Kedari ne ku bitundu ebifugibwa Azori, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya bye yawangula: “Mulumbe abantu b'e Kedari, muzikirize ekika ky'abantu b'ebuvanjuba.
29
Munyage eweema zaabwe n'embuzi zaabwe, mutwale entimbe zaabwe, n'ebintu ebirala mu weema zaabwe. Mutwale eŋŋamiya zaabwe, mugambe abantu nti: ‘Entiisa ebali ku njuyi zonna!’
30
“Abantu be Azori, Nze Mukama mbalabula nti mudduke, mugende mwekweke wala, kubanga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya abeekobedde okubakola akabi, era agamba nti:
31
‘Mujje tulumbe abantu abo abawulira nga bali mirembe. Ekibuga kyabwe tekiriiko nzigi, wadde ebisiba, era tekikuumibwa.’
32
“Munyage eŋŋamiya n'ensolo zaabwe endala zonna. Nja kusaasaanyiza mu njuyi zonna abantu abo abasala ku nviiri zaabwe ne baziyimpawaza. Era ndibatusaako akabi nga kava mu njuyi zonna.
33
Azori kirifuuka ddungu lya lubeerera, ekifo omubeera ebibe. Abantu tebaliddayo kusengamu. Temuubeerenga muntu n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
34
Zeddeekiya nga kyajje afuuke kabaka wa Buyudaaya, Mukama, n'ayogera nange ebifa ku nsi ya Elamu, n'agamba nti:
35
“Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nditta abalasi b'obusaale bonna, abafudde Elamu ey'amaanyi.
36
Ndikunsiza Elamu embuyaga eva ku njuyi zonna, ndisaasaanya abantu baayo, ne watabeera ggwanga na limu lye bataddukiddeemu.
37
Ndireetera ab'e Elamu okutya abalabe baabwe abaagala okubatta. Ndibatuusaako akabi mu busungu bwange obungi, era ndisindika amagye gye bali, okutuusa lwe ndibasaanyaawo.
38
Ndizikiriza bakabaka baabwe, ne nteekayo entebe yange ey'obwakabaka.
39
Naye oluvannyuma, ndizzaawo ebirungi bya Elamu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52