bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 8
Jeremiah 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 9 →
1
“Mu biro ebyo amagumba ga bassekabaka n'ag'abakungu ba Buyudaaya, n'amagumba ga bakabona n'ag'abalanzi, n'ag'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu, galiggyibwa mu ntaana zaabwe.
2
Mu kifo ky'okugakuŋŋaanya ne gaziikibwa, galirekebwa kungulu ng'obusa. Baligaaliira mu maaso g'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye zonna ez'oku ggulu, abantu abo bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, bye beebuuzangako era bye baasinzanga.
3
Abantu b'omu ggwanga lino ebbi abawonyeewo yonna gye baabasaasaanyiza, balyagala okufa okusinga okuba abalamu. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.”
4
Awo Mukama n'andagira okugamba abantu nti: “Abantu bwe bagwa, tebayimuka nate? Omuntu bw'awaba, n'ayisa ekkubo, tadda mabega?
5
Kale mmwe abantu bange, lwaki bulijjo muwaba ne munvaako? Mwesiba ku bya bulimba ne mugaana okudda gye ndi!
6
Nawuliriza ne mpulira, naye temwayogera bya mazima. Tewali n'omu ku mmwe yeenenya bibi bye. Tewali yeebuuza nti: ‘Nkoze ki?’ Buli muntu yeeyongera kugenda mu maaso ng'embalaasi efubutuka okukaga mu lutalo.
7
Wadde ne bissekanyolya bimanya ekiseera eky'okuddiramu. Enjiibwa n'obutaayi ne nnamunye bimanya ekiseera eky'okusengukiramu. Naye abantu bange tebamanyi mateeka Nze Mukama ge mbafugirako.
8
Muyinza mutya okugamba nti: ‘Tuli bagezi, era ffe tulina amateeka ga Mukama,’ ng'abawandiisi bagawandiise bagakyamizza?
9
Abagezi baswazibwa, bakwatibwa mu bigambo ne basekererwa. Nga bwe bagaanye ebigambo byange, magezi ki ge balina?
10
Bakazi baabwe kyendiva mbagabira abasajja abalala, n'ennimiro zaabwe ne nziwa abantu abalala, kubanga bonna, ka babe bakulu oba bato, balulunkanira kufuna magoba mu bukumpanya. Wadde abalanzi ne bakabona, nabo balyazaamaanyi.
11
Era ebiwundu by'abantu bange, babiwonya kungulu kwokka, ne bagamba nti: ‘Byonna biri bulungi,’ sso nga tebiri bulungi.
12
Abantu bange bwe baamala okukola ebyo byonna ebyenyinyalwa, baawulira okuswala? Nedda tebaawulira kuswala n'akatono. Tebakyakwatibwa nsonyi. Kyebaliva bagwira awamu n'abo abagwa. Bwe ndibabonereza, eyo ye eriba enkomerero yaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.
13
“Nayagala okukuŋŋaanya abantu bange, ng'omuntu bw'akuŋŋaanya by'akungula, naye bali ng'omuzabbibu ogutaliiko mizabbibu, n'omutiini ogutaliiko mitiini. N'ebikoola biwotose. Kale ne bye nabawa, biribaggyibwako.”
14
Abantu ba Mukama bagamba nti: “Lwaki tutuula obutuuzi? Mukuŋŋaane, tugende tuyingire mu bibuga ebiriko ebigo, tufiire eyo, kubanga Mukama Katonda waffe atuwaddeyo tufe. Atuwadde amazzi agalimu obutwa tunywe kubanga twakola ebibi ne tumunyiiza.
15
Twasuubira okufuna emirembe, n'ekiseera eky'okuwonyezebwamu, naye ne wataba kalungi ke twafuna. Tuutuno twajjirwa entiisa.
16
Abalabe baffe bamaze okutuuka mu kibuga ky'e Daani, tuwulira embalaasi zaabwe bwe zifugula. Bwe zikaaba, eddoboozi lyazo likankanya ensi. Bazze okuzikiriza ensi yaffe ne byonna ebigirimu, ekibuga kyaffe, n'abakibeeramu bonna.”
17
Mukama agamba nti: “Mulabe, nsindika mu mmwe emisota, amasalambwa agatayinza kulogebwa, era galibaluma.”
18
Nze Yeremiya zinsanze! Nga mbonyeebonye nnyo! Nfudde! Nsobeddwa obulamu bwange, omutima gwange gwennyamidde.
19
Wulira mu ggwanga lyonna abantu bwe bayoogaana! Baleekaana nti: “Mukama takyali mu Siyooni? Kabaka waakyo takyakirimu?” Mukama n'abaddamu nti: “Lwaki munsunguwaza nga musinza ebyo mwennyini bye mwekolera, nga muvuunamira balubaale?”
20
Abantu baleekaana nti: “Amakungula gayise, naye eŋŋaano tekuŋŋaanye.”
21
Nnumwa nnyo olw'abantu bange ababonaabona! Nnakuwadde era nnennyamidde!
22
Teri ddagala mu Gileyaadi? Tekyaliyo musawo? Kale kiki ekirobedde abantu bange okuwona?
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52