bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 25
Jeremiah 25
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 26 →
1
Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, ne nfuna obubaka bwa Mukama obufa ku bantu b'omu Buyudaaya. Ogwo gwe gwali omwaka ogusooka, nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooni.
2
Ne ŋŋamba ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti:
3
“Okuva mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya, n'okutuusa kati, gye myaka amakumi abiri mu esatu, Mukama abadde ayogera nange, era sirekangayo kubategeeza by'ayogedde. Naye mmwe mwagaana okuwuliriza.
4
Mwagaana okuwuliriza, wadde okussaayo omwoyo, newaakubadde nga Mukama yayongera okubatumiranga abaweereza be abalanzi.
5
Baabagambanga nti: ‘Buli muntu ave mu mpisa ze embi, era alekeyo ebikolwa bye ebibi, mulyoke musobole okubeeranga mu nsi, Mukama gye yabawa mmwe ne bajjajjammwe, okuba obutaka bwammwe.
6
Temuusinzenga balubaale, wadde okubaweerezanga, muleme kunyiiza Mukama nga musinza ebyo abantu bye bakola. Mukama bwe mulimuwulira, talibakolako kabi.’
7
Naye Mukama yennyini agamba nti mwagaana okumuwulira. Bwe mutyo ne mumusunguwaza olw'ebyo bye mukola, ne mwereetera okubonerezebwa.
8
“Mukama Nnannyinimagye kyava agamba nti: ‘Nga bwe mugaanye okuwulira bye ŋŋamba,
9
nja kutumya abantu bonna ab'omu bukiikakkono, n'omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni, mbaleete, balwanyise ab'omu Buyudaaya, n'ab'omu mawanga gonna agaliraanyeewo. Ndizikiririza ddala eggwanga lino, n'agaliriraanye, ne ngafuula eky'entiisa, ekinyoomebwa, era amatongo ag'olubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.
10
“ ‘Ndisirisa amaloboozi g'abajaguza n'abajaganya, n'essanyu ly'abali ku mbaga z'obugole. Tebalisiga ŋŋaano, era tebaliba na mafuta ga ttaala.
11
Ensi eno yonna eriba matongo ag'entiisa, era amawanga agaliraanyeewo galiweereza kabaka wa Babilooni okumala emyaka nsanvu.
12
Emyaka ensanvu bwe giriyitawo, ne mbonereza kabaka wa Babilooni n'ab'omu ggwanga eryo, olw'ebibi byabwe. Ndizikiriza eggwanga eryo, ne ndifuula amatongo ennaku zonna.
13
Era ndituusa ku nsi eyo byonna bye nalangirira ku mawanga gonna, nga mpita mu Yeremiya, ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
14
Ndyesasuza ku Bakaludaaya olw'ebyo bye baakola. Amawanga mangi, ne bakabaka abakulu, balibafuula abaddu.’ ”
15
Awo Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti: “Kwata ekikopo ekiri mu ngalo zange, ekijjudde obusungu bwange, okinyweseeko ab'amawanga gonna gye nkutuma.
16
Balikinywako ne batagatta, ne balaluka olw'olutalo lwe ndisindika mu bo.”
17
Awo ne nzigya ekikopo mu ngalo za Mukama, ne nkinywesaako ab'amawanga gonna, Mukama gye yantuma.
18
Ab'omu Yerusaalemu n'ab'omu bibuga byonna ebya Buyudaaya, wamu ne bakabaka n'abakungu baamu, ne bakinywesebwako, ebibuga ebyo biryoke bifuuke matongo ag'entiisa era aganyoomebwa, abantu bakozesenga amannya gaabyo nga bakolima, ng'era bwe bakola kaakano.
19
Abalala abalinywesebwa ku kikopo ekyo be bano: kabaka wa Misiri, n'abaweereza be, n'abakungu be, n'abantu be bonna,
20
n'abagwira bonna abali mu Misiri, ne bakabaka bonna ab'omu nsi ya Wuuzi, ne bakabaka bonna ab'omu bibuga by'Abafilistiya eby'e Asukelooni ne Gaaza ne Ekurooni, n'abasigaddewo mu Asudoodi;
21
abantu bonna ab'omu Edomu, ne Mowaabu ne Ammoni;
22
ne bakabaka bonna ab'e Tiiro ne Sidoni; ne bakabaka bonna ab'ensi ezeetoolodde Ennyanja Eyaawakati,
23
n'ab'omu bibuga Dedani ne Tema ne Buuzi, n'abantu bonna abasala ku nviiri zaabwe;
24
ne bakabaka bonna ab'e Buwarabu, ne bakabaka bonna ab'abantu ababeera mu ddungu,
25
ne bakabaka bonna ab'e Zimuri ne Elamu ne Mediya;
26
ne bakabaka bonna ab'omu bukiikakkono, ab'ewala n'ab'okumpi, buli kinnoomu. Ab'omu mawanga gonna balikinywesebwako. Kabaka wa Sesaki ye alisembayo okukinywako.
27
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Tegeeza abantu nti Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Munywe, mutamiire, museseme, mugwe wansi, muleme kusitukawo, olw'olutalo lwe ndisindika mu mmwe.’
28
Bwe baligaana okukwata ekiri mu mukono gwo okukinywako, olibagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye agamba nti muteekwa okukinywako,’
29
kubanga nditandikira ku kibuga kyange kyennyini okukola akabi. Balowooza nti bo be baliwona okubonerezebwa? Nedda, tebaliwona kubonerezebwa, kubanga ndisindika olutalo mu bantu bonna abali ku nsi. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.
30
“Kale ggwe Yeremiya, olirangirira byonna bye njogedde. Oligamba abantu abo nti: ‘Mukama aliwuluguma ng'asinzira mu ggulu, alibwatuka ng'asinziira mu kifo kye ekitukuvu. Alibwatukira abantu be n'aleekaana ng'abo abasamba emizabbibu, awulize bonna abali ku nsi.
31
Eddoboozi lye lirituuka ensi gy'ekoma, kubanga waliwo omusango Mukama gw'avunaana amawanga. Aliwozesa abantu bonna. Ababi alibawaayo okuttibwa. Mukama ye ayogedde.’ ”
32
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Akabi kaliranda, okuva ku ggwanga erimu, okudda ku ddala, era kibuyaga ow'amaanyi alikunta, okuva ku nsonda z'ensi ez'ewala.
33
Ku lunaku olwo, emirambo gy'abo Mukama b'alitta, girisaasaanira wonna, okuva ensi gy'etandikira, okutuuka gy'ekoma. Tebalikungubagirwa, era tebalikuŋŋanyizibwa ne baziikibwa. Balisigala kungulu ng'obusa.
34
Muleekaane mmwe abakulembeze, mukube ebiwoobe! Mmwe abalabirira abantu bange mwekulukuunye mu nfuufu, kubanga ekiseera kituuse muttibwe era mwasibweyasibwe ng'ekibya eky'omuwendo ekigudde ne kyatikayatika.
35
Temulibaako buddukiro, era temulibaako we muwonera.
36
Muwulire emiranga abakulembeze gye batema, n'okuleekaana kw'abo abalabirira abantu! Mukama asaanyizzaawo eggwanga lyabwe,
37
era ensi yaabwe eyabeerangamu emirembe, Mukama mu busungu bwe agifudde matongo.
38
Mukama ayabulidde abantu be, ng'empologoma bw'eva mu mpuku yaayo. Entiisa y'olutalo n'ekiruyi kya Mukama, ensi yaabwe bigifudde matongo!”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52