bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 15
Jeremiah 15
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 16 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Musa ne Samweli ne bwe bandiyimiridde mu maaso gange ne beegayirira, era sandikwatiddwa bantu bano kisa. Bagobe mu maaso gange bagende.
2
Bwe bakubuuza nti: ‘Tugende, tulage wa?’ Bategeeze nti Mukama agambye nti: ‘Ab'okufa kawumpuli, bagende eri kawumpuli. Ab'okufiira mu lutalo, bagende eri olutalo. Ab'okufa enjala, bagende eri enjala. Ab'okutwalibwa mu busibe bagende mu busibe.’
3
Nze Mukama mbateereddewo engeri nnya ez'okubazikiriza: okufiira mu lutalo n'okutaagulwa embwa, okubojjogolwa ebinyonyi, n'okukavvulwa ebisolo eby'omu ttale.
4
Ndibafuula ekyekango eri abantu bonna ku nsi, olw'ebyo Manasse mutabani wa Heezeekiya bye yakola mu Yerusaalemu, nga ye kabaka wa Buyudaaya.”
5
Mukama agamba nti: “Ggwe Yerusaalemu, alikusaasira ani? Wadde alikyama ani abuuze ggwe bw'oli?
6
Ggwe waŋŋaana n'onkuba amabega. Kyenvudde nkugololera omukono ne nkuzikiriza. Nkooye okusaasira.
7
Mu buli kibuga mu nsi eno mmwe abantu bange nabawewa ng'ebisusunku. Natta abaana bammwe ne mbazikiriza mmwe, kubanga mwalemera mu mpisa zammwe embi.
8
Bannamwandu mu nsi yammwe bangi okusinga omusenyu ku lubalama lw'ennyanja. Nattira abavubuka bammwe mu maanyi, bannyaabwe ne balumwa. Nabatuusaako obuyinike n'entiisa nga tebamanyiridde.
9
Eyazaala abaana omusanvu azirise, obulamu bumuggwaamu! Obudde bwe obw'emisana bumufuukidde bwa kiro. Akwatiddwa ensonyi, aswadde! Ndireka abalabe bammwe ne batta nammwe abakyali abalamu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
10
Nga zinsanze nze! Mmange yanzaalira ki? Ndi wa kuyomba na kuwakana na buli omu ku nsi? Siwolanga nsimbi era tewali yali ampoze, naye buli muntu ankolimira.
11
Kale ayi Mukama, ebikolimo byabwe bituukirire bwe mba nga saakuweereza bulungi, era bwe mba nga saasabira mulabe wange ng'ali mu buzibu ne mu buyinike.
12
Tewali ayinza kumenya kyuma naddala ekyuma ekiva mu nsi y'ebukiikakkono, ekitabuddwamu ekikomo.
13
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ebintu n'obugagga eby'abantu bange, nja kubiwaayo binyagibwe, olw'ebibi bye bakoze mu ggwanga lyonna.
14
Ndibafuula baddu ba balabe baabwe, mu nsi gye batamanyi, kubanga obusungu bwange, bwaka ng'omuliro, era tegujja kuzikira.”
15
Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, ggwe omanyi. Nzijukira onnyambe, owoolere eggwanga ku abo abangigganya. Tobagumiikiriza, kubawa budde bwa kunzita. Jjukira nga nvumibwa ku lulwo.
16
Wayogera nange, ne mpuliriza buli kigambo. Ndi wuwo, ayi Mukama, Katonda Nnannyinimagye. Ebigambo byo kyebyava bireetera omutima gwange essanyu n'okujaganya.
17
Saatuula na bantu balala mu kusanyuka ne mu binyumu. Naye nga bwe wandagira, natuula nzekka nga nzijudde obusungu.
18
Lwaki mba mu bulumi obw'olubeerera? Lwaki ekiwundu kyange tekiwona? Lwaki kisamba eddagala? Onfuukidde kagga akateesigwa akaggwaamu amazzi mu kyeya?”
19
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Bw'olidda gye ndi, ndikuzza ku mulimu n'oddamu okumpeerezanga. Bw'onoova ku kwogera ebitagasa, n'oyogera eby'omugaso, oliddamu okwogera ku lwange. Abantu balidda gy'oli n'oteetaaga kugenda gye bali.
20
Ndikufuula ekisenge eky'ekikomo gye bali. Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula. Ndi wamu naawe okukukuuma n'okukuwonya.
21
Ndikutaasa obuyinza bw'ababi, era ndikuwonya abakambwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52