bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 19
Jeremiah 19
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 20 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, genda ogule ensumbi ey'ebbumba, otwale abamu ku bantu abakulu mu ggwanga, n'abamu ku bakabona abakulu,
2
ofulumire mu mulyango gw'Enzigyo, olage mu kiwonvu Beninnomu. Eyo gy'onoolangiririra obubaka bwe nnaakuwa.
3
Ojja kugamba nti: ‘Mmwe bakabaka ba Buyudaaya, nammwe abantu b'omu Yerusaalemu, muwulire obubaka bwa Mukama. Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Nja kuleeta akabi ku kifo kino, akaliwaawaaza amatu ga buli omu alikawulirako.
4
Nja kukola ekyo, kubanga abantu bange banvaako ne bootereza balubaale obubaane, bo bennyini ne bajjajjaabwe, wadde bakabaka ba Buyudaaya, be batamanyangako, era bajjuzza ekifo kino omusaayi gw'abantu abatalina musango.
5
Era bazimbidde lubaale Baali ebifo ebigulumivu, okwokerako batabani baabwe ng'ebitambiro eri lubaale oyo. Ekyo Nze sikibalagiranga, era tekinzijirangako na mu birowoozo.
6
Kale ekiseera kijja kutuuka, ekifo kino kibe nga tekikyayitibwa Tofeti oba Ekiwonvu Beninnomu, naye kinaayitibwanga Kiwonvu kya Ttambiro.
7
Mu kiwonvu kino, mwe ndisaanyizaawo ebyo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu bye bateesa. Ndireka abalabe baabwe ne babawangula, era ne babattira mu lutalo. Emirambo gyabwe ndigigabula ebinyonyi n'ebisolo ne bigirya.
8
Ndizikiriza ekibuga kino. Buli ayitawo anaakwatanga mu mumwa, nga yeewuunya eby'entiisa ebikituuseeko.
9
Abalabe balikizingiza okutta abakirimu. Mu kuzingizibwa okwo, abakirimu baliryaŋŋana, era balirya n'abaana baabwe.’ ”
10
“Awo n'olyoka oyasa ensumbi eyo, ng'abantu abaagenze naawe balaba,
11
n'obagamba nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Bwe ntyo bwe ndibetenta abantu bano n'ekibuga kino, ng'omuntu bw'ayasa ekintu eky'ebbumba, ekitayinza kuddamu kuyungibwa. Abantu baliziika ne mu Tofeti, olw'obutaba na kifo kirala kya kuziikamu.
12
Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino n'abakibeeramu, ne nfuula ekibuga kino nga Tofeti.
13
Ennyumba z'omu Yerusaalemu, n'eza bakabaka ba Buyudaaya, era n'ennyumba zonna mwe baayoterezanga obubaane eri emmunyeenye, n'ezo mwe baafukiranga ebyokunywa ebiweebwayo eri balubaale, zonna ziriba nnyonoonefu nga Tofeti.’ ”
14
Awo ne nva e Tofeti, Mukama gye yali antumye okulangirira obubaka bwe.
15
Ne ŋŋenda ne nnyimirira mu luggya lw'Essinzizo, ne ntegeeza abantu nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Ndituusa akabi ku kibuga kino, ne ku bubuga obukiriraanye, ke nagamba okukituusaako, kubanga abantu bakakanyazizza emitima gyabwe, ne batawuliriza bye mbagamba.’ ”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52