bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 28
Jeremiah 28
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 29 →
1
Mu mwaka ogwo gwennyini, mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogwokuna nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Ananiya mutabani wa Azzuri era omulanzi ow'e Gibiyoni, n'ayogera nange mu Ssinzizo, bakabona n'abantu bonna nga weebali. N'aŋŋamba nti:
2
“Mukama Katonda Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Mmenyeewo obuyinza bwa kabaka wa Babilooni.
3
Mu bbanga lya myaka ebiri, nja kukomyawo mu kifo kino ebintu byonna eby'Essinzizo, Kabaka Nebukadunezzari bye yaggyamu n'abitwala e Babilooni.
4
Era nja kukomyawo kabaka wa Buyudaaya, Yekoniya mutabani wa Yehoyakiimu, awamu n'abantu bonna ab'omu Buyudaaya, abaatwalibwa mu Babilooni nga basibe. Nja kumenyawo obuyinza bwa kabaka wa Babilooni. Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze njogedde.’ ”
5
Bakabona n'abantu bonna nga weebali, ne ŋŋamba omulanzi Ananiya nti:
6
“Weewaawo. Ka tusuubire nti Mukama anaakola bw'atyo, era nti anaatuukiriza by'olagudde, n'akomyawo okuva e Babilooni ebintu by'Essinzizo n'abantu bonna abaatwalibwayo okusibirwayo.
7
Naye wulira kye nkugamba ggwe Ananiya era kye ŋŋamba abantu bonna.
8
Abalanzi abaatusooka ggwe nange, baalanga entalo n'enjala n'endwadde eby'okujjira amawanga amangi n'obwakabaka obw'amaanyi.
9
Naye omulanzi alanga emirembe, akakasibwa nti ddala mulanzi eyatumibwa Mukama, nga ky'alanze kimaze kutuukirira.”
10
Awo Ananiya n'aggya ekikoligo mu bulago bwange, n'akimenyaamenyamu.
11
N'ayogera ng'abantu bonna weebali, n'agamba nti: “Mukama agamba nti bw'ati bw'alimenya ekikoligo, Kabaka Nebukadunezzari ky'atadde mu bulago bw'amawanga gonna. Era ekyo ajja kukikola mu bbanga lya myaka ebiri.” Olwo nze ne nvaawo.
12
Bwe waayitawo ekiseera, Mukama n'aŋŋamba
13
ŋŋende ntegeeze Ananiya nti: “Mukama agamba nti omenye ekikoligo eky'omuti, naye olikola ekikoligo eky'ekyuma, ne kidda mu kifo kya kino.
14
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agamba nti aliteeka ekikoligo eky'ekyuma mu bulago bw'amawanga gano gonna, gaweerezenga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni. Mukama agamba nti n'ebisolo eby'omu ttale, nabyo biriweereza Nebukadunezzari.”
15
Awo ne ntegeeza Ananiya ebigambo ebyo, era ne mugamba nti: “Wulira ggwe Ananiya! Mukama takutumanga, n'oleetera abantu bano okwesiga eby'obulimba.
16
Kale nno Mukama yennyini agamba nti ajja kukuggya ku nsi. Ojja kufa ng'omwaka guno tegunnaggwaako, kubanga oyogedde ebiwakanya Mukama.”
17
Awo Ananiya n'afa mu mwaka ogwo gwennyini, mu mwezi ogw'omusanvu.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52