bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 37
Jeremiah 37
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 38 →
1
Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni, obwakabaka bwa Buyudaaya yabuwa Zeddeekiya mutabani wa Yosiya, mu kifo kya Yehoyakiini, mutabani wa Yehoyakiimu.
2
Naye Zeddeekiya n'abakungu be era n'abantu abalala mu ggwanga, tebaawulira bubaka, Mukama bwe yayogerera mu nze.
3
Awo Kabaka Zeddeekiya n'antumira Yehukaali mutabani wa Selemiya, ne kabona Zefaniya, mutabani wa Maaseya, n'aŋŋamba nti: “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
4
Nali sinnateekebwa mu kkomera, era nga ntambula nga bwe njagala mu bantu.
5
Abakaludaaya baali bazingizizza Yerusaalemu. Naye bwe baawulira ng'eggye lya Misiri livudde mu Misiri, ne bavaawo.
6
Awo Mukama Katonda wa Yisirayeli n'aŋŋamba nti:
7
“Kabaka wa Buyudaaya eyakutuma gye ndi okumbuuza, mugambe nti: ‘Eggye lya Misiri eribadde lijja okubayamba, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri.
8
Era Abakaludaaya bajja kudda, balumbe ekibuga kino bakiwambe, era bakyokye omuliro.
9
Nze Mukama mbalabula muleme kwerimba nti Abakaludaaya tebajja kudda, kubanga bajja kudda.
10
Ne bwe munaawangula eggye lyonna ery'Abakaludaaya ababalwanyisa, ne wasigalwo mu bo ab'ebiwundu bokka, abagalamidde mu weema zaabwe, era abo banaagolokoka ne bookya ekibuga kino omuliro.’ ”
11
Eggye ly'Abakaludaaya bwe lyava e Yerusaalemu, ng'eggye ly'Abamisiri lisembedde,
12
ne nva mu Yerusaalemu okugenda mu kitundu kya Benyamiini okufuna omugabo gwange mu bantu bange.
13
Naye bwe natuuka mu Mulyango gwa Benyamiini, omukulu w'abakuumi eyali awo, erinnya lye Yiriya, mutabani wa Selemiya, era muzzukulu wa Ananiya, n'annyimiriza ng'agamba nti: “Otoloka weegatte ku Bakaludaaya!”
14
Ne nziramu nti: “Sitoloka kwegatta ku Bakaludaaya.” Naye Yiriya n'atampuliriza, wabula n'ankwata era n'antwala eri abakungu.
15
Abakungu ne bankambuwalira ne bankuba, era ne bansibira mu nnyumba ya Yonataani omuwandiisi, kubanga ennyumba eyo gye baali bafudde ekkomera.
16
Banteeka mu kasenge ak'omu bunnya ne mmalamu ennaku nnyingi.
17
Awo kabaka Zeddeekiya n'antumya. Era nga tuli mu lubiri, kabaka n'ambuza mu kyama nti: “Waliwo obubaka obuvudde eri Mukama?” Ne nziramu nti: “Weebuli. Ojja kuweebwayo mu mikono gya kabaka wa Babilooni.”
18
Awo ne mbuuza Kabaka Zeddeekiya nti: “Kibi ki kye nakukola ggwe, oba kye nakola abaweereza bo, oba abantu bano, olyoke onsibe mu kkomera?
19
Abalanzi bammwe bali ludda wa abaabalagula nti kabaka w'e Babilooni talibalumba mmwe, wadde okulumba ensi eno?
20
Kale kaakano, Ssaabasajja, nkwegayiridde, okkirize kye nkusaba: tonzizaayo mu nnyumba ya Yonataani, nneme okufiira omwo.”
21
Awo Kabaka Zeddeekiya n'alagira, ne bansibira mu luggya lw'olubiri. Ne mbeera omwo, ne mpeebwanga buli lunaku omugaati gumu, okuva mu bafumbi b'emigaati, okutuusa emigaati gyonna lwe gyaggwaawo mu kibuga.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52