bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 39
Jeremiah 39
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 40 →
1
Mu mwezi ogw'ekkumi ogw'omwaka ogw'omwenda nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'ajja n'eggye lye lyonna, n'alumba Yerusaalemu, n'akizingiza.
2
Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga Zeddeekiya ye kabaka, Abakaludaaya ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga.
3
Awo abakungu ba kabaka wa Babilooni bonna, omwali Nerugalusarezeeri ne Samugaruneebo, ne Sarusekimu Rabusarisi, ne Nerugalusarezeeri Rabumagi, ne bayingira, ne batuula mu Mulyango Ogwawakati.
4
Kabaka Zeddeekiya n'abakungu be bonna bwe baalaba ebiguddewo, ne badduka, bave mu kibuga ekiro. Baayitira mu kkubo ery'omu nnimiro ya kabaka, ne bafulumira mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, ne babomba nga boolekedde Ekiwonvu kya Yorudaani.
5
Naye eggye ly'Abakaludaaya ne libawondera, ne liwambira Zeddeekiya mu nsenyi z'e Yeriko. Awo ne bamutwala eri Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni e Ribula mu kitundu ky'e Amati, n'amusalira omusango.
6
Eyo e Ribula kabaka wa Babilooni gye yattira abaana ba Zeddeekiya nga Zeddeekiya yennyini alaba. N'atta n'abakungu ba Buyudaaya bonna.
7
N'atungulamu Zeddeekiya amaaso, n'amusiba n'enjegere okumutwala e Babilooni.
8
Awo Abakaludaaya ne bookya olubiri lwa kabaka, n'amayumba g'abantu, era ne bamenya ebisenge bya Yerusaalemu.
9
Abantu bonna abaali basigadde mu kibuga, n'abaali badduse ne beewaayo, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye n'abatwala e Babilooni mu busibe.
10
Mu Buyudaaya yalekamu abamu ku baavu abataalina kantu, n'abawa ennimiro z'emizabbibu n'ebibanja.
11
Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni n'alagira Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye nti: “Yeremiya,
12
mutwale omulabirire bulungi, era tomukolako kabi, naye mukolere ky'akusaba.”
13
Awo Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye, ne Nebusazubaani Rabusarisi, ne Nerugalusarezeeri Rabumagi, n'abakungu ba kabaka wa Babilooni abalala,
14
ne bantumya, ne banzigya mu luggya lw'olubiri, ne bankwasa Gedaliya mutabani wa Ahikaamu era muzzukulu wa Safani, antwale ewange. Awo ne mbeera mu bantu bange.
15
Bwe nali nga nkyasibiddwa mu luggya lw'olubiri, Mukama n'aŋŋamba
16
okutegeeza Ebedumeleki Omwetiyopiya nti: “Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Nja kutuusa akabi sso si birungi ku kibuga kino, nga bwe nagamba okukola. Kino bwe kinaatuukirira, naawe ojja kukirabako n'amaaso go.
17
Naye Nze Mukama, nja kukuwonya ggwe, era sirikuwaayo mu mikono gy'abantu b'otya.
18
Nja kukutaliza, tojja kuttibwa. Ojja kuwonya obulamu bwo, kubanga onneesize. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52