bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 51
Jeremiah 51
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 50
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 52 →
1
Mukama agamba nti: “Ndisindika e Babilooni, ne mu Bakaludaaya embuyaga ezikiriza.
2
Ndisindika bannamawanga e Babilooni ne bakizikiriza, nga kibuyaga akuŋŋunsa ebisusunku. Olunaku olwo olw'akabi bwe lulituuka, balirumba okuva ku buli ludda, eggwanga ne balimalamu ebintu byonna.
3
Temuganya baserikale baalyo kulasa busaale bwabwe, wadde okwambala ebizibawo byabwe eby'ekyuma. Temutaliza bavubuka baalyo. Musaanyeewo eggye lyalyo lyonna.
4
Balifumitibwa ebiwundu ne bafiira mu nguudo z'ebibuga byabwe,
5
kubanga Nze Mukama, Katonda, Nnannyinimagye, ssaabulidde bantu ba Yisirayeli na ba Buyudaaya, newaakubadde nga bazza omusango gye ndi, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli.
6
“Mudduke muve mu Babilooni, buli omu awonye obulamu bwe, muleme okuzikirizibwa olw'ekibi kya Babilooni, kubanga kye kiseera mpoolere eggwanga, era mbonereze ekibuga ekyo nga bwe kisaanira.
7
Babilooni kyali ng'ekikopo ekya zaabu mu ngalo zange, ekyatamiizanga ensi yonna. Amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo ne galaluka.
8
Babilooni kigudde mangwago, era kizikiridde. Mukikungubagire. Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oboolyawo kinaawona.
9
Abagwira abakibeeramu baagamba nti: ‘Twandiwonyezza Babilooni, naye tekiwonye. Tukiveemu, buli omu addeyo mu nsi y'ewaabwe, kubanga Katonda abonerezza nnyo Babilooni, era akisaanyizzaawo.’ ”
10
Mukama agamba nti: “Abantu bange baleekaana nti: ‘Mukama alaze nga ffe batuufu. Tugende tutegeeze ab'omu Yerusaalemu, Mukama Katonda waffe by'akoze.’ ”
11
Mukama akumye omuliro mu bakabaka b'e Mediya, kubanga ayagala okuzikiriza Babilooni. Bw'atyo Mukama bw'anaawoolera eggwanga olw'okuzikirizibwa kw'Essinzizo lye. Abaduumizi b'eggye eddunuzi balagira nti: “Muwagale obusaale bwammwe! Mukwate engabo zammwe.
12
Muwanike bbendera okulumba ebisenge bya Babilooni. Mutegeke abanaateega!” Mukama atuukirizza bye yagamba okukola ku bantu b'omu Babilooni.
13
Ggwe ensi erina emigga emingi, n'ebyobugagga ebingi ennyo, enkomerero yo etuuse, akawuzi k'obulamu bwo kakutuddwa.
14
Mukama Nnannyinimagye alayidde obulamu bwe bwennyini nti alireeta abasajja abangi ng'enzige, okulumba Babilooni, era balikuba olwogoolo nga bawangudde.
15
Mukama ye w'obuyinza eyatonda ensi. Ye w'amagezi n'okutegeera eyanyweza byonna, era eyabamba eggulu.
16
Bw'awa ekiragiro kye, amazzi agali mu bbanga gawuluguma. Akuŋŋaanya ebire okuva mu nsonda zonna ez'ensi. Aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonnya. Era aggya embuyaga mu mawanika ge.
17
Abantu bonna basirusiru, tebaliiko kye bamanyi. Abakola ebifaananyi ebisinzibwa bibakwasa ensonyi, kubanga bye bakola temuli nsa, era tebirina bulamu.
18
Tebirina mugaso, bya bulimba bwereere. Ekiseera kyabyo eky'okubonerezebwa bwe kirituuka, birizikirizibwa.
19
Katonda wa Yakobo tafaanana ng'ebyo, kubanga ye, ye yakola buli kintu. Era yalonda Abayisirayeli okuba abantu be. Mukama, Nnannyinimagye, lye linnya lye.
20
Mukama agamba nti: “Babilooni, ggwe nnyondo yange, ggwe byokulwanyisa byange. Nakukozesa okubetenta amawanga n'obwakabaka,
21
okumenyaamenya embalaasi n'abeebagazi baazo, okumenyaamenya amagaali n'abagatambuliramu.
22
Nakozesa ggwe okutta abasajja n'abakazi, n'abakadde n'abavubuka, era n'abalenzi n'abawala.
23
Nakozesa ggwe okusaanyaawo abasumba n'amagana gaabwe, okutta abalimi n'emigogo gyabwe egy'ente, n'okubetenta abafuzi n'abaduumizi b'eggye.”
24
Mukama agamba nti: “Muliraba bwe nsasula Babilooni n'Abakaludaaya bonna, olw'ebibi byonna bye baakola mu Siyooni.
25
Ggwe Babilooni, oli ng'olusozi oluzikiriza ensi yonna. Naye Nze Mukama ndikulwanyisa. Ndikukwatako engalo, ne nkumulungula, ne nkufuula vvu.
26
Tebalikuggyako jjinja kulizimbisa. Onoobanga matongo ga lubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.
27
“Muwanike bbendera mu nsi, mufuuwe eŋŋombe mu mawanga, mutegeke amawanga okulwanyisa Babilooni. Muyite obwakabaka bw'e Ararati, obw'e Minni, n'obw'e Asukenaazi okukirumba. Mulonde omugabe anaaduumira. Muleete embalaasi ennyingi ng'ebibinja by'enzige.
28
Mutegeke amawanga okulwanyisa Babilooni. Mutumye bakabaka b'Abameedi, wamu n'abakulembeze n'abakungu ababaddirira, n'amagye g'ensi zonna ze bafuga.
29
Ensi ekankana n'ejjula obulumi, kubanga Mukama ajja kutuukiriza kye yamalirira, okufuula Babilooni amatongo omutabeera muntu n'omu.
30
Abaserikale ba Babilooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bigo byabwe ebigumu. Amaanyi gabaweddemu, bafuuse ng'abakazi. Enzigi z'ekibuga zimenyeddwa, ennyumba zaakyo zikoleezeddwako omuliro.
31
Ababaka bajjira kumukumu okutegeeza kabaka wa Babilooni ng'ekibuga kye bwe kimenyeddwa enjuyi zonna.
32
Abalabe bawambye entindo, era ebigo ebigumu babikumyeko omuliro. Abaserikale ba Babilooni batidde.
33
Akaseera kasigadde katono omulabe alinnyirire ab'omu Babilooni ng'eŋŋaano mu gguuliro. Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, Nze njogedde.”
34
Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya yasalaasala Yerusaalemu n'akirya. Yakikaliza n'akyasaayasa ng'ensumbi. Yafuuka ng'ogusota, n'akimira. Yatwala buli kye yeerobozaamu, ebyo by'atayagala n'asuula.
35
Ab'omu Siyooni bagambe nti: “Obukambwe obwatukolwako, ka buddire Babilooni!” Ab'omu Yerusaalemu bagambe nti: “Omusaayi gw'abantu baffe ogwayiika, guddire Abakaludaaya.”
36
Mukama kyeyava agamba abantu b'omu Yerusaalemu nti: “Nja kubalwanirira, era ndiwoolera eggwanga ku lwammwe. Ndikaliza ennyanja y'abalabe bammwe, era ndikaliza ensulo zaabwe ez'amazzi.
37
Babilooni kirifuuka ntuumu ya bisasiro, ekifo omubeera ebibe, ekitiisa, era ekyesisiwaza okulaba, era ekitabeeramu muntu n'omu.
38
Abakaludaaya baliwuluguma ng'empologoma enkulu, era balivuuma ng'empologoma ento.
39
Nga bwe balina omululu, ndibafumbira embaga, ne mbatamiiza ne basanyuka. Balyebaka obutaddayo kuzuukuka.
40
Ndibatwala okuttibwa ng'abaana b'endiga, era ng'endiga n'embuzi eza sseddume. Nze Mukama, Nze njogedde.”
41
Mukama ayogera ku Babilooni nti: “Ekibuga ekitenderezebwa ensi yonna, kiwambiddwa. Babilooni nga kifuuse matongo mu mawanga!
42
Ennyanja ekuluggukidde ku Babilooni, amayengo gaayo agawuluguma, gakisaanikidde.
43
Ebibuga byakyo bifuuse matongo, eddungu omutali mazzi, eritaliimu alibeeramu, wadde aliyitamu.
44
Ndibonereza Beli, lubaale w'e Babilooni, ne mmuzzisaayo bye yabba. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza. “Ebisenge bya Babilooni bigudde!
45
Abantu ba Yisirayeli, mudduke muveeyo, mwewonye obusungu bwange.
46
Temuggwaamu maanyi era temutya olw'amawulire ge muwulira mu nsi, kubanga buli mwaka muliwulira amawulire ag'enjawulo, ag'obukambwe mu nsi, n'aga kabaka omu okulwanyisa omulala.
47
Kale ekiseera kirituuka, ne nkola ku kusinza ebitaliimu nsa okuli mu Babilooniya. Ensi eyo yonna erikwatibwa ensonyi, n'abantu baamu balittibwa.
48
Eggulu n'ensi na byonna ebibirimu biriyimba olw'essanyu nga Babilooni kizikiriziddwa abantu abaliva mu bukiikakkono.
49
Babilooni kyatta abantu mu nsi yonna. Kale kaakano Babilooni kya kuzikirizibwa olw'okutta Abayisirayeli abangi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
50
Mukama agamba abantu be abali mu Babilooniya nti: “Muwonye okuttibwa. Kaakano mugende, temulinda. Newaakubadde nga muli wala n'ewammwe, naye mujjukire Nze, Mukama, era mulowooze ku Yerusaalemu.
51
Mugamba nti: ‘Twavumibwa ne tuswazibwa. Tukwatiddwa ensonyi kubanga bannamawanga baayingira mu bifo ebitukuvu mu Ssinzizo.’
52
Kale nno, Nze ŋŋamba nti ekiseera kirituuka, ne nkola ku kusinza ebitaliimu nsa okuli mu Babilooni, era mu nsi eyo abaliko ebiwundu, balisinda.
53
Babilooni ne bw'alirinnya okutuuka ku ggulu, ne yeezimbira eyo ebigo ebigumu, era ndisindikayo abantu okukizikiriza. Nze Mukama, Nze njogedde.”
54
Mukama agamba nti: “Muwulire ebiwoobe mu Babilooni n'emiranga egy'okuzikirira mu nsi y'Abakaludaaya,
55
kubanga nzikiriza Babilooni era nkisirisiza ddala. Amagye gakiyiikamu ng'amayengo agawuluguma, ne gakirumba nga galeekaana.
56
Omulabe azze okuzikiriza Babilooni. Abaserikale baamu bawambiddwa, n'emitego gyabwe egy'obusaale gimenyeddwa, kubanga Nze Mukama, ndi Katonda aweera empeera. Ndisasula Babilooni nga bwe kisaanira.
57
Nditamiiza abakungu baamu, n'abagezi baamu n'abafuzi, n'abaduumizi b'eggye n'abaserikale. Balyebaka otulo otw'olubeerera, era tebalizuukuka. Nze Kabaka, Mukama, Nnannyinimagye Nze njogedde.”
58
Nze Mukama, Nnannyinimagye, ŋŋamba nti: “Ebisenge bya Babilooni ebigumu, birisuulibwa wansi, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga bye gakola, bya kwokebwa omuliro.”
59
Omuweereza eyabeeranga ku lusegere lwa Kabaka Zeddeekiya, yali Seraya mutabani wa Neriya era muzzukulu wa Maasaya. Mu mwaka ogwokuna nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Seraya bwe yali ng'agenda e Babilooniya wamu ne Zeddeekiya, ne mbaako bye mmulagira.
60
Ne mpandiika mu kitabo, ebifa ku kabi konna ak'okutuuka ku Babilooniya, era ne bino ebirala byonna ebifa ku Babilooniya.
61
Ne ŋŋamba Seraya nti: “Bw'olituuka mu Babilooni, osomeranga abantu mu lwatu ebigambo bino byonna,
62
n'olyoka ogamba nti: ‘Ayi Mukama, wagamba nti olizikiriza ekifo kino, ne kitasigalamu kiramu na kimu, k'abe omuntu wadde ensolo, naye kibe matongo ennaku zonna.’
63
Bw'olimala okusoma ekitabo kino, n'olyoka okisibako ejjinja, n'okisuula mu Mugga Ewufuraate wakati.
64
N'oyogera nti: ‘Babilooni bwe kirikka bwe kityo, era tekiriddayo kubbulukuka, olw'okuzikirira Mukama kw'alikituusaako.’ ” Ebigambo bya Yeremiya wano we bikoma.
← Chapter 50
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 52 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52