bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 11
Jeremiah 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 12 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nze Yeremiya nti:
2
“Wulira ebigambo by'endagaano eno. Gamba abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu
3
nti Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nkolimidde buli muntu atagondera bigambo bya ndagaano eno,
4
gye nakola ne bajjajjaabwe, bwe nabaggya mu nsi y'e Misiri, eyali ebafuukidde ng'ekyoto eky'ekyuma ekyengeredde omuliro. Nabagamba nti: ‘Mumpulirenga era mukolenga bye mbalagira.’ Nabagamba nti bwe banampuliranga, banaabanga bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe.
5
Olwo nnaatuukirizanga kye n'asuubiza bajjajjaabwe, nti ndibawa ensi engimu, era gye balimu kaakano.” Awo nze ne nziramu nti: “Weewaawo, ayi Mukama.”
6
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda olangirire bino byonna mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu, otegeeze abantu nti: ‘Muwulire ebigambo by'endagaano eno, era mubikolereko.’
7
Bwe naggya bajjajjaabwe mu nsi y'e Misiri, nabakuutira okumpuliranga, era nkyabakuutira n'okutuusa kaakano.
8
Naye tebawuliriza era tebawulira, wabula buli omu ayongera kugoberera mutima gwe omukakanyavu era omubi. Nabalagira okukuumanga endagaano eno, naye bo ne bagaana. Kyennava mbatuusaako ebibonerezo byonna ebyogerwako mu yo.”
9
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, banneekobera.
10
Bazzeeyo mu bibi bya bajjajjaabwe, abaagaana okuwulira bye mbagamba. Bazze mu kuweereza balubaale. Ab'omu Yisirayeli, n'ab'omu Buyudaaya, bamenye endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe.
11
Kale kaakano, Nze Mukama, kyenva mbalabula nti nja kubatuusaako akabi, ke batayinza kuwona. Bwe balinkaabirira okubayamba, siribawuliriza.
12
Awo abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, baligenda ne bakaabirira balubaale, be bootereza obubaane. Naye tebalisobola kubawonya mu biseera eby'obuyinike.
13
Abantu b'omu Buyudaaya balina balubaale, abenkana ebibuga byabwe obungi. N'ab'omu Yerusaalemu, bazimbye alutaari ezenkana enguudo z'omu kibuga kyabwe obungi, nga za kwoterezaako bubaane eri Baali, lubaale eyeenyinyalwa.
14
Kale ggwe Yeremiya, tosabira bantu bano, wadde okwegayirira ku lwabwe, kubanga bwe baliba mu buzibu ne bankoowoola, siribawuliriza.
15
Abantu be njagala, bakoze ebibi. Bakyasaanira batya okubeera mu Ssinzizo lyange? Obweyamo n'ebitambiro eby'ensolo binaabayamba? Olwo lwe banaasanyuka?
16
Waliwo lwe nabayitanga omuti omuzayiti oguliko amakoola amalungi, n'ebibala ebirungi. Naye kaakano, nja kubwatuka nga laddu, ngukumeko omuliro, amatabi gaagwo gaggye.
17
Nze Mukama Nnannyinimagye eyasimba ab'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya, Nze nnangiridde akabi akajja okubatuukako. Be bakeeretedde bennyini, kubanga bakoze ebibi. Bansunguwazizza, olw'okwotereza Baali obubaane.”
18
Awo Mukama n'ammanyisa enkwe ze bakoze okunzita.
19
Nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu, ogutwalibwa, nga simanyi nti nze basalidde enkwe, nga bagamba nti: “Tuteme omuti nga gukyali mulamu. Tumutte, waleme kubaawo bongera kumujjukira.”
20
Naye, ayi Mukama Nnannyinimagye, ggwe mulamuzi omwenkanya, ageza ebirowoozo n'emitima gy'abantu. Ggwe nkwasizza ensonga zange. Ka nninde ndabe bw'owoolera eggwanga ku bantu bano.
21
Bino Mukama by'agamba ab'omu Anatooti, abaagala okunzita, nga bagamba nti: “Bw'onoolagula ku lwa Mukama, tujja kukutta.”
22
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Nja kubabonereza. Abavubuka baabwe balittirwa mu lutalo, abaana baabwe abalenzi n'abawala balifa enjala.
23
Ntaddewo ekiseera kye ndituusizaako abantu b'omu Anatooti akabi, era ekiseera ekyo bwe kirituuka, ku bo tekuliba awonawo n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52