bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 52
Jeremiah 52
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 51
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
1
Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Amutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
2
Zeddeekiya yakola ebibi mu maaso ga Mukama, nga Yehoyakiimu bye yali akoze.
3
Mukama n'asunguwalira nnyo ab'omu Yerusaalemu, n'ab'omu Buyudaaya, era n'abagoba mu maaso ge. Zeddeekiya n'ajeemera Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya.
4
N'olwekyo ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'omwenda nga Zeddeekiya ye kabaka, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'ajja n'eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemu. N'asiisira ebweru waakyo, n'akizimbako ebigo okukyetooloola,
5
n'akizingiza okutuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogw'obwa kabaka bwa Zeddeekiya.
6
Ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogwo, enjala n'eba nnyingi nnyo mu kibuga, ng'abantu tebakyalina ke balya.
7
Ne bakuba ekituli mu kisenge ky'ekibuga. Newaakubadde ng'Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga, abaserikale bonna ne badduka ne bafuluma ekibuga ekiro, nga bayita mu kkubo ery'omu nnimiro ya kabaka, ne bafulumira mu mulyango ogugatta ebisenge ebibiri, ne boolekera Ekiwonvu kya Yorudaani.
8
Naye eggye ly'Abakaludaaya ne liwondera Kabaka Zeddeekiya, ne limukwatira mu nsenyi ez'e Yeriko, eggye lye lyonna ne limwabulira, ne lisaasaana.
9
Awo ne bakwata Zeddeekiya, ne bamutwala eri Kabaka Nebukadunezzari e Ribula mu kitundu ky'e Hamati, n'amusalira omusango.
10
Nebukadunezzari n'atta batabani ba Zeddeekiya, nga Zeddeekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Ribula abakungu ba Buyudaaya bonna.
11
N'atungulamu Zeddeekiya amaaso, n'amusiba mu njegere, n'amutwala e Babilooni. Zeddeekiya n'asigala mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako.
12
Ku lunaku olw'ekkumi, olw'omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw'omwenda nga Nebukadunezzari ye kabaka wa Babilooniya, Nebuzaradaani omukungu we, era omuduumizi w'eggye lye, n'ayingira mu Yerusaalemu.
13
N'ayokya Essinzizo, n'olubiri lwa kabaka, n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemu. Buli nnyumba ennene yagyokya omuliro.
14
Eggye lyonna eryali naye, ne limenya ekisenge kyonna, ekyetoolodde Yerusaalemu.
15
Awo Nebuzaradaani n'atwala e Babilooni abamu ku bantu abaavu, abali basigadde mu kibuga, n'abo abaali bamaze okwewaayo mu Bakaludaaya.
16
Abamu ku baavu ennyo, abataalina kantu, n'abaleka mu Buyudaaya, okulabiriranga emizabbibu, n'okulimanga.
17
Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez'ekikomo, ezaali mu Ssinzizo, n'ebikondo, era n'ettanka y'amazzi ennene, ebyalimu, ne batwala e Babilooni, ekikomo kyabyo kyonna.
18
Ne batwala n'entamu, n'ebitiiyo ebiyoola evvu, n'ebijiiko, n'ebibya omwanyookerezebwanga obubaane, n'ebintu ebirala byonna eby'ekikomo, ebyakozesebwanga okuweereza mu Ssinzizo.
19
Ne batwala n'ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza, ebibya ebitono, n'ensaniya okuyoolerwa amanda, ebbenseni n'entamu, n'ebikondo by'ettaala, n'ebibya by'obubaane, n'ebikopo.
20
Ebintu eby'ekikomo, Kabaka Solomooni bye yakolera Essinzizo: empagi ebbiri, entebe, tanka y'amazzi ennene, n'ente ennume ekkumi n'ebbiri ezigiwanirira, byali bizito nnyo okupima.
21
Empagi zombi zaali zenkana, nga buli emu ya mita munaana obuwanvu, ne mita ttaano n'obutundu busatu okugyetooloola. Zaalimu omutuli, ng'omubiri gwazo gwa milimita nsanvu mu ttaano. Ku ntikko ya buli mpagi kwaliko omutwe ogw'ekikomo, obuwanvu bwagwo mita bbiri n'obutundu bubiri, nga gutimbiddwa n'amakomamawanga okugwetoolooza, era nga byonna bya kikomo.
23
Era mu mbiriizi za buli mpagi, kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga. Amakomamawanga gonna gaali kikumi agatimbye buli mpagi okugyetoolooza.
24
Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye, era yatwala ne Seraya Ssaabakabona, ne Zefaniya, kabona addirira mu bukulu, n'abaggazi abakulu abasatu.
25
N'aggya mu kibuga omukungu eyali aduumira abaserikale, n'abasajja musanvu abaawanga kabaka amagezi, abaali bakyali mu kibuga, n'oyo addirira omuduumizi w'eggye, eyawandiikanga abantu mu ggye, n'abakungu abalala nkaaga.
26
Nebuzaradaani n'abatwala eri kabaka wa Babilooni eyali e Ribula,
27
mu kitundu ky'e Hamati. Kabaka wa Babilooniya n'abakuba n'abattira eyo. Bwe batyo abantu b'omu Buyudaaya ne baggyibwa mu nsi yaabwe, ne batwalibwa mu busibe.
28
Bano be bantu Nebukadunezzari be yatwala mu busibe: mu mwaka gwe ogw'omusanvu nga ye kabaka, yatwala Abayudaaya enkumi ssatu mu amakumi abiri mu basatu.
29
Mu mwaka gwe ogw'ekkumi n'omunaana yatwala abasibe lunaana mu amakumi asatu mu babiri, ng'abaggya mu Yerusaalemu.
30
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu esatu ogw'obufuzi bwa Nebukadunezzari, Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye yatwala abasibe lusanvu mu amakumi ana mu bataano. Abantu bonna abaatwalibwa baawera enkumi nnya mu lukaaga.
31
Mu mwaka ogwo Evilumerodaaki gwe yafuukiramu kabaka, n'akwatirwa ekisa Kabaka Yehoyakiini owa Buyudaaya, n'amuggya mu kkomera. Lwali lunaku olw'amakumi abiri mu ettaano olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, nga Yehoyakiini atwaliddwa mu buwaŋŋanguse.
32
Evilumerodaaki n'alaga Yehoyakiini ekisa, era n'amuwa ekifo ekyekitiibwa okusinga ekya bakabaka abalala, abaali naye e Babilooni mu busibe.
33
Bw'atyo Yehoyakiini n'akkirizibwa okuggyamu ebyambalo bye eby'obusibe, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka ennaku zonna ez'obulamu bwe.
34
Ebbanga lyonna lye yamala nga mulamu, yaweebwanga omugabo gw'ebintu bye yeetaaga buli lunaku.
← Chapter 51
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52