bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 4
Jeremiah 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 5 →
1
Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, oba nga mukkiriza okudda gye ndi, kale mudde. Bwe muggyawo mu maaso gange ebyenyinyalwa byammwe, ne muba beesigwa gye ndi,
2
olwo munaalayiranga mu mazima, mu bwenkanya, ne mu butuufu nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’ Era olwo amawanga gonna ganansabanga okugawa omukisa, era ganantenderezanga.”
3
Mukama agamba abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: “Mulime ettaka lyammwe eritali ddime, era temusiga mu maggwa.
4
Mukuume endagaano gye mwakola nange Nze Mukama, era mweweeyo gye ndi, mmwe abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, obusungu bwange buleme okwaka ng'omuliro olw'ebibi bye mwakola, ne wataba ayinza kubuzikiza.”
5
Mulangirire mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu mugambe nti: “Mufuuwe eŋŋombe mu ggwanga, mukangule eddoboozi mugambe nti: ‘Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko ebigo!’ ”
6
Muwanike bbendera nga mulaga e Siyooni. Mudduke okwewonya, temulwa, kubanga Mukama alireeta akabi n'okuzikirira okw'amaanyi okuva mu bukiikakkono.
7
Omuzikiriza w'amawanga avuddeyo ng'empologoma eva mu kisaka kyayo. Azze okuzikiriza ensi yammwe. Ebibuga byammwe alibizikiriza ne bitabaamu abibeeramu.
8
N'olwekyo mwambale ebikutiya, mukaabe, mukube ebiwoobe, kubanga obusungu bwa Mukama obukambwe tebukyuse kutuvaako.
9
Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo, kabaka n'abakungu baliggwaamu amaanyi. Bakabona balisamaalirira, n'abalanzi balyewuunya.”
10
Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, olimbyerimbye eggwanga lino, n'ekibuga Yerusaalemu ng'ogamba nti: ‘Muliba mirembe!’ Naye ekitala kisembedde okubasaanyaawo!”
11
Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino, n'ekibuga Yerusaalemu nti: “Embuyaga ey'ebbugumu efuuwa, ng'eva ku nsozi mu ddungu okujja gye muli, si mpewo empeweevu, efuuwa obufuuyi ebisukunku.
12
Embuyaga Mukama gy'alagidde okujja, egenda kuba ya maanyi nnyo okusingawo. Kaakano Mukama yennyini, ye asalira abantu be omusango.”
13
Omulabe wuuyo ajja ng'ebire. Amagaali ge gali ng'embuyaga ey'akazimu, n'embalaasi ze zanguwa okusinga empungu. Zitusanze! Tuzikiridde!
14
Yerusaalemu, naaza omutima gwo, guggweemu ebibi, olyoke olokolebwe. Olituusa wa okulowooza ebirowoozo ebibi?
15
Ababaka bavudde mu kibuga Daani ne mu nsozi z'e Efurayimu, okulangirira amawulire ag'akabi.
16
Bazze okulabula amawanga n'okutegeeza Yerusaalemu nti abalabe bajja, nga bava mu nsi ey'ewala. Abalabe abo bagenda kuleekaanira ebibuga bya Buyudaaya.
17
Balyebungulula Yerusaalemu ku njuyi zonna, ng'abakuuma ennimiro, kubanga abantu baakyo baajeemera Mukama. Mukama yennyini ye ayogedde.
18
Buyudaaya, ggwe weereetedde ebyo olw'enneeyisa yo, n'olw'ebyo by'okoze. Ekibi kyo kye kireese okubonaabona kuno, era kye kikufumise omutima.
19
Obulumi n'obuyinike bunzita! Omutima gunnuma, gunanjabika! Siyinza kusirika, kubanga mpulidde eddoboozi ly'eŋŋombe, n'okukuba enduulu z'olutalo.
20
Akabi kaddirira kabi, kubanga eggwanga lyonna lyonooneddwa Amangwago eweema zaffe zizikiriziddwa, entimbe zaazo ziyuziddwa obulere.
21
Ndituusa wa okulaba bbendera y'olutalo, n'okuwulira eddoboozi ly'eŋŋombe?
22
Mukama agamba nti: “Abantu bange basirusiru tebammanyi. Bali ng'abaana ababuyabuya: tebaliimu kategeera. Bamanyirivu mu kukola ebibi, naye okukola ebirungi tebamanyi!”
23
Natunuulira ensi, ne ndaba nga njereere era ng'eri mu mbeera eyeetabuddetabudde, n'eggulu nga teririiko kitangaala.
24
Natunuulira ensozi ne ndaba nga zikankana, n'obusozi bwonna nga bwewuuba.
25
Natunula ne ndaba nga tewali bantu n'ebinyonyi byonna nga bibuuse bigenze.
26
Natunula ne ndaba ng'ensi engimu efuuse ddungu, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyeddwamenyeddwa, olwa Mukama okusunguwala ennyo.
27
Mukama agamba nti: “Ensi yonna erizika, naye sirigisaanyizaawo ddala.”
28
Ensi kyeriva enakuwala, n'eggulu ne liddugala. Nze nkyogedde, sijja kukikyusa. Mmaliridde, sikyeddamu kukireka.
29
Oluliwulira okuleekaana kw'abeebagazi b'embalaasi n'abalasi b'obusaale, bonna balidduka. Abamu balyefubitika mu bibira, abalala balirinnya enjazi. Ebibuga byonna birirekebwa awo, tewaliba babibeeramu nate.
30
Ayi Yerusaalemu, oyabuliddwa! Oyambalira ki ebimyufu? Weewoomeza ki n'ebya zaabu wadde okwetona langi ku bisige by'amaaso? Weenyiririza bwereere. Baganzi bo bakunyooma, era banoonya kukutta.
31
Mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, omulanga ng'ogw'omukazi azaala omwana we omuggulanda. Lye ddoboozi lya Yerusaalemu asika omukka nga tegujja. Ayanjala emikono gye ng'agamba nti: “Nga zinsanze! Obulamu bwange buggwaawo, abatemu babusaanyaawo!”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52