bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 3
Jeremiah 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 4 →
1
Mukama agamba nti: “Omusajja bw'agoba mukazi we, omukazi n'agenda n'afumbirwa omusajja omulala, singa omusajja oyo ate addira omukazi oyo, ensi eyo tejjaamu emitawaana? Naye ggwe Yisirayeli weefuula omwenzi, n'oba ne baganzi bo bangi, kyokka oyagala okunzirira?
2
Tunuulira entikko z'ensozi enjereere olabe. Waliwo ekifo kye bateebakangamu naawe? Baganzi bo abo wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwarabu bw'ateega abantu mu ddungu.
3
Enkuba kyevudde eziyizibwa wadde okuwandaggirira, n'ebire byayo ne bitayiika. Era osigadde okyatunuza bukaba, n'otokwatibwako na nsonyi.
4
“Kaakano ova kuŋŋamba nti: ‘Ggwe kitange, eyanjagala okuviira ddala mu buto bwange.
5
Ononsunguwaliranga bulijjo? Olinsibira obusungu bwo ennaku zonna?’ Ekyo okyogera, naye n'osigala ng'okola ebibi byonna ebisoboka!”
6
Yosiya bwe yali nga ye kabaka, Mukama n'aŋŋamba nti: “Olabye Yisirayeli, omukazi atali mwesigwa, ky'akoze? Yanvaako, n'ayendera ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti omubisi.
7
Ne ndowooza nti bw'alimala okukola ebyo byonna, alinzirira, kyokka n'atadda. Ne muganda we Buyudaaya ow'enkwe, n'akiraba.
8
Buyudaaya era yalaba nga nagoba Yisirayeli, ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'obwenzi bwe. Kyokka Buyudaaya ow'enkwe, muganda wa Yisirayeli, n'atatya, wabula n'agenda, naye ne yeefuula omwenzi
9
atakwatibwa na ku nsonyi. Bw'atyo n'ayonoona ensi, n'amenya obwesigwa, ng'asinza amayinja n'ebitittiriri.
10
Ng'ebyo byonna bimaze okubaawo, Buyudaaya ow'enkwe, muganda wa Yisirayeli, n'atanzirira na mutima gwe gwonna, wabula n'akuusakuusa. Nze Mukama, Nze njogedde.”
11
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Newaakubadde nga Yisirayeli yanvaako, naye yeeraze nga mulungiko okusinga Buyudaaya ow'enkwe.
12
Kale genda olangirire bino eri Yisirayeli nti: ‘Mukama agamba nti: Komawo ggwe Yisirayeli, eyaseeseetuka n'onvaako. Sijja kubatunuuliza busungu, kubanga ndi musaasizi. Siribasunguwalira mirembe gyonna.
13
Kkiriza bukkiriza omusango gwo, nti wajeemera Mukama Katonda wo, ne weegabulira balubaale abagwira wansi wa buli muti omubisi, era kkiriza nti temwagondera biragiro byange. Nze Mukama, Nze njogedde.’
14
“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa, kubanga muli bange. Ndiggya omu ku mmwe mu buli kibuga, n'ababiri mu buli kika, ne mbaleeta ku Lusozi Siyooni.
15
Ndibawa abakulembeze abakola bye njagala, abanaabalabiriranga, nga bajjudde okumanya n'okutegeera.
16
Awo bwe muliba nga mweyongedde obungi mu nsi eyo, abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko ey'Endagaano. Baliba tebakyagirowoozaako, wadde okugijjukira. Tebaligijulirira era tebalikola ndala.
17
Mu biro ebyo, Yerusaalemu aliyitibwa ‘Entebe ya Mukama,’ era ab'amawanga gonna balikuŋŋaanira eyo okunsinza Nze Mukama. Baliba tebakyakola ebyo emitima gyabwe emikakanyavu era emibi, bye gibagamba.
18
Mu biro ebyo, ab'omu Yisirayeli balyegatta wamu n'ab'omu Buyudaaya, era baliviira wamu mu buwaŋŋanguse mu nsi ey'omu bukiikakkono, ne bayingira mu nsi gye nawa bajjajjammwe ebeerenga yaabwe olubeerera.”
19
Mukama agamba nti: “Mmwe Abayisirayeli, nalowooza okubabalira mu batabani bange, mbawe ensi esanyusa, esingira ddala obulungi mu mawanga gonna. Nayagala mumpitenga kitammwe, era mulemenga kunvaako.
20
Naye ng'omukazi atali mwesigwa bw'ava ku bba, nammwe, temubadde beesigwa gye ndi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
21
Eddoboozi by'Abayisirayeli liwuliddwa ku ntikko z'ensozi nga bakaaba era nga bawanjaga, kubanga beeyisa bubi ne beerabira Mukama Katonda waabwe.
22
Mukama agamba nti: “Mukomeewo mmwe mwenna abatabadde beesigwa, nja kubawonya mbafuule beesigwa.” Mmwe ne mugamba nti: “Weewaawo, tujja gy'oli, kubanga ggwe Mukama, Katonda waffe.
23
Ddala teri mugaso gusuubirwa kuva ku busozi, ne mu kuleekaanira ku nsozi. Ddala Mukama Katonda waffe ye anaayamba Yisirayeli.
24
Naye okuviira ddala edda, lubaale akwasa ensonyi, ye amazeewo byonna bajjajjaffe bye baateganira: amagana g'embuzi n'ag'ente zaabwe, batabani baabwe ne bawala baabwe.
25
Twevuunike nga tukwatiddwa ensonyi, okuswala kwaffe kutubikkeko. Ffe ne bajjajjaffe twakola ebibi eri Mukama Katonda waffe. Tetugonderanga biragiro bye.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52