bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 31
Jeremiah 31
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 32 →
1
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne mba Katonda w'ebika byonna ebya Yisirayeli, bo ne baba bantu bange.
2
Mu ddungu, nakwatirwa ekisa abantu abaawonawo okuttibwa. Abayisirayeli bwe beegomba ekiwummulo,
3
nabalabikira nga ndi wala. Mmwe Abayisirayeli, nabaagala n'okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nnyongera okubakwatirwa ekisa.
4
Ndiddamu okubazimba, ne muzzibwa buggya. Mulyambalira ebivuga byammwe, ne muzina nga musanyuka.
5
Muliddamu okusimba emisiri gy'emizabbibu ku nsozi z'e Samariya, era abo abalisimba balirya ebibala byamu.
6
Ddala ekiseera kirituuka, abakuumi b'oku nsozi lwe balikoowoolera ku busozi bwa Efurayimu nti: ‘Twambuke e Siyooni eri Mukama Katonda waffe.’ ”
7
Mukama agamba nti: “Muyimbire Yisirayeli n'essanyu. Mumukubire emizira, akulira amawanga gonna. Muyimbe nga mukungiriza nti: ‘Mukama alokodde abantu be, Abayisirayeli abawonyeewo!’
8
Ndibaggya mu bukiikakkono, ndibakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y'ensi. Mu bo mulijjiramu bamuzibe n'abalema, abakazi abali embuto, n'abanaatera okuzaala. Ndibakomyawo wano mu kibiina kinene.
9
Abantu bange balidda nga bakaaba amaziga, ndibazza nga beegayirira. Ndibayisa ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu, mwe batalyesittala, kubanga ndi kitaawe wa Yisirayeli, ne Efurayimu ye muggulanda wange.”
10
Mukama agamba nti: “Muwulire mmwe amawanga ebigambo byange, mubirangirire ku bizinga ebiri ewala, mugambe nti: ‘Mukama eyasaasaanya Abayisirayeli ye alibakuŋŋaanya, era anaabakuumanga ng'omusumba bw'akuuma eggana lye.’
11
Nnunudde Abayisirayeli ne mbawonya eggwanga eribasinga amaanyi.
12
Balijja ne bayimba n'essanyu ku Lusozi Siyooni. Era balisanyukira ebirabo bye mbawa eby'eŋŋaano n'omwenge gw'emizabbibu, n'omuzigo gw'emizayiti, n'ebirabo eby'embuzi n'ente. Baliba ng'ennimiro efukirirwa amazzi, tebaliba na buyinike n'akatono.
13
Abawala balisanyuka ne bazina, n'abasajja abavubuka n'abakadde balisanyuka. Ndibakubagiza ne mbasanyusa, ne mbaggya mu buyinike bwabwe.
14
Bakabona ndibawa ebyassava bingi ne bibanyiwa. Abantu bange ndibajjuza ebirungi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
15
Mukama agamba nti: “Mu Raama baawulira eddoboozi, okukaaba n'okukungubaga okungi, Raakeeli ng'akabira abaana be era nga tayagala akubagizibwe, kubanga tebakyaliwo.
16
Lekera wo okwaziirana era weesangule amaziga. Byonna by'okoledde abaana bo biriweerwa empeera. Balikomawo okuva mu nsi y'omulabe.
17
Waliwo essuubi mu biseera byo ebijja. Abaana bo balikomawo mu nsi yaaboobwe. Nze Mukama, Nze njogedde.
18
“Mpulira Abayisirayeli abakaaba nga banakuwavu, nti: ‘Twali ng'ensolo etaatendekebwa, naye otuyigirizza okuwulira! Twetegese okudda gy'oli, kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.
19
Twakukuba amabega, naye twenenya mangu. Bwe watubonereza, ne twekuba mu kifuba. Twakwatibwa ensonyi ne tuswala, kubanga twayonoona tukyali bato.’
20
“Yisirayeli, ggwe mutabani wange omwagalwa, ggwe mwana wange ansanyusa, kubanga buli lwe nkunenyaako nkulumirwa omwoyo ne nkukwatirwa ekisa.
21
Musimbe obubonero, mulambe ekkubo lye mwayitamu okugenda. Mukomeewo Abayisirayeli, mudde mu bibuga byammwe bye mwaleka.
22
Mulituusa wa okutambula mmwe abantu abateesigibwa? Nga mudda eno n'eri Nze Mukama ntonzeewo ekiggya ku nsi: eky'omukazi okukuuma omusajja.”
23
Mukama Nnannyinimagye Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: “Bwe ndikomyawo Abayisirayeli mu nsi yaabwe, mu Buyudaaya ne mu bibuga byayo, baliddamu okugamba nti: ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, olusozi okuli obutukuvu.’
24
Abantu balibeera mu Buyudaaya, ne mu bibuga byayo byonna. Mulibeeramu abalimi n'abalunzi abalina amagana.
25
Bonna abakooye, ndibazzaamu endasi. Ndikkusa buli aweddemu amaanyi olw'okulumwa enjala.
26
Kyebanaavanga bagamba nti: ‘Nagenze okwebaka, ne nzuukuka nga nzizeemu amaanyi.’
27
“Nze Mukama ŋŋamba nti ekiseera kirituuka, ne nzijuza abantu n'ensolo mu nsi ya Yisirayeli ne mu Buyudaaya.
28
Nga bwe nassaayo omwoyo okubasimbula n'okubamenyaamenya, n'okubasuula n'okubazikiriza, n'okubabonyaabonya, bwe ntyo bwe ndissaayo omwoyo okubasimba, n'okubazimba.
29
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, nga tebakyagamba nti: ‘Abazadde baalya emizabbibu eginyuunyuntula, amannyo g'abaana ne ganyenyeera.’
30
Naye buli alya emizabbibu eginyuunyuntula, amannyo ge, ge galinyenyeera, era buli muntu alifa lwa bibi bye.”
31
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka lwe ndikola endagaano empya n'abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya.
32
Teriba ng'eyo gye nakola ne bajjajjaabwe, lwe nabakwata ku mukono, ne mbaggya mu nsi y'e Misiri. Newaakubadde nali nga bbaabwe, era tebaakuuma ndagaano eyo.
33
Naye ekiseera bwe kirituuka, eno ye ndagaano gye ndikola n'Abayisirayeli: nditeeka amateeka gange mu bo munda, ngawandiike mu mitima gyabwe. Ndiba Katonda waabwe, ne baba bantu bange.
34
Kiriba tekikyetaagisa buli omu kuyigiriza munne okumanya Mukama, kubanga bonna balimmanya, okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukulu. Ndisonyiwa ebibi byabwe, ne nneerabira ensobi zaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
35
Mukama yassaawo enjuba eyakenga emisana. Yalagira omwezi n'emmunyeenye byakenga ekiro. Afuukuula ennyanja, amayengo gaayo ne gayira. Mukama Nnannyinimagye lye linnya lye.
36
Yasuubiza nti entereeza eyo, ng'ekyali bw'etyo mu maaso ge, n'ezzadde lya Yisirayeli liriba ggwanga.
37
Lwe kiriyinzika okupima eggulu n'okuzuula emisingi gy'ensi, olwo ne Mukama lw'aliyinza okusuula Abayisirayeli bonna olwa byonna bye baakola. Mukama ye ayogedde.
38
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ekibuga Yerusaalemu lwe kirizimbirwa Mukama, okuva ku munaala gwa Anameli, okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda.
39
Ensalo yaakyo n'eva awo n'egenda okutuuka ku kasozi Garebu, ate n'ekyuka okudda ku Gowa.
40
Ekiwonvu kyonna, abafu mwe baziikibwa, n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kedurooni, n'okutuuka ku nsonda y'Omulyango gw'Embalaasi, okwolekera ebuvanjuba, biriwongerwa Nze Mukama. Ekibuga ekyo tekiriddayo kumenyebwa, wadde okuzikirizibwa ennaku zonna.”
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52