bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 22
Jeremiah 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 23 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Serengeta mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya, otwaleyo obubaka buno,
2
ogambe nti: Ggwe kabaka wa Buyudaaya, muzzukulu wa Dawudi, wulira obubaka bwa Mukama, ggwe n'abakungu bo, n'abantu b'omu Yerusaalemu.
3
Mukama agamba nti mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu. Mutaasenga oyo gwe bayiikiriza. Temulyazaamaanyanga bagwira ne bamulekwa, ne bannamwandu, wadde okubanyigirizanga. Era mu kifo kino, temuttanga bantu batalina musango
4
Bwe mulituukiriza bye mbalagira, olwo bazzukulu ba Dawudi balyongera okuba bakabaka. Bo wamu n'abakungu baabwe, n'abantu baabwe, balyongera okuyitanga mu miryango gy'olubiri luno, nga bali mu magaali era nga beebagadde embalaasi.
5
Naye bwe mutaliwulira kukola bye ndagira, nneerayira nzennyini nti olubiri luno lulifuuka matongo. Nze Mukama, Nze njogedde.
6
“Ku lwange, olubiri lwa kabaka wa Buyudaaya lulungi ng'ensi ya Gileyaadi, era ng'ensozi za Lebanooni. Naye ndirufuula ekifo ekyabuliddwa, ekitakyalimu bantu,
7
era ntegeka abaliruzikiriza. Bonna balireeta embazzi, ne batema empagi zaalwo ennungi eza keduro ne bazisuula mu muliro.
8
“Oluvannyuma abagwira bangi bwe baliyita ku kibuga kino, balyebuuzaganya nti: ‘Lwaki Mukama, ekibuga kino ekikulu, yakikola bw'atyo?’
9
Awo baliddamu nti: ‘Kubanga baaleka endagaano gye baakola ne Katonda waabwe, ne basinza balubaale, era ne babaweereza.’ ”
10
Abantu b'omu Buyudaaya, temukaabira Kabaka Yosiya eyafa, era temumukungubagira, naye mukaabire nnyo mutabani we Yehoyahaazi, kubanga bamutwala mu buwaŋŋanguse, naye si wa kudda. Taliddamu kulaba nsi y'ewaabwe.
11
Ebifa ku Yehoyahaazi, eyasikira kitaawe Yosiya ku bwakabaka bwa Buyudaaya, eyaggyibwa kuno, Mukama agamba nti: “Si wa kudda.
12
Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe. Taliddayo kulaba ku nsi eno.”
13
Zimusanze oyo azimba ennyumba ye ng'ayita mu bulyazaamaanyi, n'agigaziya ng'akozesa obulyake, ng'akozeseza munne obwereere, n'atamuwa mpeera ye.
14
Zimusanze oyo agamba nti: “Nja kwezimbira ennyumba ennene eya kalina, erimu ebisenge ebigazi.” Olwo n'agiteekako amadirisa n'agitindiza embaawo ez'omuvule n'agisiiga langi emmyufu.
15
Olowooza nti oliba kabaka kubanga ozimbisizza omuvule ogusinga ogw'abalala? Kitaawo yalyanga n'anywa, n'akola eby'obwenkanya, ebituufu, n'aba bulungi.
16
Emisango gy'abaavu n'abanaku yagisalanga bulungi, n'aba n'emirembe mu mutima. Okwo nno kwe kumanya Mukama.
17
Naye ggwe weemalira ku bibyo byokka. Otta abatalina musango, otulugunya abantu bo n'obukambwe. Mukama ye ayogedde ebyo.
18
Bino Mukama by'ayogera ku Yehoyakiimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Buyudaaya nti: “Tebalimukungubagira, wadde okugamba nti: ‘Nga kitalo sseruganda, nga kitalo mwannyinaze!’ Tebalimukubira biwoobe nti: ‘Woowe, mukama wange! Woowe, kabaka waffe!’
19
Aliziikibwa nga ndogoyi. Balimukulula ne basuula ebweru w'emiryango gya Yerusaalemu.”
20
Abantu b'omu Yerusaalemu, mulinnye ku Lebanooni muleekaane; mugende mu nsi y'e Basani muyimuse eddoboozi. Mukaabire ku nsozi z'e Mowaabu, kubanga mikwano gyammwe bonna bazikiriziddwa.
21
Mukama yayogera nammwe nga muli bulungi, ne mugaana okuwuliriza. Bwe mutyo bwe mwamanyiira okukolanga obulamu bwammwe bwonna, mwagaanira ddala okuwuliranga by'agamba.
22
Abakulembeze bammwe bonna balitwalibwa embuyaga, ne mikwano gyammwe baliwambibwa mu lutalo. Mulikwatibwa ensonyi ne muswala olw'ebibi byonna bye mwakola!
23
Mwe abawulira emirembe mu miti gy'emivule gye mwaggya mu Lebanooni, muliba ba kusaasirwa nnyo. Obulumi bulibakwata, ne mubalagalwa ng'omukazi alumwa okuzaala!
24
Mukama agamba nti: “Nga bwe ndi omulamu, ggwe Koniya, mutabani wa Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya, ne bwe wandibadde empeta eri ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikunaanuddeko
25
ne nkuwaayo eri ababi b'otya era abaagala okukutta. Ndikuwaayo mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni ne mu gy'abaserikale be.
26
Ggwe ne nnyoko akuzaala ndibagobera mu nsi endala gye mutaazaalibwamu, era mulifiira eyo.
27
Mulyegomba okudda mu nsi eno, naye temulidda.”
28
Omusajja ono Koniya afuuse ng'ekibya ekyatifu, ekisuuliddwa ekitaliiko akyagala? Ye n'ezzadde lye kyebavudde bagobebwa ne basindikibwa mu nsi gye batamanyi?
29
Ayi ensi, ensi, ensi! Wulira Mukama ky'agambye nti:
30
“Mubalire omusajja ono mu batalina baana. Mu bulamu bwe, nga teyafuna mukisa! Mu b'omusaayi gwe tewali alifuga nate Obuyudaaya ng'omusika wa Dawudi. Nze Mukama, Nze nkyogedde.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52