bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 23
Jeremiah 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 24 →
1
Zibasanze abakulembeze abo, abazikiriza era abasaasaanya abantu ba Mukama!
2
Bino Mukama Katonda wa Yisirayeli, by'ayogera ku bakulembeze abalabirira abantu be, agamba nti: “Temwalabirira bantu bange. Mwabagoba ne mubasaasaanya. Kaakano ŋŋenda okubabonereza mmwe, olw'ekibi kye mwakola.
3
Ndikuŋŋaanya abantu bange abasigaddewo okubaggya mu nsi zonna gye nabasaasaanyiza, mbakomyewo mu nsi yaabwe. Balizaala nnyo ne baala.
4
Ndissaawo abakulembeze okubalabiriranga, balemenga kutya na kweraliikirira, era waleme kubaawo n'omu abula. Nze Mukama, Nze njogedde.”
5
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, ne nnonda omuzzukulu omutuukirivu owa Dawudi, n'afuga nga ye kabaka. Kabaka oyo alifugisa magezi, n'akola ebituufu era eby'obwenkanya mu nsi ye.
6
Mu mirembe gye, abantu b'omu Buyudaaya balibeera bulungi, n'abantu b'omu Yisirayeli balibeera mirembe. Erinnya lye aliyitibwa ‘Mukama, Omulokozi atuwa obutuukirivu.’ ”
7
Mukama agamba nti: “Ekiseera kirituuka, abantu nga tebakyandayira nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri.’
8
Naye banandayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi ez'omu bukiikakkono, ne mu nsi zonna gye yabasaasaanyiza.’ Era balibeera mu nsi eyaabwe.”
9
Omutima gwange gumenyese, nzenna nkankana ku lwa Mukama, n'olw'ebigambo bye ebitukuvu. Ndi ng'omutamiivu, ng'omuntu afugiddwa omwenge.
10
Ensi ejjudde abantu abatanywerera ku Mukama. Ba mpisa mbi mu bulamu bwabwe, bakozesa bubi obuyinza bwe balina. Ensi ekungubaga, n'amalundiro gakaze olw'okukolimirwa Mukama.
11
Mukama agamba nti: “Abalanzi ne bakabona boonoonefu. Nabasanga bakola ebibi ne mu Ssinzizo mwennyini.
12
Kale amakubo ge bakwata galiba maseerevu, ga nzikiza. Balisindikibwa mu go ne bagwa. Ndibatuusaako akabi mu kiseera eky'okubonereza. Nze Mukama, Nze njogedde.
13
Era ndabye ekibi ky'abalanzi b'e Samariya: balagula ku lwa Baali ne bakyamya abantu bange.
14
Naye ndabye n'abalanzi ab'omu Yerusaalemu nga bakola eby'ekivve. Bakola eby'obwenzi, era balimba. Bawagira abantu abakola ebibi, ne wataba akyuka kulekayo bibi bye. Bonna ndaba nga babi ng'ab'e Sodoma ne Gomora.
15
“Kale Nze Mukama Nnannyinimagye, kiikino kye ŋŋamba ku balanzi b'omu Yerusaalemu: ndibaliisa ebimera ebikaawa, era ndibanywesa obutwa kubanga babunyisizza obwonoonefu mu ggwanga lyonna.”
16
Awo Mukama Nnannyinimagye n'agamba ab'omu Yerusaalemu nti: “Temuwuliriza ebyo abalanzi bye babalagula, nga babasuubiza ebitajja kubagasa. Babategeeza ebyo bo bennyini bye balowoozezza, sso si ebyo Nze bye njogedde.
17
Abantu abanyooma bye njogedde, abalanzi abo babategeeza bulijjo nti: ‘Mujja kubeera bulungi.’ Era buli mukakanyavu wa mutima bamutegeeza nti tewali kabi kalimujjira.”
18
“Naye ani ku balanzi abo eyali amanye ebirowoozo bya Mukama? Tekuli yali awulidde bubaka bwe, wadde eyali awulirizza n'assaayo omwoyo ku ebyo Mukama by'agamba.
19
Obusungu bwa Mukama buli nga kibuyaga: ye mbuyaga ey'amaanyi, erikuntira ku mitwe gy'ababi.
20
Era obusungu bwe tebulikka nga tannatuukiriza ky'amaliridde okukola. Kino abantu be mu biseera ebijja balikitegeera bulungi.”
21
Awo Mukama n'agamba nti: “Saatuma balanzi abo, naye ne bagenda. Saabawa bubaka, naye ne boogera mu linnya lyange.
22
Singa baamanya ebirowoozo byange, kale bandituusizza obubaka bwange ku bantu bange, ne babakyusa okuva mu mpisa zaabwe embi, n'ebikolwa byabwe ebibi.
23
“Ndi Katonda ali okumpi n'ewala.
24
Tewali ayinza kwekweka we yeekisizza, ne simulaba. Temumanyi nga ndi buli wantu, mu ggulu ne mu nsi?
25
Mmanyi abalanzi abo bye boogedde, abalanga eby'obulimba, nga bakozesa erinnya lyange, nga bagamba nti: ‘Mukama yandoosezza, Mukama yandoosezza.’
26
Abalanzi abo balituusa wa okukyamya abantu bange, nga babategeeza eby'obulimba bye beeyiiyiza?
27
Balowooza nti ebirooto byabwe bye banyumya, binaaleetera abantu okunneerabira, badde eri Baali.
28
Omulanzi aloose ekirooto, ayogerenga nti kirooto bulooto. N'oyo afunye obubaka, abulangirirenga n'obwesigwa. Ebisusunku biba birungi ng'eŋŋaano?
29
Obubaka bwange buli ng'omuliro, era ng'ennyondo eyasaayasa olwazi.
30
Nkyawa abalanzi abo abaddira ebigambo bya bannaabwe, ne babirangirira ng'obubaka bwange.
31
Era nkyawa n'abalanzi bange abo, abaddira ebigambo ebyabwe ku bwabwe, ne bagamba nti Nze mbyogedde.
32
Muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba: nkyawa abalanzi aboogera ebirooto byabwe eby'obulimba, ne bakyamya abantu bange olw'obulimba bwabwe obwo, n'okwenyumiriza mu bitaliimu. Sibatumanga, era sibalagiranga. Era tebalina kye bagasa mu bantu bange. Nze Mukama, Nze njogedde.”
33
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, omu ku bantu bange, oba omulanzi, oba kabona, bw'akubuuza nti: ‘Obubaka bwa Mukama bwe buluwa?’ Ggwe muddemu nti: ‘Oli mugugu eri Mukama, era agenda kukusuula eri.’
34
Singa omulanzi oba kabona oba omulala yenna alikozesa ebigambo: ‘Omugugu gwa Mukama,’ ndimubonereza ye n'ab'ennyumba ye.
35
Wabula buli omu abuuzenga mikwano gye n'ab'eŋŋanda ze nti: ‘Mukama azzeemu ki? Mukama agambye ki?’
36
Tebakozesanga nate bigambo bino nti: ‘Omugugu gwa Mukama,’ kubanga oyo alibikozesa, obubaka bwange bulimufuukira omugugu. Abantu bakyamya ebigambo bya Katonda Nnannyinibulamu, Mukama Nnannyinimagye, Katonda waabwe.
37
Ggwe Yeremiya, buuza abalanzi nti: ‘Mukama akuzzeemu ki? Mukama agambye ki?’
38
Naye bwe bajeemera ekiragiro kyange, ne bakozesa ebigambo: ‘Omugugu gwa Mukama,’ bategeeze nti
39
nja kubasitula mbakanyuge wala, bo bennyini n'ekibuga kyabwe kye nabawa, ne bajjajjaabwe.
40
Era ndibaleetako ensonyi n'okuswala, ebitalyerabirwa.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52