bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 16
Jeremiah 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 17 →
1
Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti:
2
“Towasa mukazi, era tozaala baana mu kifo nga kino.
3
Nja kukutegeeza ebirituuka ku baana abazaalibwa wano, ne ku bazadde baabwe.
4
Balifa endwadde embi ennyo. Tebalikungubagirwa, era tebaliziikibwa. Emirambo gyabwe girigalamira ku ttaka, ne giba ng'entuumu y'obusa. Balittirwa mu lutalo, oba okuttibwa enjala, emirambo gyabwe ne giba emmere y'ebinyonyi, n'ebisolo eby'omu ttale.
5
“Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira. Tokaabira muntu n'omu. Abantu bange mbaggyeeko emirembe gye nali mbawadde, sikyabaagala, era sikyabakwatirwa kisa.
6
Abagagga n'abaavu balifiira mu nsi eno, naye tewaliba abaziika, wadde abakungubagira. Tewaliba yeesala misale, wadde yeemwa nviiri ku lwabwe.
7
Tewaliba awa munne kyakulya, okumukubagiza ng'afiiriddwa, wadde okumuwa ekyokunywa, ne bw'aliba ng'afiiriddwa kitaawe oba nnyina.
8
“Era toyingira mu nnyumba mwe baliira mbaga, okutuula nabo okulya n'okunywa.
9
Wulira Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli kye ŋŋamba. Nga nammwe mukyali balamu, era nga mulaba, ŋŋenda kukomya mu kifo kino amaloboozi ag'ekinyumu n'okusanyuka, nsirise amaloboozi g'abawasa abagole, n'ag'abagole.
10
“Bw'onootegeeza abantu ebigambo bino byonna, bajja kukubuuza nti: ‘Lwaki Mukama alangiridde nti akabi akanene bwe katyo kajja kututuukako? Tuzzizza musango ki, era tukoze kibi ki ekinyiizizza Mukama Katonda waffe?’
11
Awo ggwe ojja kubagamba nti Mukama agamba nti: ‘Bajjajjammwe banvaako, ne basinza era ne baweereza balubaale. Nze bansuula, ne batakwata mateeka gange.
12
Naye mmwe mukoze ebibi okusinga ne bajjajjammwe. Buli omu mu mmwe mukakanyavu wa mutima, era mubi, era tampulira.
13
Kyendiva mbagoba mu nsi eno, ne mbasuula mu nsi gye mutamanyi, era ne bajjajjammwe gye bataamanya. Eyo gye munaaweererezanga balubaale ekiro n'emisana, era ndiba sikyabakwatirwa kisa n'akatono.’ ”
14
Mukama agamba nti: “Ekiseera kijja kutuuka, mube nga temukyandayira nga Katonda Nnannyinibulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri.
15
Naye banandayiranga nga Katonda Nnannyinibulamu, eyakomyawo abantu ba Yisirayeli okuva mu nsi ey'omu bukiikakkono, ne mu nsi endala zonna gye nabasaasaanyiza, ne mbakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe. Nze Mukama, Nze njogedde.”
16
Mukama agamba nti: “Ŋŋenda okutumya abavubi bangi bajje bavube abantu bano. Oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, babayigge ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu mpuku ez'omu njazi.
17
Buli kye bakola nkiraba. Tewali kinkisibwa. N'ebibi byabwe tebikwekeddwa mu maaso gange.
18
“Ndibasasuza emirundi ebiri olw'omusango gwabwe n'olw'ekibi kyabwe, kubanga boonoonye ensi yange, nga bagijjuza ebifaananyi ebyo bye basinza, ebiri ng'emirambo, era nga bagijjuza balubaale.”
19
Mukama, ggwe onkuuma, era ggwe ompa amaanyi. Ggwe onnyamba mu biseera ebizibu. Ab'omu mawanga mu buli nsonda y'ensi, balijja gy'oli, ne bagamba nti: “Bajjajjaffe baalina bya bulimba bwereere ebitaliimu magoba, era ebitalina mugaso.
20
Omuntu ayinza okwekolera Katonda? Nedda. Bw'amwekolera, oyo taba Katonda.”
21
Mukama agamba nti: “Kale abo ndibamanyisiza ddala obuyinza bwange n'amaanyi gange. Balimanya nga Nze Mukama.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52