bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 7
Jeremiah 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 8 →
1
Awo Mukama n'ampa nze Yeremiya, obubaka, n'aŋŋamba nti:
2
“Yimirira mu mulyango gw'Essinzizo, otegeeze abantu, obagambe nti: ‘Muwulire mmwe mwenna ab'omu Buyudaaya, abayingirira mu miryango gino okusinza Mukama.
3
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti mulongoose empisa zammwe n'ebikolwa byammwe. Bwe mulikola bwe mutyo, alibaleka ne mubeera mu kifo kino.’
4
Muleme kwesiga bigambo bino eby'obulimba ebiddiŋŋanibwa nti: ‘Tuli bulungi, Essinzizo lya Mukama weeriri, Essinzizo lya Mukama weeriri.’
5
“Mukyuse empisa zammwe n'ebikolwa byammwe. Mube benkanya mu nkolagana ne bannammwe.
6
Mulemenga okuyiikiriza abagwira, ne bamulekwa, ne bannamwandu. Mulekere awo okuttanga abantu abatalina musango ab'omu ggwanga lino. Mulekere awo okusinzanga balubaale, kubanga okubasinza, kuba kwerumya mmwe mwennyini.
7
Olwo nja kubaleka mubeerenga mu nsi eno gye nawa bajjajjammwe ebeerere ddala yaabwe ennaku zonna.
8
“Naye kale mwesiga ebigambo eby'obulimba ebitalina mugaso.
9
Mubba, mutemula, mwenda, mulayirira eby'obulimba, mwotereza lubaale Baali obubaane, era mussaamu ekitiibwa balubaale be mwali mutamanyi.
10
Mukola ebyo byonna ebyenyinyalwa, olwo ne mujja muyimirira mu maaso gange, mu Ssinzizo lyange lyennyini, ne mugamba nti: ‘Tuli bulungi.’
11
Mulowooza nti Essinzizo lyange lifuuse mpuku eyeekwekebwamu abanyazi? Nze nzennyini ndabye kye mukola.
12
Mugende e Siilo, ekifo kye nasooka okulonda okunsinzirizangamu, mulabe kye nakikola, olw'ebibi by'abantu bange Abayisirayeli.
13
Mukoze ebibi bino byonna nga mbalabula emirundi n'emirundi, ne mugaana okuwulira, ne mbayita naye ne mutayitaba.
14
Kale kye nakola Siilo, kye ndikola Essinzizo lyange lino lye mwesiga, ekifo kino kye nawa mmwe ne bajjajjammwe.
15
Era ndibagoba mmwe mu maaso gange, nga bwe nagoba baganda bammwe bonna, abantu ba Efurayimu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
16
Mukama n'agamba nti: “Ggwe Yeremiya, tosabira bantu bano. Tompanjagira wadde okunneegayirira ku lwabwe, kubanga sijja kukuwuliriza.
17
Tolaba bye bakola mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu?
18
Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumba emigaati nga bagifumbira lubaale gwe bayita Nnaabakyala w'Eggulu. Era bafukira balubaale abalala ebyokunywa ebiweebwayo, okunsoomooza.
19
Naye nno tebasoomooza Nze, wabula beesoomooza bo bennyini, ne beereetera okuswala.
20
N'olwekyo Nze Mukama Katonda, ndiyiwa obusungu bwange n'ekiruyi kyange ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ne ku miti era ne ku bibala. Era obusungu bwange bulibuubuuka, nga tewali ayinza kubuziyiza.”
21
Mukama Nnannyinimagye era Katonda wa Yisirayeli agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebyokebwa nabyo mubyongere ku bitambiro byammwe ebirala, mulye ennyama yonna,
22
kubanga bwe naggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri, saabawa biragiro bikwata ku biweebwayo ebyokebwa, ne ku bitambiro.
23
Naye nabalagira kino nti: ‘Mumpulirenga. Nze nnaabanga Katonda wammwe, mmwe munaabanga bantu bange. Mukolerenga ku byonna bye mbalagira, mulyoke mube bulungi.’
24
Naye ne batawulira, era ne batassaayo mwoyo, wabula ne bagoberera amagezi gaabwe, era ne bakola ebyo emitima gyabwe emikakanyavu era emibi bye gyayagala. Mu kifo ky'okugenda mu maaso, ne badda emabega.
25
Okuviira ddala ku lunaku bajjajjammwe lwe baaviirako mu nsi y'e Misiri n'okutuusa kati, mbadde sirekaayo kutuma gye muli abaweereza bange abalanzi.
26
Naye ne mutawulira, era ne mutassaayo mwoyo. Ne mukakanyaza emitima gyammwe, era ne mukola ebibi okusinga bajjajjammwe.
27
“Kale ggwe Yeremiya, olibategeeza ebigambo bino byonna, naye tebalikuwuliriza. Olibakoowoola, naye tebalikwanukula.
28
Olibagamba nti eggwanga lyabwe terimpulira Nze Mukama Katonda waalyo, era tebakkiriza kuyigirizibwa. Amazima gazikiridde. Tebakyayagala wadde okugoogerako.
29
“Mmwe ab'omu Yerusaalemu, musaleeko enviiri zammwe, muzisuule wala. Mutandike okukungubagira ku ntikko z'ensozi, kubanga Nze Mukama nsunguwadde, era nsudde abantu bange.
30
Abantu b'omu Buyudaaya bakoze ebibi mu maaso gange. Baddidde balubaale be nkyawa, ne babateeka mu Ssinzizo lyange ne balyonoona.
31
“Bazimbye ebifo ebigulumivu e Tofeti, mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro, kye sibalagiranga kukola, era ekitayingirangako mu birowoozo byange.
32
Kale ebiseera bijja kutuuka, nga tekikyayitibwa Tofeti oba Ekiwonvu kya mutabani wa Hinnomu, naye Ekiwonvu ky'Ettambiro, kubanga balikiziikamu abafu, okutuusa nga tekikyalimu bbanga lya kuziikamu.
33
Emirambo gy'abantu giriba mmere ya binyonyi na ya bisolo eby'omu ttale, era tewaliba abigoba.
34
Mu bibuga bya Buyudaaya ne mu nguudo za Yerusaalemu, ndikomya amaloboozi g'abali mu binyumu ne mu kusanyuka, n'ag'abo abali ku mbaga ez'obugole, kubanga ensi erifuuka matongo.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52