bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 29
Jeremiah 29
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 30 →
1
Eno ye bbaluwa gye nawandiikira bakabona n'abalanzi n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abalala bonna Nebukadunezzari be yaggya e Yerusaalemu, n'abatwala e Babilooni mu busibe.
2
Nagiwandiika nga Kabaka Yekoniya, ne nnyina, n'abakungu b'omu lubiri, n'abakulembeze b'omu Buyudaaya ne Yerusaalemu, n'abafundi n'abaweesi, bamaze okuggyibwa e Yerusaalemu.
3
Nagikwasa Elasa mutabani wa Safani, era ne Gemariya mutabani wa Yilikiya, Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya be yatuma e Babilooni eri Kabaka Nebukadunezzari. Yali egamba bw'eti:
4
“Mukama Nnannyinimagye Katonda wa Yisirayeli, abasibe bonna abaggyibwa e Yerusaalemu ne batwalibwa e Babilooni, abagamba nti:
5
‘Muzimbe amayumba, mukkalire. Musimbe ensuku, mulye emmere yaamu.
6
Muwase abakazi, muzaale abaana. Muwasize batabani bammwe abakazi, era mufumbize bawala bammwe, bazaale, mweyongere obungi, muleme kukendeera.
7
Mukolere obulungi bw'ebibuga gye nabatwala mu busibe. Munsabenga, mbiwenga omukisa, kubanga bwe biriba emirembe, nammwe muliba mirembe.
8
“ ‘Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, mbalabula muleme kulimbibwa balanzi abali mu mmwe, wadde abalala bonna, abagamba nti bayinza okulanga ebirijja. Temuwuliriza birooto byabwe bye baloota,
9
kubanga bye babalagula, nga bajuliza erinnya lyange, bya bulimba. Nze sibatumanga. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
10
Mukama agamba nti: “Emyaka nsanvu gye nawa Babilooni bwe giriggwaako, ne ndyoka ndaga bwe mbalumirwa mmwe era ne ntuukiriza kye nabasuubiza eky'okubakomyawo ku butaka.
11
Mmanyi bulungi bye mbategekedde mmwe. Bye mbategekedde si bya kabi, naye bya mirembe, egirimu okusuubira ebirungi gye bujja.
12
Olwo mulinkoowoola, ne mujja okunneegayirira, ne mbawulira.
13
Mulinnoonya ne mundaba, kubanga mulinnoonya n'omutima gwammwe gwonna.
14
Ddala mulindaba, era ndibaggya mu busibe. Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nabaasaanyiza, ne mbakomyawo mu nsi mwe nabaggya okubatwala mu busibe. Nze Mukama, Nze njogedde.
15
“Mugamba nti: ‘Mukama atuwadde abalanzi mu Babilooni.’
16
Muwulire ekyo Mukama ky'agamba ku kabaka afuga obwakabaka bwa Dawudi, ne ku baganda bammwe, abataatwalibwa wamu nammwe mu busibe.
17
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Ndisindika mu bo olutalo n'enjala n'endwadde, era ndibafuula ng'emitiini emivundu, egitakyayinza kuliibwa.
18
Ndibayigganya n'olutalo, n'enjala, n'endwadde, era amawanga gonna galyesisiwala okulaba ekyo. Buli gye ndibasaasaanyiza, abantu balitya era balyekanga olw'ebyo ebibatuuseeko. Balibasekerera, era balikozesa erinnya lyabwe mu kukolima.
19
Ebyo biribatuukako, kubanga tebaawuliriza bubaka bwange bwe nabaweerezanga awatali kwosa, nga mbuyisa ku baweereza bange abalanzi, naye bo ne batakkiriza kuwulira.
20
Kale mmwe mwenna be naggya e Yerusaalemu ne mbasindika e Babilooni mu buwaŋŋanguse, muwulire ebyo Nze Mukama bye ŋŋamba.’ ”
21
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ayogedde ku Akabu, mutabani wa Kalaya ne ku Zeddeekiya mutabani wa Maaseya, ababategeeza eby'obulimba nga bajuliza erinnya lye. Agambye nti alibawaayo mu mikono gya Kabaka Nebukadunezzari ow'e Babilooni n'abatta nga mulaba.
22
Era abasibe bonna abaava mu Buyudaaya abali e Babilooni, bwe banaabangako gwe bakolimira, banaagambanga nti: “Mukama akufuule nga Zeddeekiya ne Akabu, kabaka wa Babilooni be yayokya omuliro!”
23
Ekyo kijja kubatuukako, kubanga bakoze eby'obusirusiru mu Yisirayeli. Benze ku baka bannaabwe, era boogedde eby'obulimba nga bajuliza erinnya lya Mukama. Mukama tabibalagiranga. Amanyi bye bakoze, era ye mujulirwa. Mukama ye ayogedde.
24
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli yampa obubaka obufa ku Semaaya ow'e Nehelamu, eyaweereza ebbaluwa ku bubwe eri abantu bonna mu Yerusaalemu, n'eri Kabona Zefaniya, mutabani wa Maaseya, n'eri bakabona abalala bonna. Ebbaluwa eyo Semaaya yagiwandiikira Zefaniya nti:
26
“Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada, obe mukulu mu Ssinzizo. Mulimu gwo okulaba nga buli mulalu eyeefuula omulanzi ateekebwa mu nvuba asibwe mu kkomera.
27
Kale lwaki tokoze bw'otyo ku Yeremiya ow'e Anatooti, eyeefuula omulanzi, n'ayogera gye muli?
28
Yeremiya oyo, yatutumira mu Babilooni ng'agamba nti: ‘Obusibe bwa kulwawo. Muzimbe amayumba mukkalire, era musimbe ensuku, mulyenga emmere yaamu.’ ”
29
Awo Zefaniya kabona, n'ansomera ebbaluwa eyo.
30
Mukama n'aŋŋamba
31
okutumira abasibe bonna mu Babilooni obubaka buno obufa ku Semaaya nti: “Nze Mukama, nja kubonereza Semaaya n'ezzadde lye. Nze simutumanga, kyokka n'ayogera gye muli ng'omulanzi, era n'abaleetera okwesiga eby'obulimba. Taliba na muzzukulu we mu mmwe. Era taliwangaala kulaba ku birungi bye ndikolera abantu bange, kubanga yayogera ebibaleetera okunjeemera. Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52