bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 2
Jeremiah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 3 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda olangirire, ab'omu Yerusaalemu bawulire nti: Mukama agamba nti:
2
‘Nzijukira nga bwe wali omwesigwa mu buto bwo, nga bwe wanjagalanga ng'okyali mugole, nga bwe wangobereranga mu ddungu, mu nsi etesigiddwamu.
3
Yisirayeli, wali wange nzekka. Wali mutukuvu, gwe nasooka okwefunira, nga buli akulumya aba azzizza musango, era ng'atuukibwako akabi. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
4
Muwulire obubaka bwa Mukama, mmwe bazzukulu ba Yakobo, mmwe mwenna ebika bya Yisirayeli.
5
Mukama agamba nti: “Kibi ki bajjajjammwe kye banvunaana? Kiki ekyabaleetera okunvaako? Lwaki baagoberera ebitaliimu nsa, nabo ne bafuuka abataliimu nsa?
6
Tebeebuuzanako nti: ‘Mukama ali ludda wa? Ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, n'atuyisa mu lukoola, ensi ey'amalungu n'obunnya, enkalu era ey'akabi, ensi eteyitikamu, era etebeeramu bantu.’
7
Nabaleeta mmwe mu nsi engimu, okulyanga ebibala byamu, n'ebirungi byamu ebirala. Naye mmwe bwe mwayingira, ne mwonoona ensi yange, ne mufaafaaganya ensi gye nabawa mmwe.
8
Bakabona tebeebuuza nti: ‘Mukama ali ludda wa?’ Ne bannamateeka tebammanya. N'abakulembeze banjeemera, abalanzi ne balagula ku lwa Baali, ne bagoberera ebitaliiko kye bigasa.
9
“N'olwekyo Nze Mukama, nja kwongera okubalumiriza mmwe omusango, era ndigulumiriza n'abaana bammwe n'abazzukulu.
10
Muwunguke mugende mu kizinga ky'e Kittimu, oba mutume e Kedari, mwetegereze mulabe oba nga waali wabaddewo ekintu ekifaanana nga kino.
11
Waliwo eggwanga erikyusa balubaale baalyo, ne bwe bataba balubaale ddala? Naye abantu bange, mu kifo kyange Nze Katonda abaweesezza ekitiibwa, bataddewo balubaale abataliiko kye bagasa.
12
Ggwe ggulu, samaalirira olw'ekyo, weewuunye oyanaamirire,
13
kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri: banvuddeko Nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ebiwomoggofu, ebitayinza kubeeramu mazzi.
14
“Abayisirayeli baddu? Baazaalibwa mu buddu? Kale lwaki bayiggibwa?
15
Abalabe baabwe babawulugumirako ng'empologoma. Eggwanga lyabwe balifudde ddungu, ebibuga byabwe bifuuse matongo, tebikyalimu bantu.
16
Ddala abantu b'e Menfiisi n'ab'e Tapaneesi babaasizza mmwe ebiwanga!
17
Kino mmwe mukyereetedde, kubanga munvuddeko Nze, Mukama Katonda wammwe, nga Nze mbadde mbaluŋŋamya mu kkubo.
18
Kaakano kibagasa ki okukwata ekkubo erigenda e Misiri? Okunywa amazzi ga Kiyira? Oba kale mufunamu ki, okukwata ery'e Assiriya? Okunywa amazzi g'omugga Ewufuraate?
19
Ekibi kyammwe kyennyini kiribabonereza mmwe; era okunvaako kwammwe, kulibasalira omusango okubasinga. Mumanye era mulabe bwe kiri ekibi era bwe kiri eky'obulumi okunvaako Nze Mukama Katonda wammwe, era n'obutakyantya. Nze Mukama Afugabyonna Nnannyinimagye, Nze njogedde.”
20
Mukama agamba nti: “Okuva edda, mwagaana obuyinza bwange ne munjeemera, ne mugamba nti: ‘Tetujja kukuweereza.’ Mwalekayo okuba abeesigwa, ne musinzizanga balubaale ku buli lusozi oluwanvu, ne wansi wa buli muti.
21
Sso nga nali mbasimbye ng'omuzabbibu omulondemu mu mirala ogw'ensigo esinga obulungi. Naye kale mwonoonese mutya ne mufuuka omuzabbibu ogw'omu ttale?
22
Ne bwe munaabisa oluvu ne ssabbuuni omungi, era nsigala nkyalaba ebbala ly'ekibi kyammwe.
23
Muyinza mutya okugamba nti: ‘Tetwonoonese, tetusinza Babaali?’ Mulabe nga bwe mweyisa mu kiwonvu, mutegeere bye mwakola. Muli ng'eŋŋamiya eraluse, edduka ng'edda eno n'eri.
24
Muli ng'entulege eyamanyiira eddungu, ekuba emyasi nga yeegomba okulinnyirwa ennume. Ani ayinza okugiziyiza? Ennume eziginoonya tezeekooya: zisanga esaze, kye kiseera kyayo.
25
Muleme kuggweereza ngatto zammwe, wadde okwekaza emimiro nga mudduka okugoberera balubaale! Naye mugamba nti: ‘Tetuyinza kweziyiza, kubanga twagadde balubaale abagwira, era be tujja okugoberera.’ ”
26
Mukama agamba nti: “Ng'omubbi bw'aswala nga bamukutte, nammwe Abayisirayeli mwenna bwe muliswala, awamu ne bakabaka bammwe, n'abakungu, ne bakabona bammwe, n'abalanzi.
27
Mugamba ekikonge nti: ‘Ggwe kitaffe,’ n'ejjinja nti: ‘Ggwe nnyaffe.’ Munkubye amabega gammwe, ne mutantunuulira. Naye bwe mubeera mu buzibu, nga munsaba nti: ‘Jjangu otulokole.’
28
“Kale balubaale bammwe be mwekoledde bali ludda wa? Bwe mubeera mu buzibu, kale basituke, oba nga bayinza. Mmwe ab'omu Buyudaaya, mulina balubaale abenkana ebibuga byammwe obungi.
29
Musango ki gwe munnumiriza? Mwenna munjeemedde!
30
Nababonereza mmwe, naye tekyavaamu mugaso, kubanga temukkiriza kukangavvulwa. Mutemudde abalanzi bammwe, nga muli ng'empologoma ezikiriza abantu.
31
“Mmwe Abayisirayeli ab'omulembe guno, muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba. Nali ddungu gye muli, oba nsi ekutte ekizikiza? Kale mmwe abantu bange, kiki ekiboogeza nti: ‘Tujja kwetaaya, tetukyadda gy'oli?’
32
Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'okwewoomya? Oba omugole ebyambalo bye? Naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika!
33
“Nga mumanyi nnyo okuganza abalala! N'abakazi ab'empisa embi bayinza okuyigira ku mmwe!
34
Ebyambalo byammwe biriko amabala g'omusaayi gw'abaavu abatalina musango, era be mutakwatidde mu kubba. “Newaakubadde ebyo byonna biri bwe bityo,
35
era mugamba nti: ‘Tetuliiko musango. Ddala Mukama takyatulinako busungu.’ Naye Nze Mukama nja kubabonereza mmwe, kubanga mugamba nti temukolanga kibi.
36
Lwaki mukyukakyuka, ne mugoberera balubaale b'amawanga amalala? Misiri ajja kubaleka mu bbanga muswale, nga Assiriya bwe yakola.
37
N'ewuwe mulivaayo nga mwetisse emikono ku mitwe. Nze Mukama ŋŋaanyi abo be mwesiga, era temulibafunamu mukisa.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52