bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 12
Jeremiah 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 13 →
1
Singa mpakana naawe, ggwe obeera omutuufu. Naye era ka njogereko naawe ku bwenkanya bwo. Lwaki ababi bali bulungi? Lwaki abakumpanya bali mirembe?
2
Wabasimba ne bamera, ne beeyongera okukula era ne babala ebibala. Bakwogerako bulijjo, naye tebakufaako
3
Naye nze ommanyi, ayi Mukama. Olaba bye nkola, era omanyi bwe nkwagala. Sika abantu abo ng'endiga ez'okusalibwa. Bakuume butiribiri okutuusa ku lunaku olw'okuttirwako.
4
Ensi erituusa wa okukala n'omuddo gwonna okuwotoka? Ebisolo n'ebinyonyi bifa olw'obubi bw'abantu baffe. Ate bo nga bagamba nti: “Katonda talaba bye tukola.”
5
Mukama agamba nti: “Yeremiya, oba ng'oddukidde wamu n'ab'ebigere n'okoowa, kale onoosobola otya okuddukira awamu n'abali ku mbalaasi? Oba tosobola kuyimirira watereevu, olikola otya mu lusaalu lwa Yorudaani?
6
Baganda bo bennyini n'ab'ekika kyo, bakuliddemu olukwe, nabo beetabye n'abakuyigganya. Tobakkiriza ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.”
7
Mukama agamba nti: “Njabulidde Yisirayeli, ndese eggwanga lye nalondamu. Abantu be njagala ennyo mbawaddeyo mu mikono gy'abalabe.
8
Abantu bange be nalondamu banfuukidde ng'empologoma mu kibira: bamboggoledde, kyenvudde mbakyawa.
9
Abantu bange be nalondamu bali ng'ekinyonyi ekirumbiddwa kamunye erudda n'erudda. Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu ttale muzireete zirye.
10
Abafuzi bangi boonoonye ennimiro yange ey'emizabbibu, balinnyiridde obulime bwange. Ensi yange ennungi bagifudde ddungu nga tekyalimu bantu.
11
Bagifudde matongo, ensiko obusiko gye ntunulako. Ensi yonna efuuse matongo, naye tewali afaayo!
12
Abanyazi batalaaze ensozi zonna eziri mu ddungu. Nze Mukama nsindise olutalo okuzikiriza ensi eyo yonna. Tewali n'omu alina emirembe.
13
Baasiga eŋŋaano, bakungudde maggwa. Bateganye nnyo, ne batafunamu mugaso. Olw'obusungu bwange obungi, ebirime byabwe bifudde.”
14
Mukama agamba nti: “Nnina kye ŋŋamba ku baliraanwa ba Yisirayeli, abaayonoona ensi gye nawa abantu bange Abayisirayeli. Abantu abo ababi ndibaggya mu nsi zaabwe ng'ekimera ekikuuliddwa, era ndiggya Buyudaaya mu mikono gyabwe.
15
Naye bwe ndimala okubaggya mu nsi zaabwe, ndiddamu okubakwatirwa ekisa. Ndikomyawo buli ggwanga mu kitundu kyalyo, ne mu nsi yaalyo.
16
Ate bwe balinyiikira okuyiga empisa z'abantu bange, ne balayiranga nti: ‘Nga Mukama bw'ali omulamu,’ nga bwe baayigiriza abantu bange okulayiranga lubaale Baali, olwo baliba kitundu kya bantu bange.
17
Naye eggwanga eririgaana okuwulira, ndiriggyirawo ddala, ne ndizikiriza. Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52