bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 13
Jeremiah 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 14 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato, naye tokyozaamu.”
2
Awo ne ngula ekimyu, ne nkyesiba mu kiwato.
3
Awo Mukama n'aŋŋamba omulundi ogwokubiri nti:
4
“Ddira ekimyu kye wagula, era kye weesibye mu kiwato, ogende okikweke mu lwatika lw'olwazi, ku Mugga Ewufuraate.”
5
Ne ŋŋenda ne nkikweka okumpi n'Omugga Ewufuraate, nga Mukama bwe yandagira.
6
Awo olwatuuka, nga wayiseewo ebbanga ddene, Mukama n'aŋŋamba nti: “Situka ogende ku Ewufuraate, oggyeyo ekimyu kye nakulagira okukwekayo.”
7
Awo ne ŋŋenda ku Ewufuraate, ne nsima, ne nzigyayo ekimyu, mu kifo mwe nali nkikwese, ne nsanga nga kyonoonese, tekikyaliko kye kigasa.
8
Awo n'aŋŋamba nti:
9
“Bwe ntyo bwe ndizikiriza okwekulumbaza kwa Buyudaaya, n'okwekulumbaza kwa Yerusaalemu.
10
Abantu abo ababi, baagaana okuwulira bye mbagamba. Baagoberera obukakanyavu bw'emitima gyabwe, ne basinza era ne baweereza balubaale. Kale baliba ng'ekimyu ekyo, ekitakyaliko kye kigasa.
11
Ng'ekimyu bwe kyekwatira ddala ku kiwato ky'omuntu, bwe kityo bwe nayagala abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya okwekwatira ddala ku Nze, balyoke babenga bantu bange, baleetere erinnya lyange ettendo n'ekitiibwa. Naye ne batayagala kuwulira.”
12
Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, gamba abantu b'omu Yisirayeli nti: ‘Buli kita kijjuzibwa omwenge.’ Bajja kukuddamu nti: ‘Tetumanyi nga buli kita kijjuzibwa omwenge?’
13
Awo n'olyoka obagamba nti Nze Mukama mbagambye nti abatuuze b'omu nsi eno bonna, kwe kugamba bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, bakabona n'abalanzi, n'abantu b'omu Yerusaalemu bonna, ndibajjuza omwenge batamiire.
14
Olwo ndyoke mbaaseeyase nga mbatomereganya bonna, abato n'abakulu. Sirisaasira, sirisonyiwa wadde okukwatirwa ekisa, wabula okubazikiriza.”
15
Mukama ayogedde, muleme kwekulumbaza. Muwulire, musseeyo omwoyo.
16
Muwe ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, nga tannaleeta kizikiza, ne mwekoona ku nsozi, era nga n'ekitangaala kye musuubira, tannakifuula nzikiza ekutte.
17
Bwe munaagaana okuwulira, nja kukaabira mu kyama olw'okwekulumbaza kwammwe. Nja kukaaba nnyo nkulukuse amaziga, kubanga abantu ba Mukama batwaliddwa nga basibe.
18
Mukama n'aŋŋamba nti: “Gamba kabaka ne nnamasole nti: ‘Muwanuke ku ntebe zammwe, kubanga engule zammwe ennungi zivudde ku mitwe gyammwe.’
19
Ebibuga eby'omu bukiikakkono bizingiziddwa, tewali ayinza kuwaguza kubituukako. Abantu b'omu Buyudaaya bonna batwaliddwa nga basibe.”
20
Yerusaalemu, laba! Abalabe bo bajja, nga bava mu bukiikakkono. Abantu bo abaakukwasibwa okulabirira, abantu bo abakweyagaza baluwa?
21
Oligamba otya, ng'abo be wayitanga mikwano gyo bakuwangudde, era nga be bakufuga? Toliba mu buyinike ng'omukazi alumwa okuzaala?
22
Weebuuza akabi ako konna kyekavudde kakutuukako, ne bakubikkula engoye zo, ne bakuwemula? Kakutuuseeko kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
23
Omuntu omuddugavu ayinza okukyusa langi y'olususu lwe? Oba engo okukyusa amabala gaayo? Oba ekyo kisoboka, kale nammwe, abaamanyiira okukola ebibi, muyinza okukola ebirungi!
24
Mukama kyaliva abasaasaanya mmwe, ng'empewo eva mu ddungu bw'esaasaanya ebisusunku.
25
Agambye nti ekyo kye kiribatuukako. Ekyo ky'asazeewo okubakolako mmwe, kubanga mumwerabidde, ne mwesiga balubaale.
26
Mukama alibabikkula engoye zammwe, ne muswala.
27
Yabalaba nga mukola eby'ensonyi by'akyawa. Mwagenda eri balubaale mu nsozi ne mu ttale, ne muba ng'abenzi n'abakaba. Zibasanze, mmwe abantu b'omu Yerusaalemu! Mulibeerako ddi abalongoofu?
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52