bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 14
Jeremiah 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 15 →
1
Awo Mukama n'antegeeza ebifa ku kyeya nti:
2
“Obuyudaaya buli mu kukungubaga: ebibuga byabwo biwuubadde. Abantu baabwo batuula ku ttaka nga banakuwadde. Yerusaalemu kitema miranga.
3
Abakungu batuma abaweereza baabwe emugga, ne batuuka ku nzizi ne baddayo eka ng'ensuwa nkalu. Ensonyi zibakwata ne beebikka ku maaso nga baswadde.
4
Abalimi basobeddwa! Babikka ku maaso nga baswadde, kubanga enkuba tekyatonnya, era ettaka likaze.
5
N'empeewo ereka ku ttale omwana gwayo gw'ezadde, kubanga tewali muddo.
6
N'entulege ziyimirira ku nsozi okutakyali muddo ne ziwankawanka ng'ebibe, nga teziraba bimera bye zirya.”
7
Wadde ebibi byaffe bitulumiriza, tuyambe, ayi Mukama, nga bwe watusuubiza. Twakuvaako emirundi mingi, twakola ebibi ebikunyiiza.
8
Ggwe essuubi ly'abantu ba Yisirayeli ggwe abaggya mu biseera ebizibu, lwaki oba ng'omuyise mu nsi eno, ng'omutambuze asula olumu?
9
Lwaki oli ng'omuntu asamaaliridde, ng'omuzira atayinza kutaasa? Naye, ayi Mukama, oli wakati mu ffe. Tuli babo, totwabulira.
10
Abantu bano, Mukama aboogerako bw'ati nti: “Banyumirwa okunvaako, era tebeefuga. Kyenva sibasanyukira. Nja kujjukira ensobi zaabwe, mbabonereze olw'ebibi byabwe.”
11
Mukama n'aŋŋamba nti: “Tosabira bantu bano kuweebwa birungi.
12
Ne bwe banaasiiba, sijja kuwuliriza bye basaba. Ne bwe banampa ebitambiro n'ebirabo, sijja kubasanyukira, wabula nja kubazikiriza mu lutalo era mbasse enjala n'endwadde.”
13
Awo ne ŋŋamba nti: “Mukama Katonda, kino kitalo! Abalanzi bategeeza abantu nti tebaliba na lutalo wadde enjala, kubanga wabakakasa kubawa mirembe mu nsi eno.”
14
Mukama n'aŋŋamba nti: “Abalanzi balagula bya bulimba nga bajuliza erinnya lyange. Sibatumanga era sibalagiranga, wadde okwogera nabo. Okulabikirwa kwe boogerako, tekwava gye ndi. Ne bye balagula, bye bintu ebitagasa, bye beefaanaanyiriza obwefaanaanyiriza mu mitima gyabwe.
15
Nze Mukama, nkutegeeza kye ŋŋenda okukola abalanzi abo be situmanga, naye ne balagula nga bajuliza erinnya lyange, ne bagamba nti olutalo n'enjala tebiriba mu nsi eno. Ndibattira mu lutalo, era ndibassa enjala.
16
N'abantu be balagula, balittibwa mu ngeri ye emu. Emirambo gyabwe, wamu n'egya bakazi baabwe, n'egya batabani baabwe era n'egya bawala baabwe, girigwa mu nguudo z'omu Yerusaalemu, ne wataba agiziika, bwe ntyo mbasasuze olw'ebibi byabwe.”
17
Awo Mukama n'andagira ntegeeze abantu obuyinike bwabwe, mbagambe nti: “Amaaso gange gakulukuta amaziga emisana n'ekiro, nneme kulekayo kukaaba maziga, kubanga abantu bange bafumitiddwa ebiwundu binene, era balumiziddwa nnyo.
18
Bwe ntambulako mu ttale, nsangayo emirambo gy'abo abattiddwa mu lutalo. Bwe nnyingira mu kibuga, ndaba abafa enjala. Abalanzi ne bakabona batwalibwa mu nsi, gye batamanyi n'akatono.”
19
Ayi Mukama, ab'omu Buyudaaya obasuulidde ddala? Ab'omu Yerusaalemu obakyaye? Otufumitidde ki bw'otyo, ne tutasobola kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe, ne wataba kalungi ke tufuna. Twasuubira okuwonyezebwa, ne tujjirwa kikangabwa.
20
Twakola ebibi ne tukunyiiza, tukkirizza ebibi byaffe n'ebibi bya bajjajjaffe.
21
Jjukira bye wasuubiza oleme kutusuula. Toswaza Yerusaalemu, ekifo eky'entebe yo eyeekitiibwa. Tomenya ndagaano gye wakola naffe.
22
Mu balubaale b'amawanga, tewali ayinza kutonnyesa nkuba. N'eggulu ku bwalyo, teriyinza kuleeta luwandaggirize. Twesiga ggwe, ayi Mukama Katonda, kubanga ggwe okola ebyo byonna.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52