bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 27
Jeremiah 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
1
Zeddeekiya mutabani wa Yosiya, bwe yali nga yaakafuulibwa kabaka wa Buyudaaya, Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya,
2
weekolere ekikoligo mu miti emikiike era emisibise enkoba, okyeyambike mu bulago.
3
Oweereze obubaka eri bakabaka: ow'e Edomu, n'ow'e Mowaabu, n'ow'e Ammoni, n'ow'e Tiiro, n'ow'e Sidoni, ng'oyita mu babaka baabwe abajja e Yerusaalemu okulaba Kabaka Zeddeekiya.
4
Obawe obubaka obw'okutwalira bakama baabwe nti Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti mugambe bakama bammwe nti:
5
‘Olw'obuyinza bwange obungi, n'amaanyi gange, Nze natonda ensi erimu abantu n'ensolo, era ngiwa oyo gwe nsiima.
6
Era kaakano ensi zino zonna nziwadde omuweereza wange Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya okuzifuga. Era mmuwadde n'ensolo ez'omu ttale okumuweereza.
7
Amawanga gonna galimuweereza, ye ne mutabani we, n'omwana wa mutabani we, okutuusa ekiseera kye nategekera eggwanga lye lwe kiriggwaako, olwo nalyo ne liryoka liweereza amawanga mangi, aga bakabaka abakulu.
8
“ ‘Ab'eggwanga oba obwakabaka abaligaana okuweereza kabaka oyo Nebukadunezzari owa Babilooniya, n'okugondera obuyinza bwe, ndibabonereza n'olutalo n'enjala n'endwadde, okutuusa lwe ndireka Nebukadunezzari okubusaanyizaawo ddala.
9
Kale temuwuliriza balanzi bammwe n'abalaguzi bammwe, wadde omulala yenna agamba nti ayinza okulanga ebirijja, ng'avvuunula ebirooto oba nga yeebuuza ku mizimu oba ng'akozesa eby'amalogo. Abo bonna babagamba nti temuliweereza kabaka wa Babilooniya.
10
Babalagula bya bulimba era balibaleetera okutwalibwa ewala w'ensi yammwe, ngibagobemu mmwe, era mbazikirize.
11
Naye ab'eggwanga eririgondera obufuzi bwa kabaka wa Babilooniya, ne limuweereza, ndibaleka okusigala mu nsi yaabwe, okugirima n'okugibeeramu. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
12
Awo ebintu ebyo bye bimu, ne mbitegeeza Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya, ne mmugamba nti: “Mukkirize okufugibwa kabaka wa Babilooniya. Mumuweereze ye n'abantu be, lwe munaalama.
13
Ggwe n'abantu bo, mwagalira ki okufiira mu lutalo, oba okufa enjala oba endwadde, nga Mukama bw'agambye nti ebyo bye birituuka ku ggwanga eritalikkiriza kufugibwa kabaka wa Babilooniya?
14
Temuwuliriza balanzi babagamba nti temuliweereza kabaka wa Babilooniya, kubanga babalagula bya bulimba.
15
Mukama yennyini agamba nti tabatumanga, wabula boogera bya bulimba mu linnya lye. Kale ajja kubagoba mmwe mu nsi ye, muzikirire wamu n'abalanzi abo ababalagula.”
16
Era ne ntegeeza bakabona n'abantu bano bonna, Mukama by'agambye nti: “Temuwuliriza bya balanzi bammwe ababalagula nti ebintu by'Essinzizo bijja kuzzibwa mangu okuva e Babilooni. Babalagula bya bulimba.
17
Temubawuliriza. Mugondere kabaka wa Babilooniya, lwe munaalama. Ekibuga kino kinaafuukira ki amatongo?
18
Oba ddala balanzi era nga balina obubaka bwange, kale beegayirire Nze Mukama Nnannyinimagye, ebintu ebisigaddewo mu Ssinzizo ne mu lubiri lwa kabaka wa Buyudaaya ne mu Yerusaalemu bireme kutwalibwa mu Babilooniya.”
19
Mukama Nnannyinimagye bw'atyo bw'ayogera ku mpagi ne tanka n'ebikondo by'ebinaabiro, n'ebintu ebirala ebyasigala mu Kibuga Yerusaalemu,
20
Nebukadunezzari kabaka w'e Babilooni bwe yatwala e Babilooni mu busibe kabaka wa Buyudaaya Yekoniya mutabani wa Yehoyakiimu n'abakungu bonna ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu.
21
Mukama agamba nti: “Muwulire ebyo Nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, bye ŋŋamba, ebifa ku bintu ebyasigala mu Ssinzizo ne mu lubiri lwa kabaka e Yerusaalemu.
22
Bijja kutwalibwa e Babilooni, era bibeere eyo okutuusa lwe ndibissaako omwoyo, ne mbikomyawo, ne mbiteeka mu kifo kino. Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52