bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 50
Jeremiah 50
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 51 →
1
Buno bwe bubaka Mukama bwe yampa nga bufa ku kibuga Babilooni: ne ku bantu baamu:
2
“Mubunyise amawulire mu mawanga, mugalangirire. Mutimbe ebipande, musaasaanye amawulire, temugakisa, mugambe nti: ‘Babilooni kiwambiddwa, lubaale waakyo Baali aswadde, ne Merodaki atokomose! Ebifaananyi byakyo n'ebirala byonna ebisinzibwa bizikiriziddwa!’
3
Mu bukiikakkono evuddeyo eggwanga okulumba ensi Babilooniya. Lijja kugifuula matongo, eddukibwemu abantu n'ensolo, wabulewo n'omu agibeeramu.”
4
Mukama agamba nti: “Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya balijja nga bakaaba amaziga, nga banoonya Nze Katonda waabwe.
5
Balibuuza awali ekkubo erigenda e Siyooni, ne boolekera eyo, nga bagamba nti: ‘Mujje twegatte ne Mukama, tukole naye endagaano ey'olubeerera etalyerabirwa.’
6
“Abantu bange bali ng'endiga, abasumba baazo ze baawabya, ne bazibuliza mu nsozi. Babungeeta okuva ku lusozi okudda ku lulala, ne beerabira n'ewaabwe.
7
Balumbibwa bonna ababasanga. Abalabe baabwe bagamba nti: ‘Kye tukoze si kibi, kubanga baasobya mu maaso ga Mukama, bajjajjaabwe gwe beesiganga, era nabo bennyini gwe bandinywereddengako.’
8
“Mmwe Abayisirayeli, mudduke muve mu Babilooni. Mufulume ensi y'Abakaludaaya. Mube ababereberye mu kugivaamu,
9
kubanga nja kusiikuula nsitule ekibinja ky'amawanga ag'amaanyi mu bukiikakkono, bajje balumbe Babilooniya. Balitala okulwanyisa ensi eyo bagiwangule. Bamanyirivu mu kulasa obusaale, era mu kuteeba tebasubwa.
10
Ensi y'Abakaludaaya erinyagibwa. Era abo abaginyaga, balitwala buli kye baagala. Nze Mukama, Nze njogedde.”
11
Mukama agamba nti: “Mmwe abaanyaga eggwanga lyange, musanyuse ne mujaganya, ne muligita ng'ennyana y'ente ewuula eŋŋaano, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi.
12
Naye ekibuga kyammwe ekikulu kiritoowazibwa. Eggwanga lyammwe lye lirisembayo mu mawanga gonna. Lirifuuka olukoola, ensi enkalu ey'eddungu.
13
Olw'obusungu bwange, ensi yammwe teebeerengamu muntu n'omu. Erirekebwa awo matongo, era bonna abanaayitanga mu Babilooni, banaasamaaliriranga ne beewuunya okubonaabona kwakyo.
14
“Mmwe mwenna abalasi b'obusaale, mutale okulwanyisa Babilooni, mukizikirize. Mukirase obusaale bwammwe bwonna, kubanga kyakola ekibi mu maaso ga Mukama.
15
Mukireekaanireko ku buli ludda. Kaakano kijeemulukuse. Ebigo byakyo biyiise, n'ebisenge byakyo bimenyeddwa, kubanga mpoolera eggwanga ku Bakaludaaya. Muwoolere eggwanga ku bo. Mubakoleko bye baakolanga ku balala.
16
Mu Babilooni mumaleemu buli asiga ensigo, ne buli akutte ekiwabyo mu budde obw'amakungula. Buli mugwira abeeramu alitya eggye eddumbi, n'addayo ewaabwe.”
17
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli bali ng'endiga ezigobeddwa empologoma ne zibuna emiwabo. Kabaka w'Assiriya ye yasooka okubakavvula, ate ne Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'abaasaayasa amagumba.
18
Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kyenva ŋŋamba nti: ndibonereza Kabaka Nebukadunezzari n'ensi ye, nga bwe nabonereza kabaka w'Assiriya.
19
Ndikomyawo Abayisirayeli mu nsi yaabwe. Balirya emmere erimwa ku Lusozi Karumeeli, ne mu kitundu ky'e Basani, era balirya ne bakkuta ebirimwa mu bitundu bya Efurayimu ne Gileyaadi.
20
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba kwonoona mu Yisirayeli, era tewaliba bibi mu Buyudaaya, kubanga ndisonyiwa abo be nditalizaawo okuba abalamu. Nze Mukama, Nze njogedde.”
21
Mukama agamba nti: “Mulumbe ab'e Meratayimu n'ab'e Pekodi. Mubawondere mubatte, mubazikirize. Mukole byonna bye mbalagira. Nze Mukama, Nze njogedde.
22
Okuleekaana okw'olutalo kuwulirwa mu nsi eyo, era okuzikirira kunene.
23
Babilooni yali nnyondo eyayasaayasanga ensi yonna, kaakati nayo eyasiddwa. Amawanga gonna geekanze olw'ebyo ebiguddewo mu nsi eyo.
24
Ggwe Babilooni eyannwanyisa, okwatiddwa mu mutego gwe nakutega nga totegedde.
25
Nziguddewo etterekero ly'ebyokulwanyisa byange, era mbifulumizza nga nsunguwadde, kubanga Nze Mukama, Nnannyinimagye, nnina omulimu gwe ŋŋenda okukola mu nsi y'Abakaludaaya.
26
Mugirumbe nga muva buli ludda, mugguleewo amawanika gaayo gonna. Omunyago mugutuume entuumu ng'ez'eŋŋaano. Muzikirize ensi eyo. Temubaako kintu na kimu kye mulekawo.
27
Mutte abaserikale baayo bonna, mubatirimbule. Zibasanze abo! Ekiseera kituuse babonerezebwe.”
28
Abadduse ne bawona e Babilooni, ba kutuuka mu Siyooni balombojje nga Mukama Katonda waffe, bwe yawoolera eggwanga olw'ebyo ebyakolebwa ku Ssinzizo lye.
29
“Mukuŋŋaanye bonna abakugu mu kulasa obusaale, balumbe Babilooni. Bakyetooloole, era tebaleka muntu n'omu kudduka. Mwesasuze byonna bye kyakola, kubanga kyanneekulumbalizaako, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli.
30
Abavubuka baakyo kyebaliva battirwa mu nguudo zaakyo, n'abaserikale baakyo ne battibwa ku lunaku olwo. Nze Mukama, Nze njogedde.
31
“Ggwe Babilooni, weekulumbaza. Nze Mukama, Nnannyinimagye, kyenva nkulwanyisa. Ekiseera kituuse nkubonereze.
32
Ggwe eyeekulumbaza, olyesittala n'ogwa, ne watabaawo akuyimusa. Ebibuga byo ndibikoleezaako omuliro, guzikirize ebintu byonna ebyetooloddewo.”
33
Mukama, Nnannyinimagye, agamba nti: “Abantu ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya banyigirizibwa. Bonna abaabanyaga babakuuma butiribiri, tebakkiriza kubata kugenda.
34
Naye alibanunula, wa maanyi. Erinnya lye ye Mukama, Nnannyinimagye. Ye yennyini alibalwanirira, n'aleeta emirembe ku nsi, kyokka alyeraliikiriza ab'e Babilooni.”
35
Mukama agamba nti: “Abakaludaaya bafe, n'abatuuze b'e Babilooni, n'abakungu n'abagezi baamu.
36
Abalanzi baakyo ab'obulimba basiruwale, bafe, n'abaserikale battibwe bazikirire!
37
Muzikirize embalaasi zaakyo, n'amagaali gaakyo. Abaserikale baakyo abapangise, batye ng'abakazi, bafe! Mulumbe ebintu byamu ebyobugagga mubinyage.
38
Ekyeya kyake kikalize amazzi gaamu, kubanga abaamu basinza ebitaliimu nsa, era bibalalusizza!
39
Babilooni kyanaavanga abeeramu emmondo, n'empisi, n'ebiwuugulu. Tekiriddamu kubeeramu bantu mu biseera byonna ebijja.
40
Ndizikiriza Babilooni nga bwe nazikiriza Sodoma ne Gomora n'ebibuga ebiriraanyeewo. Tekiriddayo kubeerangamu muntu n'omu. Nze Mukama, Nze njogedde.
41
“Abantu baliva mu ggwanga ery'amaanyi ery'omu bukiikakkono, ne bakabaka bangi baliva mu nsi ez'ewala,
42
nga bakutte emitego gy'obusaale era n'amafumu. Bakambwe, tebaliiko kisa. Omusinde gwabwe guwuuma ng'ennyanja. Bajja beebagadde embalaasi, nga beetegekedde okulwanyisa Babilooni.
43
“Kabaka wa Babilooni amawulire gamutuuse, emikono gye ne giragaya! Obubalagaze n'obulumi bimukutte ng'omukazi alumwa okuzaala.
44
Ng'empologoma bw'efubutuka mu bisaka ebikwafu eby'oku Mugga Yorudaani, n'erumba amalundiro amalungi, nange, Nze Mukama, bwe ndijja ne ngoba amangwago Abakaludaaya mu kibuga kyabwe. Omufuzi gwe ndironda, ye alifuga eggwanga. Ani ayinza okunneegeranyaako? Oba ani aguma okunnwanyisa?
45
Kale muwulire kye nteesezza okukola ku Babilooni, ne ku bantu baakyo n'abaana baabwe abato: nabo balirumwa, buli omu ne yeesisiwala.
46
Babilooni bwe kirigwa, ensi yonna erikankana olw'okwedomola kwakyo! N'emiranga gye balikitemera giriwulirwa wonna.”
← Chapter 49
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 51 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52