bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 5
Jeremiah 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 6 →
1
Ab'omu Yerusaalemu mudduke nga mudda eno n'eri mu nguudo z'ekibuga kyammwe. Mutunuletunule mu bifo byakyo ebigazi, mulabe oba nga munaazuulamu wadde omuntu omu bw'ati akolera ku bwenkanya, era agoberera amazima, Mukama alyoke akisonyiwe.
2
Era ne bwe bagamba nti: “Nga Mukama bw'ali omulamu,” balayira bya bulimba.
3
Ayi Mukama, ggwe otunuulira mazima. Obakubye, naye ne batanakuwala. Obabonerezza, naye ne bagaana okwegolola. Bagubye ng'olwazi, ne batava mu bibi byabwe.
4
Nalowooza nti: “Bano abaavu era abasirusiru be bokka abatamanyi ebyo Mukama by'ayagala, era Katonda waabwe by'alagira.
5
Nja kugenda eri abakulembeze njogere nabo, kubanga bo bamanyi ebyo Mukama by'ayagala era Katonda waabwe by'alagira.” Naye bonna awamu bamujeemedde ne batawulira biragiro bye.
6
Empologoma eziva mu kibira kyeziriva zibatta, emisege egiva mu ddungu ne gibazikiriza. Engo ziriteegera okumpi n'ebibuga byabwe ne zitaagulataagula buli abifulumamu, kubanga ebibi byabwe bingi, era bavudde nnyo ku Katonda.
7
Mukama agamba nti: “Nnyinza ntya okubasonyiwa? Abaana bammwe banvuddeko, ne balayira abo abatali Katonda. Nabawa buli kye beetaaga, naye ne bataba beesigwa. Ne bakuŋŋaaniranga mu nnyumba za bamalaaya.
8
Baali ng'embalaasi eza sseddume eziriisiddwa obulungi, ezirulunkanira okulinnyira enkazi: buli omu ne yeegomba muka munne!
9
Ndirema ntya okubabonereza olw'ekyo, n'okumalira ekiruyi ku ggwanga eriri ng'eryo?
10
“Muyite mu nnimiro zaabwe ez'emizabbibu, muzizikirize, naye temuzisaanyizaawo ddala. Muwogoleko amatabi, kubanga si gange.
11
Abantu b'omu Yisirayeli n'ab'omu Buyudaaya tebabadde beesigwa gye ndi n'akatono. Nze Mukama, Nze njogedde.”
12
Boogedde eby'obulimba ku Mukama, ne bagamba nti: “Taliiko ky'anaakola. Tewali kabi kanaatutuukako. Tetulituukibwako lutalo, wadde enjala.
13
Abalanzi bali nga mukka bukka. Tebalina bubaka bwe baleeta.”
14
Mukama Katonda Nnannyinimagye kyava agamba nti: “Nga bwe boogedde bwe batyo, ndifuula ebigambo byange omuliro mu kamwa ko. Abantu bano baliba ng'enku, omuliro ogwo ne gubookya.
15
Ndireeta ab'eggwanga ery'ewala, ne libalumba mmwe Abayisirayeli. Abo be b'eggwanga ery'amaanyi ery'edda, era ery'olulimi lwe mutamanyi, era nga temutegeera bye boogera.
16
“Bonna basajja ba maanyi, ensawo y'obusaale bwabwe eri ng'entaana eyasaamiridde.
17
Balirya emmere yammwe, ne byonna bye mukungudde. Balisaanyaawo batabani bammwe. Balisaanyaawo embuzi zammwe n'ente zammwe. Balisaanyaawo emizabbibu gyammwe n'emitiini gyammwe. Balizikiriza mu lutalo ebibuga byammwe ebiriko ebigo bye mwesiga.”
18
Mukama agamba nti: “Naye ne mu biro ebyo, siribasaanyizaawo ddala mmwe.
19
Era abantu bwe balibuuza nti: ‘Lwaki Mukama Katonda waffe yatukola ebyo byonna?’ Mulibaddamu nti: ‘Nga mmwe bwe mumuvuddeko, ne muweereza balubaale abagwira mu ggwanga lyammwe, bwe mutyo bwe munaaweerezanga bannamawanga mu nsi eteri yammwe.’ ”
20
Mukama agamba nti: “Mutegeeze bazzukulu ba Yakobo nti:
21
‘Muwulire mmwe abantu abasirusiru, era abatategeera, abalina amaaso ne mutalaba, abalina amatu ne mutawulira.
22
Nze Mukama, lwaki temuntya? Lwaki temukankana mu maaso gange? Nateekawo omusenyu okuba ensalo y'ennyanja, ensalo ey'olubeerera, ennyanja gy'eteyinza kubuuka. Amayengo gaayo ne bwe geesuukunda gatya, tegayinza kuwagula. Ne bwe gawuuma gatya, tegayinza kugisukka.
23
Naye bantu mmwe, muli ba mitima mikakanyavu, era bajeemu. Munvuddeko ne mugenda.’
24
Temulowoozaako nti: ‘Tutye Mukama Katonda waffe atonnyesa enkuba mu biseera byayo, era ateekawo ebiseera eby'amakungula buli mwaka.
25
Ebibi byammwe bye bibaziyizza okufuna ebirungi ebyo.’
26
“Mu bantu bange mulimu abakola ebibi. Bateega ng'abatezi b'ebinyonyi. Bo omutego bagutega kukwasa bantu.
27
Ng'omuyizzi bw'ajjuza omuyonjo gwe ebinyonyi,
28
nabo bwe bajjuza amayumba gaabwe bye banyaze. Kyebavudde bafuuka ab'obuyinza era abagagga. Bagezze era banyiridde. Ebikolwa byabwe ebibi tebiriiko kkomo. Tebawolereza batalina bakitaabwe kufuna byabwe, wadde okutaasa eby'abaavu.”
29
Mukama agamba nti: “Sirirema kubabonereza olw'ebyo, n'okumalira ekiruyi ku ggwanga lino.
30
Ekyenyinyalwa era eky'ekivve kiguddewo mu ggwanga:
31
abalanzi balagula bya bulimba, ne bakabona bafuga ng'abalanzi bwe babalagira, n'abantu bange ne batakiwakanya. Naye kiki kye mulikola ku nkomerero?”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52