bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Jeremiah 18
Jeremiah 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 19 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
2
“Situka oserengete ew'omubumbi, era eyo gye nnaakuweera obubaka bwange.”
3
Awo ne nserengeta ew'omubumbi, ne nsanga ng'akolera ku nnamuziga ze.
4
Kye yabumbanga bwe kyayonoonekanga, ng'ebbumba lyakyo alibumbamu ekintu ekirala.
5
Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
6
“Mmwe Abayisirayeli, Nze siyinza kubakolako ng'ekyo omubumbi ky'akola ku bbumba? Muli mu ngalo zange, ng'ebbumba bwe liri mu ngalo z'omubumbi.
7
Singa mba ŋŋambye okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza eggwanga oba obwakabaka,
8
naye eggwanga eryo ne likyuka, ne lirekayo okukola ebibi, sirikola kye mba ŋŋambye kukola.
9
Ate singa mba ŋŋambye okusimba oba okuzimba eggwanga oba obwakabaka,
10
naye eggwanga eryo ne litampulira era ne likola ebibi, sirikola kye mba ŋŋambye kukola.
11
Kale kaakano, tegeeza abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti nteesezza okubakolako akabi, era nteekateeka okubabonereza. Bategeeze beenenye, buli omu ave mu mpisa ze embi. Balongoose empisa zaabwe n'ebikolwa byabwe.
12
Naye bajja kukuddamu nti: ‘Nedda, tetujja kukyuka n'akatono. Tujja kukola kye twagala era buli omu ajja kukola ekiri mu mutima gwe omukakanyavu era omubi.’ ”
13
Mukama agamba nti: “Mubuuze mu mawanga. Eriyo eyali awulidde ekiri ng'ekyo? Abantu ba Yisirayeli bakoze eby'ekivve!
14
Enjazi z'oku ntikko ya Lebanooni ziggweebwako omuzira? Amazzi amannyogovu agava mu nsozi eza Lebanooni galekayo okukulukuta?
15
Naye abantu bange banneerabidde. Booterezza balubaale obubaane. Beesittadde mu makubo gaabwe ge baatambuliramu okuva edda, ne batambulira mu bisinde ne mu bukubo obuzise.
16
Ensi yaabwe bagifudde ya ntiisa, era eneenyoomebwanga bulijjo. Buli muyise aneewuunyanga nga bw'anyeenya n'omutwe.
17
Ndisaasaanya abantu bange mu maaso g'abalabe baabwe, ng'enfuufu bw'etwalibwa embuyaga eva mu buvanjuba. Nga bali mu buyinike, ndibakuba mabega, siribakyukira kubayamba.”
18
Awo abantu ne bagamba nti: “Mujje tubeeko kye tukola ku Yeremiya. Bwe tumuggyawo, tewaabulengawo kabona kutuyigirizanga, n'omuntu omugezi okutubuuliriranga, wadde omulanzi okutuwanga obubaka bwa Katonda. Mujje tumusibeko emisango, era tulekere awo okuwuliriza by'agamba.”
19
Awo ne nsaba nti: “Ayi Mukama, wulira bye ŋŋamba. Wulira abalabe bange bye banjogerako.
20
Ekirungi kisasulwamu kibi? Basimye obunnya nga baagala ngweemu. Jjukira bwe nayimirira mu maaso go, ayi Mukama, ne mbawolereza oleme kubasunguwalira.
21
Kale kaakano, ayi Mukama, leka abaana baabwe bafe enjala. Leka battirwe mu lutalo. Abakazi basigale nga tebalina baana, era bafiirwe babbaabwe. Abasajja bafe endwadde, abavubuka bafiire mu lutalo.
22
Basindikire ekibinja ky'abanyazi kigende kinyage ebyabwe, nga tebamanyiridde, emiranga giryoke giwulirwe mu mayumba gaabwe, kubanga basimye obunnya nga baagala ngweemu, era bateze emitego nga baagala ginkwase.
23
Naye, ayi Mukama, omanyi enkwe zaabwe. Tobasonyiwa kibi kyabwe, era tobaggyaako musango. Bamegge mu maaso go, obakoleko ng'obasunguwalidde.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52