bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 16
Genesis 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
1
Sarayi mukazi wa Aburaamu yali tamuzaalidde baana, naye yalina omuzaana we Omumisiri erinnya lye Agari.
2
Sarayi n'agamba bba nti: “Wuuno Omukama annyimye okuzaala; genda eri omuzaana wange, oboolyawo mu oyo mwe nnaafunira abaana.” Aburaamu n'akkiriza Sarayi kye yali amusabye.
3
Sarayi yaddira Agari Omumisiri, omuzaana we, n'amuwa bba abeere mukazi we. Waali waakayita emyaka kkumi bukya Aburaamu asenga mu Kanaani.
4
Aburaamu n'agenda gy'ali, Agari n'afuna olubuto. Bwe yamanya ng'ali lubuto, n'anyooma mugole we.
5
Sarayi ne yeemulugunyiza Aburaamu nti: “Nvumibwa lwa kubeera ggwe; nze nassa omuzaana wange mu mikono gyo; kati wuuli alabye ali lubuto, annyooma. Omukama y'aba atusalirawo.”
6
Aburaamu n'amwanukula nti: “Anti muzaana wo, ali mu buyinza bwo; mukole nga bw'olaba.” Sarayi n'atulugunya Agari, Agari n'amudduka.
7
Malayika w'Omukama n'asanga Agari okumpi n'oluzzi mu ddungu, ku luzzi oluli ku kkubo eriraga e Suru,
8
n'amubuuza nti: “Agari, omuzaana wa Sarayi, ova wa? Ate ogenda wa?” Ye n'ayanukula nti: “Nziruka Sarayi mugole wange.”
9
Malayika w'Omukama n'amugamba nti: “Ddayo ewa mugole wo, omugondere.”
10
Era Malayika w'Omukama n'amugamba nti: “Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale nnyo, nga terikyabalika olw'obungi bwalyo.”
11
Era malayika w'Omukama n'amugamba nti: “Kakaano oli lubuto; ojja kuzaala omwana mulenzi; ojja kumutuuma Yisimayeli, kubanga Omukama awulidde ennaku yo.
12
Ono aliba musajja ndogoyi ya ttale; alirwanyisa buli omu, na bonna balimulwanyisa; obulamu bwe wa kulumbagananga baganda be bonna.”
13
Agari n'atuuma Omukama eyali ayogera naye: 'Oli-Katonda-Andaba', kubanga yagamba nti: “Kituufu, wano ndabiddewo omugongo gw'oyo andaba.”
14
Oluzzi olwo kyeruva luyitibwa Beeri Lakayiroyi. Luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15
Agari yazaalira Aburaamu omwana ow'obulenzi, Aburaamu n'atuuma mutabani we Agari gwe yamuzaalira Yisimayeli.
16
Aburaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agari okumuzaalira Yisimayeli.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50