bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 25
Genesis 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 26 →
1
Yiburayimu yawasaayo omukazi omulala, erinnya lye Ketura;
2
yamuzaalira Zimurani, Yokutani, Medani, Midiyaani, Yisubaki ne Suwa.
3
Yokutani yazaala Saba ne Dedani. Batabani ba Dedani be Bassuri, Abaletusi, n'Abalewummi.
4
Batabani ba Midiyaani: Efa, Eferi, Kanoki, Abida ne Eludawa. Bonna abo bazzukulu ba Ketura.
5
Yiburayimu byonna bye yalina yabiwa Yizaake.
6
Bwe yali akyali mulamu, batabani ba basebeyi be abalala yabawa ebirabo n'abaawula ku Yizaake mutabani we, n'abasindika ku ludda olw'ebuvanjuba.
7
Awamu Yiburayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano.
8
Awo Yiburayimu n'assa omukka gwe omuvannyuma, n'afiira ku bukadde obulungi, omuntu omukadde, agundidde mu myaka, n'agattibwa ku bantu be.
9
Yizaake ne Yisimayeli batabani be ne bamuziika mu mpuku y'e Makupela, eyali mu nnimiro ya Efuroni mutabani wa Zokari Omukitti, e Mamure,
10
gye yagula ku Bakitti. Eyo gye yaziikibwa ne mukazi we Saara.
11
Yiburayimu bwe yamala okufa Katonda n'awa omukisa mutabani we Yizaake, eyabeeranga okumpi ne Beeri-Lakayiroyi.
12
Gano ge mazadde ga Yisimayeli mutabani wa Yiburayimu eyamuzaalirwa Agari Omumisiri omuzaana wa Saara.
13
Era gano ge mannya ga batabani ba Yisimayeli bwe baddiriŋŋana mu buzaale: Nebayoti omuggulanda wa Yisimayeli, Edari, Adubeeli, Mibusamu,
14
Misuma, Duma ne Massa,
15
Kadadi, Tema, Yeturi, Nafisi ne Kedema.
16
Abo be batabani ba Yisimayeli; ate gano ge mannya g'abakulu b'ebika byabwe okusinziira ku byalo byabwe n'ensiisira zaabwe: abalangira ekkumi n'ababiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali.
17
Awamu Yisimayeli yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu; n'assa omukka omuvannyuma, n'agattibwa ku bantu be.
18
Yabeeranga mu nsi eyeerambise okuva e Kavila okutuuka e Suru, ku nsalo ya Misiri, ng'ogenda mu Assuri. Yali mulumbaganyi eri baganda be bonna.
19
Kino kye kifaayo kya Yizaake mutabani wa Yiburayimu: Yiburayimu yazaala Yizaake.
20
Yizaake yali aweza emyaka amakumi ana n'awasa Rebekka muwala wa Betweli Omwaramu ow'omu Paddani-Aramu mwannyina Labani Omwaramu.
21
Yizaake yawanjagira Omukama olwa mukazi we kubanga yali mugumba. Katonda n'awulira okuwanjaga kwe, mukazi we Rebekka n'aba olubuto.
22
Naye abaana mu lubuto baali bakoonagana. Rebekka n'agamba nti: “Lwaki kino kintuuseeko?” N'agenda okwebuuza ku Mukama.
23
Omukama n'amwanukula nti: “Amawanga abiri gali mu lubuto lwo; amawanga abiri agava mu ggwe galyawukana, eggwanga erimu lirisukkuluma ku ddala, omukulu aliweereza omuto.”
24
Obudde bwe obw'okuzaala bwe bwatuuka, mu lubuto lwe mwalimu balongo ab'obulenzi.
25
Eyasooka okufuluma yali wa kawemba, yenna ng'ali ng'eddiba ery'obwoya; kwe kuyitibwa Ezawu.
26
Oluvannyuma muganda we n'afuluma omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Ezawu; kwe kuyitibwa Yakobo. Abaana we baazaalirwa nga Yizaake wa myaka nkaaga.
27
Bwe baavubuka, Ezawu n'afuuka omuyizzi omukugu, omusajja ayagala ettale; Yakobo ye nga musajja mukkakkamu abeera mu weema.
28
Yizaake yasinga kwagala Ezawu, kubanga yawoomerwanga ennyama enjigge; ye Rebekka yayagalanga Yakobo.
29
Olumu Yakobo yali afumba enva, Ezawu n'ava ku ttale ng'enjala emuluma,
30
n'agamba Yakobo nti: “Mpa ku nva emmyufu, enva emmyufu, kubanga enjala ennuma.” Kyeyava ayitibwa erinnya lye Edomu.
31
Yakobo n'amugamba nti: “Sooka onguze obukulu bwo obw'obuggulanda.”
32
Ezawu n'ayanukula nti: “Wuuno nfa; obukulu obw'obuggulanda bunangasa ki?”
33
Yakobo n'agamba nti: “Sooka ondayirire.” Ezawu n'alayira; n'aguza Yakobo bw'atyo obukulu bwe obw'obuggulanda.
34
Yakobo n'amuwa omugaati n'enva ez'empokya; n'alya, n'awuuta, n'asituka ne yeetambulira gage. Bw'atyo Ezawu obukulu bwe obw'obuggulanda n'atabulabamu kantu.
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50