bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 34
Genesis 34
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 35 →
1
Olwatuuka, Dina, muwala wa Leya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda akyalire abawala b'omu kitundu ekyo.
2
Sekemu mutabani wa Kamori Omukivi, eyali afuga ensi eyo, n'amulaba, n'amukwata, ne yeebaka naye, n'amusobyako.
3
Omutima gwa Sekemu ne gwesibira ku Dina muwala wa Yakobo; n'amwagala, n'ayogeranga naye na ggwoowo.
4
N'agamba Kamori kitaawe nti: “Nfunira omuwala oyo abeere mukazi wange.”
5
Yakobo bwe yawulira nti yagwagwawaza Dina muwala we, batabani be tebaaliwo, baali ku ttale n'amagana, n'asirika okutuusa lwe baakomawo.
6
Kamori kitaawe wa Sekemu n'agenda okuteesa ne Yakobo;
7
batabani ba Yakobo baali baakakomawo okuva ku ttale, bwe baawulira ekyali kiguddewo, ne banyolwa, ne basunguwala nnyo okulaba nga Sekemu yali akoze eky'obugwagwa kityo ku Yisirayeli, okwebaka ne muwala wa Yakobo, ekintu ekizira okukola.
8
Kamori n'abagamba nti: “Omwoyo gwa Sekemu mutabani wange guggweeredde ku muwala wammwe; mbeegayiridde mumumuwe abeere mukazi we;
9
ka tuwasaŋŋane; mutuwe bawala bammwe, nammwe mutwale bawala baffe;
10
musenge mu ffe, ensi yiiyo ebali awo mu maaso; musuubulire omwo, mwefunire omwo eby'obugagga.”
11
Ne Sekemu n'agamba kitaawe w'omuwala ne bannyina nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nzija kukiwa.
12
Omutwalo musale munene gutya, n'ebirabo bingi nga bwe mwagala, nzija kubiwa, ekikulu mumpe omuwala ono abeere mukazi wange.”
13
Batabani ba Yakobo ne baanukula Sekemu ne Kamori kitaawe nga balimbalimba, kubanga yali agwagwawazza Dina mwannyinaabwe,
14
ne babagamba nti: “Tetusobola kukola kye musaba: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mutayirire, ffe kitwenyinyaza.
15
Tusobola okukkiriza kye musaba, singa munaafaanana nga ffe: buli musajja yenna mu mmwe n'atayirirwa;
16
olwo tunaabawa bawala baffe naffe ne tutwala bawala bammwe; tunaasenga mu mmwe, ne tubeera eggwanga limu.
17
Naye bwe mutaasembe kya kutayirirwa, tujja kutwala muwala waffe, tugende.”
18
Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamori ne Sekemu mutabani we.
19
Omuvubuka teyalonzalonza kutuukiriza kimusabiddwa anti nga muwala wa Yakobo amusanyusa, ate naye yali muvubuka asinga okussibwamu ekitiibwa mu nnyumba ya kitaawe.
20
Kamori ne Sekemu mutabani we ne bagenda ku mulyango gw'ekibuga ne bagamba abasajja b'ekibuga kyabwe nti:
21
“Abasajja bano bakolagana bulungi naffe; katubaleke basenge mu nsi, basuubulire omwo, ensi yiino ngazi ekimala; bajja kuwasa bawala baffe, naffe tuwase abaabwe.
22
Kyokka abasajja bano okusobola okukkiriza okusigala naffe tufuuke ggwanga limu, batwagaza abasajja bonna okutayirirwa nga bo bwe bakola.
23
Olwo amagana, ebintu byabwe n'ebisolo byabwe byonna eby'awaka tebiifuuke byaffe? Tukkirize kye bagambye, basenge mu ffe.”
24
Bannansi b'omu kibuga bonna ne basemba ekiteeso kya Kamori ne mutabani we Sekemu; abasajja bonna ab'omu kibuga ne batayirirwa.
25
Naye ku lunaku olwokusatu, bwe baali nga balumizibwa, batabani ba Yakobo Simewoni ne Leevi bannyina Dina, ne bakwata ebitala, ne bayingira mirembe mu kibuga, ne batta abasajja bonna.
26
Kamori ne mutabani we Sekemu nabo ne babassa ebitala; Dina mwannyinaabwe ne bamuggyayo mu nnyumba ya Sekemu, ne bagenda.
27
Batabani ba Yakobo ne bagwa ku mirambo gy'abattibwa, ekibuga ne bakyaya okuwoolera eggwanga olwa mwannyinaabwe eyagwagwawazibwa.
28
Ne batwala endiga zaabwe, ente, n'endogoyi, na byonna ebyali mu kibuga ne mu nnimiro.
29
Buli kya bugagga ne bakitwala, n'abaana n'abakazi; ne bazikiriza byonna ebyali mu mayumba.
30
Yakobo n'agamba Simewoni ne Leevi nti: “Mukansombedde okunfuula ekyenyinyalwa eri Abakanaani n'Abaperizzi abali mu nsi eno. Ffe tuli batono, bali bwe baneekuŋŋaanya okunnumba, bajja kunzita, bansaanyeewo n'ennyumba yange.”
31
Bo ne baanukula nti: “Bandimaze gayisa mwannyinaffe nga malaaya?”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50