bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 39
Genesis 39
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 40 →
1
Yozefu yali atwaliddwa e Misiri. Potifari Omumisiri, omukungu wa Faraawo omukulu w'abakuumi be, n'amugula ku Bayisimayeli abaali bamututteyo.
2
Omukama yali naye; ng'ebintu bimugendera bulungi; yasulanga mu nnyumba ya mukama we Omumisiri.
3
Mukama we yali ategedde bulungi ng'Omukama ali naye, na byonna Yozefu bye yakolanga ng'abiwa okulama.
4
Awo Yozefu n'asanga ekisa mu maaso ga mukama we, n'amukuza, n'amuwa okulabirira ennyumba ye, n'amufuula omuwanika w'ebintu bye byonna bye yalina.
5
Potifari bwe yakwasa Yozefu obuvunaanyizibwa ku nnyumba ye n'ebibye byonna, Omukama n'awa omukisa ennyumba y'Omumisiri olw'okubeera Yozefu. Omukisa gw'Omukama ne gubeera ku bintu bye byonna: eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro.
6
Byonna bye yalina n'abireka mu mikono gya Yozefu, nga takyalina kirala kyonna kimweraliikiriza, mpozzi emmere gye yalyanga. Yozefu yali afaanana bulungi, nga mulungi mu ndabika;
7
ebbanga teryayita ddene mukazi wa mukama we n'amwegomba, n'amusaba nti: “Weebake nange.”
8
N'agaana. N'agamba muka mukama we nti: “Olaba okuva mukama wange byonna lwe yabissa mu mikono gyange, takyeraliikirira kantu mu nnyumba ye.
9
Mu nnyumba eno temuli ankira bukulu; tewali kirala kyonna ky'atassa mu mikono gyange okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Nze nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkana awo, ne nnyonoona eri Katonda?”
10
Newandibadde omukazi yateetezanga Yozefu buli lunaku, naye Yozefu yagaana okwebaka naye, wadde okuba okumpi naye.
11
Olumu Yozefu n'ayingira mu nnyumba okukola omulimu gwe; temwali muntu mulala mu nyumba;
12
muka Potifari n'amukwata omunagiro gwe nga bw'amugamba nti: “Jjangu weebake nange.” Ye ne yeesumattula n'amulekera omunagiro mu ngalo, n'afuluma ebweru.
13
Omukazi yalaba omunagiro agumulekedde mu ngalo, naye n'adduka n'afuluma ebweru,
14
n'akoowoola abantu ab'omu nnyumba ye n'abagamba nti: “Ono omusajja Omwebureeyi baamuleeta wano kutujooga? Ayingidde ewange asobye nange, naye nze ne nkuba enduulu.
15
Bw'alabye nkubye enduulu, n'aleka omunagiro gwe we mbadde, n'adduka n'afuluma.”
16
Omunagiro n'agukuuma okutuusa nnyinimu lwe yadda.
17
N'amunyumiza mu ngeri ye emu ebyabaddewo nti: “Omuddu Omwebureeyi gwe waleeta yazze ewange okunjooga;
18
bwe nawogganye ne nkuba enduulu, n'aleka awo omunagiro gwe we nabadde n'adduka n'afuluma.”
19
Nnyinimu bwe yawulira ebigambo bya mukazi we, ng'agamba nti: “Bw'atyo omuddu bwe yampisizza,” obusungu bwe ne bwesera;
20
Mukama wa Yozefu n'akwata Yozefu n'amuggalira mu kkomera, abasibe ba kabaka mwe baakuumirwanga. Yozefu n'abeera eyo mu kkomera.
21
Naye Omukama yali wamu ne Yozefu, n'amugirira ekisa, n'amuwa omukisa gwe ng'omukuumi w'ekkomera amuyisa bulungi.
22
Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yozefu abasibe bonna abaali bakuumirwa mu kkomera; n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kyonna ekyakolebwangayo.
23
Omukuumi w'ekkomera nga tafa nayo kulondoola Yozefu bye yali akola, kubanga Omukama yali naye; nga byonna by'akola abiwadde okulama.
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50