bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 17
Genesis 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 18 →
1
Aburaamu bwe yali aweza emyaka kyenda mu mwenda, Omukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza wa buli kantu. Beera nange, era mu maaso gange tobaako musango.
2
Nzija kukola endagaano yange naawe, nzija kukuwa oyale nnyo nnyo.”
3
Aburaamu n'agwa wansi ku maaso ge.
4
Katonda n'amugamba nti: “Ye eno endagaano yange naawe: Olibeera kitaabwe w'amawanga mangi.
5
Tokyaddayo kuyitibwa Aburaamu, wabula ojja kuyitibwanga Yiburayimu, kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi.
6
Nzija kukuwa ozaale nnyo nnyo, amawanga galisibuka mu ggwe, era ne bakabaka mu ggwe mwe balisibuka.
7
Nzija kukola endagaano yange naawe n'ezzadde lyo eririkuddirira amazadde gammwe gonna, ng'endagaano ey'olubeerera, mbeere Katonda wo ne Katonda w'ezzadde lyo eririkuddirira.
8
Ggwe n'ezzadde eririkuddirira ndibawa ensi mw'okungulidde, ensi yonna ey'e Kanaani ebeere yammwe emirembe gyonna; nze ndibeera Katonda waabwe.”
9
Katonda n'agamba Yiburayimu nti: “Naawe okuumanga endagaano yange n'ezzadde lyo eririkuddirira mu mazadde n'amazadde.
10
Eno ye ndagaano yange, gye mulikuuma wakati wange nammwe n'ezzadde lyo eririkuddirira: Mu mmwe buli musajja wa kutayirirwa.
11
Mulitayiriranga emibiri gyammwe, ke kaliba akabonero k'endagaano wakati wange nammwe.
12
Buli mwana wammwe omulenzi awezezza ennaku omunaana wa kutayirirwa; buli musajja yenna amazadde gammwe gonna, abeere wa waka, oba wamugula ku mugwira yenna, kwe kugamba atali wa mu zadde lyo.
13
Owa waka ne gw'oguze bateekwanga okutayirirwa. Endagaano yange eno nga neeyamba emibiri gyammwe ndagaano ya lubeerera.
14
Omusajja atali mukomole, oyo ataatayirirwa mu mubiri, ajja kukutulwanga ku bantu be; anaabanga amenye endagaano yange.”
15
Katonda n'agamba Yiburayimu nti: “Sarayi, mukazi wo, tokyamuyitanga Sarayi, wabula erinnya lye anaayitibwanga Saara.
16
Nzija kumuwa omukisa, era nzija kukuwa omwana ow'obulenzi mu ye; nzija kumuwa omukisa, amawanga galisibuka mu ye; bakabaka b'amawanga balisibuka mu ye.”
17
Yiburayimu n'agwa wansi ku maaso ge, n'aseka muli munda nga yeebuuza nti: “Ow'emyaka ekikumi afune omwana ow'obulenzi? Ne Saara, ow'emyaka ekyenda alizaala?”
18
N'agamba Katonda nti: “Singa Yisimayeli omuwadde n'aba mulamu.”
19
Katonda n'agamba nti: “Ky'ekyo, naye Saara mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow'obulenzi, olimuyita erinnya lye Yizaake. Nzija kunyweza endagaano yange naye, nga ye ndagaano ey'olubeerera n'ezzadde lye eririmuddirira.
20
Ne by'ogambye ku Yisimayeli mbiwulidde. Naye ndimuwa omukisa, ndimuwa azaale, ayale nnyo nnyo; alizaala abalangira kkumi na babiri, ndimufuula eggwanga eddene.
21
Yo endagaano yange nzija kuginyweza ne Yizaake Saara gw'alizaala mu mwaka ogujja mu bbanga nga lino.”
22
Katonda bwe yamala okwogera ne Yiburayimu, n'agenda waggulu okuva awaali Yiburayimu.
23
Ku lunaku olwo lwennyini, Yiburayimu n'addira Yisimayeli mutabani we ne bonna abaazaalirwa mu maka ge, ne bonna be yali aguze, kwe kugamba, abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, n'abatayirira, nga Katonda bwe yali amulagidde.
24
Yiburayimu okutayirirwa yali wa myaka kyenda mu mwenda;
25
ne mutabani we Yisimayeli lwe yatayirirwa, yali wa myaka kkumi n'esatu.
26
Yiburayimu ne mutabani we Yisimayeli baatayirirwa ku lunaku olwo lwennyini,
27
n'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye abaali bazaaliddwa omwo ne be yali aguze ku bagwira, bonna baatayirirwa wamu naye.
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50