bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 29
Genesis 29
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
1
Yakobo ne yeeyongerayo n'atuuka mu nsi y'abantu ab'ebuvanjuba.
2
Gye yakuba amaaso nga ku luzzi mu nnimiro, n'amagana asatu ag'endiga nga zigalamidde kumpi nalwo kubanga omwo amagana mwe baagaweeranga ne ganywa; ejjinja eddene lyali lisaanikidde ku luzzi.
3
Amagana gonna bwe gaamalanga okukuŋŋaana, olwo abasumba ne baggyako ejjinja. Bwe baamalanga okunywesa amagana, ejjinja ne balizza mu kifo kyalyo ku luzzi.
4
Yakobo n'abuuza abasumba nti: “Abooluganda, muva wa?” Ne baanukula nti: “Tuva Karani.”
5
N'ababuuza nti: “Mumanyi Labani muzzukulu wa Nakori?” Ne baddamu nti: “Tumumanyi.”
6
N'ababuuza nti: “Mulamu?” Ne baddamu nti: “Mulamu ne Rakeli muwala we wuuyo ajja n'eggana.”
7
N'agamba nti: “Enjuba ekyali waggulu, obudde tebunnatuuka amagana okukuŋŋaana; endiga muziwe zinywe; muzizzeeyo zirye.”
8
Ne bamwanukula nti: “Tetusobola: amagana gonna gamala kukuŋŋaana, olwo ne tuggyawo ejjinja ku luzzi, ne tunywesa amagana.”
9
Yali akyayogera nabo, ne Rakeli n'atuuka n'endiga za kitaawe, kubanga yali musumba.
10
Yakobo bwe yalaba Rakeli muwala wa Labani kojja we n'endiga za Labani kojja we, n'agenda, n'aggyawo ejjinja ku luzzi n'anywesa endiga za Labani kojja we;
11
n'anywegera Rakeli, n'akuba omulanga.
12
N'amutegeeza nti ba luganda ne kitaawe, ye ye mutabani wa Rebekka. Rakeli n'addukanako n'abuulira kitaawe.
13
Olwawulira amawulire ga Yakobo mutabani wa mwannyina, n'addukanako okumusisinkana, n'amuwambaatira, n'amunywegera, n'amutwala ewuwe. Yakobo n'amunyumiza ebyo byonna.
14
Labani n'ayanukula nti: “Kituufu oli mubiri gwange, musaayi gwange.” Ng'amaze ewuwe ebbanga lya mwezi gumu,
15
Labani n'amugamba nti: “Olw'okubeera muganda wange lw'onompeereza otyo nga tewali k'ofuna? Mbuulira kye mba nkusasula.”
16
Kaakano Labani yalina bawala be babiri: erinnya ly'omukulu nga ye Leya, ery'omuto nga ye Rakeli.
17
Leya yalina amaaso magonvu. Rakeli ng'afaanana bulungi, mulungi mu ndabika.
18
Yakobo yali ayagala Rakeli, n'agamba nti: “Ka nkuweereze emyaka musanvu ompe Rakeli muwala wo omuto.”
19
Labani n'ayanukula nti: “Ekyo kye kisinga obulungi, okumuwa ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala; sigala nange.”
20
Yakobo okufuna Rakeli, yamala emyaka musanvu ng'aweereza, kyokka yagiraba ng'ennaku obunaku olw'okwagala kwe yali amwagalamu.
21
N'agamba Labani nti: “Mpa mukazi wange, kubanga ebbanga liweddeyo, njagala kumuwasa.”
22
Labani n'ayita abantu bonna ab'okwo n'akola embaga.
23
Akawungeezi n'addira Leya n'amuyingiza gy'ali, Yakobo ne yeebaka ne Leya.
24
Labani n'addira omuzaana we Zilupa n'amuwa muwala we Leya amuweereze. Bwe bwakya, Yakobo okutunula ati, ng'alaba Leya.
25
N'agamba mukoddomi we nti: “ Kiki kino kye wankoze? Saakuweereza lwa Rakeli? Lwaki wannimbyerimbye?”
26
Labani n'amunnyonnyola nti: “Mu mpisa zaffe tetufumbiza muto ng'omukulu tannaba.
27
Maliriza wiiki eno ey'obugole n'omulala nzija kumukuwa, olwo ompeereze emyaka emirala musanvu olw'oyo.”
28
Yakobo n'akkiriza; wiiki bwe yaggwaako Labani n'amuwa muwala we Rakeli abeere mukazi we.
29
Labani muwala we Rakeli n'amuwa omuzaana we Biluwa amuweereze.
30
Yakobo ne yeebaka ne Rakeli; n'amwagala okusinga Leya; n'aweereza Labani emyaka emirala musanvu.
31
Omukama yalaba Leya akyayiddwa, n'amuggula olubuto; ye Rakeli nga mugumba.
32
Leya n'aba olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma Rubeni ng'agamba nti: “Omukama alabye ennaku yange, kati baze ananjagala.”
33
N'aba n'olubuto olulala n'azaala omwana wa bulenzi n'agamba nti: “Kubanga Omukama awulidde nti nakyayibwa, ampadde n'ono.” N'amutuuma Simewoni.
34
N'aba olubuto ogwokusatu, n'azaala omulala ow'obulenzi n'agamba nti: “Leero baze anannywererako, kubanga mmuzaalidde abaana basatu ab'obulenzi;” oyo kyeyava amutuuma Leevi.
35
Yaba olubuto ogwokuna n'azaala mulenzi, n'agamba nti: “Kati nzija kutendereza Omukama,” kwe kumutuuma Yuda. N'alekera awo okuzaala.
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50