bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 18
Genesis 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 19 →
1
Omukama yalabikira Yiburayimu okumpi n'omuvule omunene ogwa Mamure bwe yali ng'atudde mu mulyango gwa weema ye mu ttuntu ly'olunaku.
2
Bwe yayimusa amaaso, n'alaba abasajja basatu nga bamuyimiridde kumpi. Bwe yabalaba, n'addukanako okugenda okubasisinkana ng'ava eno ku weema ye, n'avunnama ku ttaka,
3
n'agamba nti: “Mukama wange, obanga nsanze ekisa mu maaso go, omuweereza wo tomuyitako buyisi.
4
Leka baleeteyo ku tuzzi, munaabeko ku bigere era muwummuleko mu muti.
5
Era ka ndeeteyo ku kagaati, muddemu ku ndasi, olwo kale mweyongereyo, manyanga kyemuvudde mukyama ew'omuweereza wammwe.” Bo ne bagamba nti: “Kola nga bw'oyogedde.”
6
Yiburayimu n'agenda bunnambiro eri Saara mu weema n'amugamba nti: “Yanguwa, goya seeya ssatu ez'obuwunga bw'eŋŋano, ovumbike n'obugaati.”
7
N'agenda mangu mu ggana n'aggyayo akayana akagonvu ennyama, akalungi, n'akawa omulenzi; n'omulenzi n'ayanguwa mangu okukateekateeka.
8
Yiburayimu n'addira omuzigo n'amata n'akayana, ke yali afumbye, n'abibassa mu maaso, ye n'ayimirira kumpi awo ku bbali wansi w'omuti bo nga balya.
9
Ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saara aluwa?” N'ayanukula nti: “Ali mu weema.”
10
N'amugamba nti: “Mazima ndidda gy'oli mu mwaka ogujja mu bbanga nga lino. Olwo mukazi wo Saara aliba alina omwana wa bulenzi.” Saara yali awuliriza mu mulyango gwa weema eyali emabega wa Yiburayimu.
11
Bombi Yiburayimu ne Saara baali bakadde nga bayise mu myaka, nga ne Saara ayise mu myaka egy'okuzaala.
12
Saara n'aseka muli munda ng'agamba nti: “Nze aweddeyo nti: ate ne baze akaddiye, nkyaddayo okufuna essanyu?”
13
Omukama n'agamba Yiburayimu nti: “Lwaki Saara asese ng'agamba nti: ‘Nze akaddiye ati ndizaala omwana?’
14
Ku Mukama waliwo ekitasoboka? Ndikomawo gy'oli mu budde nga buno bwennyini, Saara aliba alina omwana wa bulenzi.”
15
Saara olw'okutya ne yeegaana nti: “Sinnaseka.” Oli n'amugamba nti: “Nedda, osese.”
16
Abasajja ne basituka okugenda, amaaso ne bagoolekeza Sodoma, ne Yiburayimu n'agenda nabo okubawerekerako.
17
Omukama ne yeebuuza muli munda nti: “Oba Yiburayimu mmukise kye ŋŋenda okukola?
18
Naye wuuno agenda kufuuka ggwanga ddene, ery'amaanyi, nga n'amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa mu ye.
19
Anti namulonda alagire batabani be n'ennyumba ye erimuddirira, bakuume ekkubo ly'Omukama, bakole ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu, Omukama bw'atyo atuukirize eri Yiburayimu byonna bye yamusuubiza.”
20
Awo Omukama n'agamba nti: “Okukuba emiranga okw'e Sodoma ne Gomorra nga kweyongedde, n'ekibi kye nga kigezze nnyo.
21
Ka nserengeteyo, ndabe oba omulanga gwakyo oguntuuseeko ddala kye kugamba bwe kityo bwe kiri; oba nedda, nzija kumanya.”
22
Abasajja ne bafunyamu okuva awo, ne boolekera Sodoma; kyokka ye Yiburayimu yasigala akyayimiridde mu maaso g'Omukama.
23
Yiburayimu n'asembera n'abuuza nti: “Mu mazima omutuukirivu onoomusaanyaawo kumu n'omubi?
24
Mu kibuga bwe munaabaamu amakumi ataano abatuufu, ddala onookisaanyaawo? Ekifo tookisonyiwe olw'abatuukirivu amakumi ataano abakirimu?
25
Kikafuuwe ggwe ekyo okukikola: okutta omutuukirivu wamu n'omubi; oyise kimu omutuukirivu n'omubi? Omulamuzi w'ensi yonna ayinza obutagoba bwenkanya? Kikafuuwe!”
26
Omukama n'addamu nti: “E Sodoma mu kibuga bwe nnaasangamu amakumi ataano abatuukirivu, olw'okubeera abo, ekifo kyonna nzija kukitaliza.”
27
Yiburayimu n'ayanukula n'agamba nti: “Ŋŋumye njogere eri Mukama wange newandibadde nga ndi nfuufu, ndi vvu.
28
Kitya, bw'onoosanga nga ku makumi ataano kubuzeeko bataano abatuukirivu? Ekibuga onookizikiriza kubanga abataano babuzeeko?” N'agamba nti: “Bwe nnaasangayo amakumi ana mu abataano sijja kuzikiriza.”
29
Yiburayimu n'addamu okumusaba nti: “Oba oli awo eneesangibwayo makumi ana?” N'agamba nti: “Olw'okubeera amakumi ana ago, sijja kuzikiriza.”
30
Yiburayimu n'ayongera nti: “Nkwegayiridde Mukama wange tonsunguwalira bwe nnyongera okusaba. Kitya nga wasangiddwayo makumi asatu gokka?” N'ayanukula nti: “Bwe wanaasangibwayo amakumi asatu gokka, sijja kukolawo kantu.”
31
Yiburayimu n'addamu nate nti: “Ŋŋumye njogere eri Mukama wange. Bwe wanaasangibwayo amakumi abiri gokka?” N'amuddamu nti: “Olw'okubeera amakumi abiri, sijja kuzikiriza.”
32
Yiburayimu n'agamba nti: “Nkwegayiridde, Mukama wange tonsunguwalira bwe nnaayongerayo kiryose omulundi omulala gumu. Bwe banaasangibwayo ekkumi lyokka?” N'agamba nti: “Olw'okubeera ekkumi eryo, sijja kuzikiriza.”
33
Omukama bwe yamala okwogera ne Yiburayimu, n'agenda; ne Yiburayimu n'addayo ewaabwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50