bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 22
Genesis 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
1
Awo oluvannyuma, Katonda n'ageza Yiburayimu, n'amuyita nti: “Yiburayimu.” Ye n'ayanukula nti: “Nzuuno.”
2
N'amugamba nti: “Ddira mutabani wo omu yekka gw'oyagala Yizaake, ogende mu nsi Moriya omuntambirire eyo ng'ekitambiro ekyokye, ku lumu mu nsozi lwe ndikulaga.”
3
Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'ategeka endogoyi ye; yatwala abalenzi be babiri ne Yizaake mutabani we, n'atema enku ez'ekitambiro ekyokye, n'asitula n'alaga Katonda gye yali amulagidde.
4
Ku lunaku olwokusatu, bwe yasitula amaaso, n'alengera ekifo naye nga kikyesuddeko akabanga,
5
n'agamba abalenzi be nti: “Musigale wano n'endogoyi, nze n'omwana ka tugendeko emitala eri; tujja kusinza ate oluvannyuma tudde gye muli.”
6
N'addira enku ez'ekitambiro ekyokye, n'azitikka Yizaake mutabani we; ye n'akwata mu ngalo omuliro n'ekiso. Ne bagenda bombi wamu.
7
Yizaake n'ayita kitaawe Yiburayimu nti: “Taata.” Ye n'ayanukula nti “Wangi, mwana wange.” Ko ye nti: “Omuliro n'enku biibino, naye akaliga ak'ekitambiro ekyokye kaliwa?”
8
Yiburayimu n'agamba nti: “Mwana wange, Katonda y'anaalaba ekitambiro ekyokye.” Ne bagenda bombi wamu.
9
Bwe baatuuka ku kifo Katonda kye yali amulaze, Yiburayimu n'azimba omwaliiro, n'aguteekako enku, n'asiba omwana we Yizaake, n'amuteeka ku mwaliiro ku nku waggulu,
10
n'akununkiriza ekiso atte omwana we.
11
Awo malayika w'Omukama n'amuyita ng'ayima mu ggulu nti: “Yiburayimu, Yiburayimu.” N'ayanukula nti: “Nzuuno.”
12
N'agamba nti: “Tokwata ku mwana. Tomukola kantu. Kati ntegedde ng'otya Katonda, tonnyimye mutabani wo, omwana wo omu yekka.”
13
Yiburayimu bwe yasitula amaaso ng'awo alabawo seddume w'endiga ng'amayembe gaayo gawambidde mu kasaka; n'agiddira n'agitambira ng'ekitambiro ekyokye mu kifo kya mutabani we.
14
Ekifo ekyo n'akituuma 'Omukama y'Anaalaba'. N'okutuusa ku lunaku lwa leero ye njogera nti: “Ku lusozi Omukama y'Anaalaba.”
15
Malayika w'Omukama n'ayita Yiburayimu omulundi ogwokubiri ng'ayima mu ggulu n'amugamba nti:
16
“Neerayidde nzennyini, Omukama y'agamba, kubanga okoze ekintu kino, n'otonnyima mutabani wo, omwana wo omu yekka,
17
ddala nzija kukuwa omukisa, n'ezzadde lyo ndiriwa okwala okwenkana emmunyeenye z'eggulu, oba omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja. Ezzadde lyo liryekomya ebibuga by'abalabe baalyo.
18
Amawanga gonna ag'ensi mu zzadde lyo galiweebwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
19
Yiburayimu n'addayo eri abalenzi be, ne basitula ne bagenda bonna wamu e Beeriseba; Yiburayimu n'abeera e Beeriseba.
20
Oluvannyuma, Yiburayimu ne bamubuulira nti: “Ne Miluka azaalidde Nakori muganda wo abaana ab'obulenzi:
21
Wuzi, omuggulanda, ne Buuzi muganda we, ne Kemweli kitaawe wa Aramu,
22
ne Kasedi, Kazo, Piludasi, Yidulafu, ne Betweli.”
23
Betweli yazaala Rebekka. Abo omunaana Miluka yabazaalira Nakori muganda wa Yiburayimu.
24
Ate omukazi omusebeyi ayitibwa Rewuma, yazaala Teba, Gakamu, Takasi ne Maaka.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50