bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 36
Genesis 36
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 37 →
1
Gano ge mazadde ga Ezawu oba Edomu.
2
Ezawu bakazi be yabaggyanga mu bakazi Abakanaani: Ada muwala wa Eloni Omukitti ne Olibama muwala wa Ana muzzukulu wa Zibewoni Omukivi,
3
ne Basemati muwala wa Yisimayeli mwannyina Nebayoti.
4
Ada yazaalira Ezawu Elifazi, ne Basemati n'azaala Reweli;
5
Olibama yazaala Yewusi, Yalamu ne Kora. Abo be batabani ba Ezawu abamuzaalirwa mu nsi Kanaani.
6
Ezawu yatwala bakazi be, batabani be, bawala be, ne bonna ab'omu nnyumba ye, n'amagana n'ebisolo by'awaka, na byonna bye yali afunidde mu nsi Kanaani, n'asengukira mu nsi eyeesuddeko okuva ku muganda we Yakobo.
7
Olw'obugagga obungi bwe baalina, nga tebakyasobola kubeera wamu; ensi mwe baali nga tebamala olw'obungi bw'amagana.
8
Ezawu n'asenga mu nsozi z'e Seyiri. Ezawu era ye Edomu.
9
Gano ge mazadde ga Ezawu kitaawe w'Abeedomu mu nsozi z'e Seyiri:
10
Gano ge mannya ga batabani ba Ezawu: Elifazi mutabani wa Ada muka Ezawu, ssaako Reweli mutabani wa Basemati muka Ezawu.
11
Batabani ba Elifazi baali: Teemani, Omari, Zefo, Gatamu ne Kenazi.
12
Timuna yali mukazi omuzaana owa Elifazi mutabani wa Ezawu, eyazaalira Elifazi Amaleki. Abo be bazzukulu ba Ada muka Ezawu.
13
Batabani ba Reweli be bano: Nakati, Zeraki, Samma ne Mizza: bano be bazzukulu ba Basemati muka Ezawu.
14
Bano be batabani ba Olibama muwala wa Ana muzzukulu wa Zibewoni muka Ezawu, be yamuzaalira: Yewusi, Yalamu ne Kora.
15
Bano be baami b'abantu abaasibuka mu Ezawu. Ezzadde lye mu Elifazi mutabani wa Ezawu omuggulanda: omwami Teemani, omwami Omari, omwami Zefo, omwami Kenazi,
16
omwami Kora, omwami Gatamu, n'omwami Amaleki. Bano be baami ba Elifazi mu Edomu, era bano be bazzukulu ba Ada.
17
Bano be batabani ba Reweli mutabani wa Ezawu: omwami Nakati, omwami Zeraki, omwami Samma, omwami Mizza. Abo be baami ba Reweli mu Edomu era be batabani ba Basemati muka Ezawu.
18
Bano be batabani ba Olibama muka Ezawu: omwami Yewusi, omwami Yalamu, omwami Kora. Abo be baami ba Olibama muka Ezawu muwala wa Ana.
19
Abo be batabani ba Ezawu n'abaami baabwe. Ezawu ye Edomu.
20
Bano be batabani ba Seyiri Omukori abaalinga mu nsi: Lotani, Sobali, Zibewoni, Ana,
21
Disoni, Ezeri ne Disani. Be baami b'Abakori abasibuka mu Seyiri ow'omu Edomu.
22
Kori ne Emamu be baali batabani ba Lotani; mwannyina Lotani nga ye Timuna.
23
Bano be batabani ba Sobali: Aluvani, Manakati, Ebali, Sefo ne Onamu.
24
Bano be batabani ba Zibewoni: Aya ne Ana. Ana ono ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya bwe yali alunda endogoyi za kitaawe Zibewoni.
25
Bano be baana ba Ana: Disoni ne muwala we Olibama.
26
Bano be batabani ba Disoni: Kemudani, Esubani, Yituraani, Kerani.
27
Bano be batabani ba Ezeri: Biluwani, Zaavani ne Akani.
28
Bano be batabani ba Disani: Wuzi ne Arani.
29
Bano be baami b'Abakori: omwami Lotani, omwami Sobali, omwami Zibewoni, omwami Ana,
30
n'omwami Disoni n'omwami Ezeri n'omwami Disani. Abo be baami b'Abakori mu bitundu byabwe mu nsi y'e Seyiri.
31
Bano be bakabaka abaafuga mu Edomu, nga bakabaka ba Abayisirayeli tebanabafuga:
32
Bela mutabani wa Bewori yali kabaka mu Edomu; ekibuga kye nga kiyitibwa Dinuwaba.
33
Bela bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeraki ow'e Bozura n'amusikira ku bwakabaka.
34
Yobabu bwe yafa, Kusamu ava mu Bateemani n'amusikira ku bwakabaka.
35
Kusamu bwe yafa, Adadi mutabani wa Bedadi n'amusikira ku bwakabaka; yawangula Midiyaani mu nsi y'e Mowabu; ekibuga kye nga kiyitibwa Aviti.
36
Adadi bwe yafa, Samula ow'e Masureka n'amusikira ku bwakabaka.
37
Samula bwe yafa, Sawulo ow'e Rekoboti ku mugga n'amusikira ku bwakabaka.
38
Sawulo bwe yafa, Baali-Kanaani mutabani wa Akubori n'amusikira ku bwakabaka.
39
Baali-Kanaani mutabani wa Akubori bwe yafa, Adari n'amusikira ku bwakabaka; ekibuga kye nga kiyitibwa Pawu; mukazi we ng'ayitibwa Meetabeli muwala wa Maturedi muwala wa Me-Zawabu.
40
Gano ge mannya g'abaami ba Ezawu mu ndyo zaabwe n'ebitundu n'amannya gaabyo: omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yeteti,
41
omwami Olibama, omwami Ela, omwami Pinoni,
42
omwami Kenazi, omwami Teemani, omwami Mibuzari,
43
omwami Magudyeli, n'omwami Yiramu. Abo be baami ba Edomu okusinziira ku gye baabeeranga n'ebitundu bye baali beekomezza. Ezawu ye yasibukamu Abeedomu.
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50