bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 9
Genesis 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 10 →
1
Katonda n'awa Nowa ne batabani be omukisa, n'ayogera gye bali nti: “Mwale, mweyongere, mujjuze ensi.
2
Mujja kukuba entiisa mukankanye ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, byonna ebitambula ku lukalu n'ebyennyanja byonna mu nnyanja; byonna biweereddwa mu mikono gyammwe.
3
Buli ekitambula ekiramu y'eriba emmere yammwe, kye kimu ne ku bimera, byonna mbibawadde.
4
Kyokka temulyanga ennyama erimu obulamu, kwe kugamba nti erimu omusaayi.
5
Nzija kusabanga munyinnyonnyole ensonga olw'omusaayi gwammwe. Nzija kukisabanga ne ku buli nsolo. Buli muntu nzija kumubanjanga obulamu bwa muntu munne.
6
“Buli yenna aliyiwa omusaayi gw'omuntu, n'ogugwe omuntu aliguyiwa; kubanga omuntu Katonda yamukola mu kifaananyi kye.
7
Nammwe mwale, mweyongere obungi, mubune ku nsi, mweyongere ku yo.”
8
Katonda n'agamba Nowa ne batabani be abaali naye nti:
9
“Kati ŋŋenda okukola endagaano yange nammwe, n'ezzadde lyammwe eriribaddirira
10
na buli kiramu kyonna ekiri nammwe: ebinyonyi, ebisolo by'awaka n'ebisolo byonna eby'oku nsi. Na buli kiramu kyonna ekifulumye mu kyombo, ne buli kiramu kyonna eky'ensi.
11
Nzija kukola endagaano nammwe; ekiramu kyonna tekigenda kuddayo kusalwako mazzi ga mujjuzi, era teriddayo kubaawo mujjuzi gulisaanyaawo nsi.”
12
Era Katonda n'agamba nti: “Kano ke kabonero k'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe n'ebitonde byonna ebiri nammwe.
13
Ŋŋenda kussa musoke wange mu bire y'aliba akabonero k'endagaano gye nkoze n'ensi.
14
Bwe nnaaleetanga ebire ku nsi, musoke n'alabika mu bire,
15
nnajjukiranga endagaano yange nammwe na buli kiramu kyonna; tewalibeerawo mazzi ga mujjuzi mulundi mulala okuzikiriza buli kiramu.
16
Musoke bw'aliba mu bire, ndimulaba ne nzijukira endagaano ey'olubeerera, wakati wa Katonda na buli kiramu kyonna ekya buli kika ekiri ku nsi.”
17
Katonda n'agamba Nowa nti: “Kano ke kabonero k'endagaano gye nkoze wakati wange na buli kiramu kyonna ku nsi.”
18
Batabani ba Nowa abaava naye mu kyombo be bano: Seemu, Kaamu ne Yafesi. Kaamu ono ye kitaawe wa Kanaani.
19
Abasatu abo be batabani ba Nowa, mu abo mwe mwava abantu abali ku nsi yonna.
20
Nowa, eyali omulimi, n'asooka okusimba ennimiro y'emizabbibu;
21
bwe yanywa ku vviini, n'atamiira, ne yeebaka mu weema ye nga teyeebisseeko.
22
Kaamu kitaawe wa Kanaani bwe yalaba obwereere bwa kitaabwe, n'agenda, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru.
23
Bo Seemu ne Yafesi ne baddira olugoye, ne balussa ku bibegabega byabwe bombi, ne bajja kyennyumannyuma ne babikka ku kitaabwe, amaaso gaabwe nga bagatunuulizza eri, tebaalaba bwereere bwa kitaabwe.
24
Nowa evviini bwe yamwamukako, n'amanya mutabani we asingayo obuto kye yali amukoze,
25
n'agamba nti: “Kanaani avumiriddwa. Ku baganda be y'anaabanga omuddu asembayo.”
26
Ate n'agamba nti: “Omukama agulumizibwe, Katonda wa Seemu, Kanaani abeere muddu we.
27
Katonda agaziye Yafesi; asulenga mu weema za Seemu, ne Kanaani naye abeerenga muddu we.”
28
Omujjuzi bwe gwaggwa, Nowa n'awangaalayo emyaka emirala bikumi bisatu mu ataano.
29
Ebbanga lyonna lye yamala ku nsi ne giba emyaka lwenda mu ataano, n'afa.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50