bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 44
Genesis 44
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 45 →
1
Yozefu n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti: “Ensawo zaabwe zijjuze eŋŋano yonna eyinza okugyamu, ne ssente za buli omu ozisse ku mugo gw'ensawo ye.
2
Naye ekikopo kyange ekya ffeeza kisse mu nsawo y'oyo asembayo obuto wamu ne ssente ze ez'okugula eŋŋano.” Naye n'akola nga Yozefu bwe yali amulagidde.
3
Mu matulutulu, ne basiibulwa n'endogoyi zaabwe.
4
Baali baakafuluma ekibuga nga tebannagenda wala, Yozefu n'ayita omuwanika w'ennyumba, n'amugamba nti: “Situka, wondera abasajja, bw'obasanga bagambe nti: ‘Lwaki ekirungi mukisasudde na kibi?
5
Kino si kye kikopo mukama wange mw'anywera, era kye yeeyamba okulagula? Mubadde basobya mu kye mukoze.’ ”
6
Bwe yabatuukako n'ayogera ebigambo bye bimu.
7
Ne baanukula nti: “Lwaki mukama waffe ayogera ebigambo ng'ebyo? Kikafuuwe abaweereza bo okukola ekintu ekiringa ekyo!
8
Laba, ssente ze twasanga waggulu mu nsawo zaffe, twaziggye mu nsi y'e Kanaani ne tuzikuddiza; lwaki twandibbye mu nnyumba ya mukama wo ffeeza oba zaabu?
9
Ku baweereza bo gw'onookwata ne ky'onoonya, afe; naffe abalala tunaafuuka baddu ba mukama wange.”
10
N'abagamba nti: “Kale kibeere nga bwe mugambye: Yenna anaasangibwa nakyo, anaafuuka muddu wange; mmwe abalala munaaba mwejjeeredde.”
11
Amangu ago buli omu n'assa wansi ku ttaka ensawo ye, n'agisumulula.
12
N'azifuuza ng'asookera ku mukulu okutuuka ku asembayo, ekikopo n'akisanga mu nsawo ya Benyamiini.
13
Bo ne bayuza ebyambalo byabwe; buli omu n'atikka buto endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
14
Yuda ne baganda be ne baddayo ewa Yozefu, yali tannava mu nnyumba; bonna wamu ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka.
15
Ye n'abagamba nti: “Kiki kino kye mwakoze? Mubadde temumanyi nti omuntu nga nze nzuula ebintu nga ndagula?”
16
Yuda n'amugamba nti: “Mukama wange, tunaakugamba ki? Tunaayogera ki? Tuneewozaako tutya? Katonda awemuukirizza abaweereza bo. Ffenna tuutuno tuli baddu ba mukama waffe, ffe n'oyo gwe bakutte n'ekikopo.”
17
Yozefu n'ayanukula nti: “Kikafuuwe nze okukola bwe ntyo. Oyo yekka eyabbye ekikopo, ye w'okufuuka omuddu wange. Abalala mweddireyo eri kitammwe mu ddembe.”
18
Yuda n'asembera we yali, n'agamba nti: “Ssebo, nkwegayiridde omuweereza wo leka ayogereko gy'oli; obusungu bwo buleme kweserera ku muweereza wo, newandibadde nga kumpi wenkana Faraawo.
19
Mukama wange yabuuza abaddu bo nti: ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’
20
Ffe twayanukula mukama wange nti: ‘Tulina kitaffe, mukadde, alina ne mutabani we omuto eyamuzaalirwa mu bukadde; muganda we bwe bazaalibwa nnyabwe yafa; y'asigadde yekka, ate kitaawe amwagala.’
21
Wagamba abaweereza bo nti: ‘Mumunserengeseze wano, mmwerabireko n'agange.’
22
Twategeeza mukama wange nti: ‘Omwana tasobola kuva ku kitaawe; bw'amuleka ajja kufa.’
23
N'ogamba abaweereza bo nti: ‘Muganda wammwe omuto okuggyako ng'aserengese eno nammwe, temugenda kuntunula mu maaso.’
24
Bwe twaddayo eri omuweereza wo kitange, twamutegeeza mukama wange bye wali oyogedde.
25
Kati kitaffe bwe yatugamba nti: ‘Muddeeyo mutugulireyo ku mmere,’
26
twamuddamu nti: ‘Tetuyinza kugenda. Muganda waffe omuto bw'anaaserengeta naffe, tujja kugenda. Tetugenda kutunula mu maaso ga musajja okuggyako nga muganda waffe tuli naye.’
27
Omuweereza wo kitaffe n'ayanukula nti: ‘Nammwe mumanyi nga mukazi wange yanzaalira abaana babiri.
28
Omu yaŋŋendako, ne ŋŋamba nti: “Ekisolo kyamutaagulataagula.” N'okutuusa kati simulabanga.
29
Bwe munaatwala n'ono ne mumunzigyako, ne wabaawo akabi akamutuukako mu kkubo, omutwe gwange ogujjudde envi mugenda kuguserengesa emagombe mu nnaku.’
30
Awo nno bwe nnadda eri omuweereza wo kitange, ng'omwana tali naffe, ate nga w'atali ne kitaffe tasobola kubeerawo,
31
amala alaba nga tali naffe, agenda kufa. Abaweereza bo bagenda kumuserengesa emagombe, n'omutwe gwe ogujjudde envi, mu nnaku.
32
Omuweereza wo nze neeyimirira omwana eri kitaawe ne mmugamba nti: ‘Bwe sirimuzza gy'oli, olinvunaana omusango ogwo obulamu bwange bwonna.’
33
Nkwegayiridde leka nze nsigale wano ng'omuweereza wa mukama wange mu kifo ky'omwana, ye omwana addeyo ne baganda be.
34
Nsobola ntya okudda ewa kitange ng'omwana tali nange ndabe ennaku ezinajjira kitange.”
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 45 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50