bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 7
Genesis 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 8 →
1
Omukama n'agamba Nowa nti: “Yingira ekyombo ggwe n'ennyumba yo yonna; kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu zzadde lino.
2
Mu nsolo zonna ennongoofu ggyamu musanvu musanvu, ensajja n'enkazi yaayo, ate mu nsolo ezitali nnongoofu bbiri bbiri, ensajja n'enkazi yaayo.
3
Era ne ku binyonyi eby'omu bbanga, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi okubikuuma nga biramu ku nsi yonna.
4
Kubanga wanaayita ennaku musanvu ndyoke ntonnyese enkuba ku nsi okumala ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana; nzija kusaanyaawo ku nsi buli kyonna kye nakola.”
5
Nowa n'akola byonna Omukama bye yali amulagidde.
6
Nowa yali wa myaka lukaaga omujjuzi gw'amataba we gwabeererawo ku nsi.
7
Nowa n'ayingira mu kyombo ne batabani be ne mukazi we ne bakaabatabani be nga bali naye, badduke omujjuzi.
8
Ku bisolo ebirongoofu n'ebitali birongoofu ne ku binyonyi, ne ku buli kyewalula ku ttaka,
9
bibiri bibiri ne biyingira eri Nowa mu kyombo, ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yali alagidde Nowa.
10
Ennaku omusanvu bwe zaayitawo, amazzi g'omujjuzi ne gajja ku nsi.
11
Mu mwaka ogw'olukaaga ogw'obulamu bwa Nowa mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi, ensulo zonna ez'eddubi ne zifumbukula, n'ebiyiriro by'eggulu ne bigguka;
12
enkuba n'eyiika ku nsi ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana.
13
Ku lunaku olwo lwennyini Nowa n'ayingira mu kyombo ne Seemu, Kaamu, ne Yafesi batabani be, ko mukazi we ne bakaabatabani be abasatu.
14
Bo na buli nsolo ya ttale mu luse lwayo, na buli nsolo ya waka mu luse lwayo, na buli kyewalula ku ttaka mu luse lwakyo, ebinyonyi byonna buli kimu mu luse lwakyo, ebyo byonna ebibuuka,
15
byayingira eri Nowa bibiri bibiri, okuva mu buli kitonde ekirina obulamu.
16
Ebyayingira, byali ekisajja n'ekikazi okuva mu buli kitonde nga Katonda bwe yali amulagidde. Awo Katonda n'amuggaliramu.
17
Omujjuzi gwali ku nsi okumala ennaku amakumi ana, amazzi ne geeyongera obungi ne gasitula ekyombo ne kisituka ku ttaka.
18
Amazzi ne galinnya, ne geeyongera nnyo obungi ku nsi ekyombo ne kiseeyeeyera ku mazzi.
19
Amazzi ne galinnya nnyo ku nsi: ensozi zonna empanvu wansi w'eggulu wonna ne zibikkibwa.
20
Amazzi ne gatumbiira emikono kkumi n'etaano ku ntikko z'ensozi ze gaabikka.
21
Ebiramu byonna ne bisaanawo ebitambulira ku nsi: ebinyonyi, ebisolo eby'awaka, n'ebisolo byonna eby'ettale n'ebitonde byonna ebibunye ku nsi, n'abantu bonna.
22
Buli kiramu kyonna ekissiza mu nnyindo, byonna ebyali ku lukalu, byafa.
23
Yasaanyawo buli kitonde ku nsi, okuva ku muntu okutuuka ku magana ne ku byewalula n'ebinyonyi eby'omu bbanga; n'abimalirawo ddala ku nsi. Naye Nowa ye yasigala, n'abaali naye mu kyombo.
24
Amazzi ne gaalaala ku nsi okumala ennaku kikumi mu ataano.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50