bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 21
Genesis 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 22 →
1
Omukama n'agirira Saara ekisa, nga bwe yali agambye, n'akolera Saara kye yali amusuubizza;
2
n'afuna olubuto n'azaalira Yiburayimu omwana ow'obulenzi mu bukadde bwe, mu budde bwennyini Katonda bwe yali amulagaanyizza.
3
Yiburayimu omwana ow'obulenzi Saara gwe yamuzaalira n'amutuuma Yizaake,
4
n'amutayirira nga wa nnaku munaana nga Katonda bwe yali amulagidde.
5
Yiburayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Yizaake we yamuzaalirwa.
6
Saara n'agamba nti: “Katonda ampadde ensonga ey'okuseka; buli yenna anaaba awulidde, anansekerako.”
7
Ate n'agamba nti: “Ani yandigambye Yiburayimu nti Saara alirera ku baana? Kyokka mmuzaalidde omutabani mu bukadde bwe.”
8
Omwana n'akula n'ava ku mabeere. Ku lunaku lwe yaggyibwa ku mabeere, Yiburayimu yakola embaga makeke.
9
Saara bwe yalaba mutabani wa Agari Omumisiri gwe yali azaalidde Yiburayimu ng'azannya ne Yizaake mutabani we, n'agamba Yiburayimu nti:
10
“Goba omuzaana ono ne mutabani we; kubanga omwana w'omuzaana taliba musika wamu na mutabani wange Yizaake.”
11
Kino ne kinakuwaza nnyo Yiburayimu olw'okubeera mutabani we.
12
Katonda n'agamba nti: “Tonakuwala olw'okubeera omwana n'omuzaana wo. Kyonna Saara ky'anaakugamba kiwulirize, kubanga mu Yizaake ezzadde lyo mwe linaafuniranga erinnya.
13
Naye ne mutabani w'omuzaana wo ndimufuulamu eggwanga eddene, kubanga naye zzadde lyo.”
14
Yiburayimu bwe yazuukuka ku makya, n'akwata omugaati n'endyanga ejjudde amazzi n'abissa ku kibegabega kya Agari, n'amuwa omwana, n'amusiibula. Agari n'agenda ng'atangatanga mu ddungu ly'e Beeriseba.
15
Amazzi bwe gaggwamu mu ndyanga, n'assa omwana mu kasaka,
16
ne yeeyongerayo akabanga, ng'akasaale akalasiddwa we kakoma, n'atuula awo yekka ng'agamba nti: “Sirina galaba mwana ng'afa.” Omwana n'asitula eddoboozi n'akaaba.
17
Katonda yawulira omwana ng'akaaba, malayika w'Omukama n'ayita Agari ng'ayima mu ggulu nti: “Agari obadde ki? Leka kutya, kubanga Katonda awulidde omwana ng'akaaba awo w'ali.
18
Situka, situla omwana, mukwate ku mukono, kubanga nzija kumufuulamu eggwanga eddene.”
19
Katonda n'amuzibula amaaso, n'alaba oluzzi, n'ajjuza endyanga n'omulenzi n'amuwa n'anywa.
20
Omukama yaba naye. N'akula, n'abeeranga mu ddungu, n'afuuka mulasi wa busaale.
21
Bwe yali ng'ali mu ddungu lye Parani, nnyina n'amufunira omukazi okuva mu nsi y'e Misiri.
22
Mu budde obwo Abimeleki ne Fikoli omuduumizi w'eggye lye ne bagamba Yiburayimu nti: “Mu byonna by'okola Katonda ali naawe.
23
Layira mu maaso ga Katonda nti tolinsalira nkwe nze n'ezzadde lyange, na yenna owange, era nti oligirira ekisa nze n'ensi gy'olimu ng'omugenyi, ekifaanana n'ekyo nze kye nkugiridde.”
24
Yiburayimu n'addamu nti: “Yee, ndayidde.”
25
Yiburayimu ne yeemulugunyiza Abimeleki olw'oluzzi abaweereza ba Abimeleki lwe baanyaga.
26
Abimeleki n'addamu nti: “Simanyi yakola kino; Ggwe wennyini tokimbuulirangako, ate nze mbadde sikiwulirangako okutuusa ku lwa leero.”
27
Awo Yiburayimu n'addira endiga n'ente n'abiwa Abimeleki; bombi ne bakola endagaano.
28
Yiburayimu n'assa obuliga musanvu wabbali okuva mu ggana.
29
Abimeleki n'amubuuza nti: “Ate buli obuliga omusanvu bw'oyawuddeko ebbali bwaki?”
30
Ko ye nti: “Kkiriza obuliga omusanvu bwe nkuwa, bwe bujulizi obukakasa nti nze nasima oluzzi luno.”
31
Ekifo ekyo kwe kuyitibwa Beeriseba, kubanga awo bombi we baakolera ekirayiro.
32
Bwe baamala okukola endagaano e Beeriseba, Abimeleki ne Fikoli, omuduumizi w'eggye lye, ne basitula ne baddayo mu nsi y'Abafilisitiini.
33
Yiburayimu n'asimba omumyulira e Beeriseba, n'akoowoolerayo erinnya ly'Omukama Katonda Ssewannaku.
34
N'amala ennaku nnyingi mu nsi y'Abafilisitiini.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50