bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 3
Genesis 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 4 →
1
Omusota gwali mukupya okusinga ebiramu byonna eby'omu nsiko Omukama Katonda bye yali akoze. Gwagamba omukazi nti: “Ddala kituufu, Katonda yabagaana okulya ku buli muti ogw'omu nnimiro?”
2
Omukazi n'ayanukula omusota nti: “Tusobola okulya ebibala ku miti gy'omu nnimiro,
3
wabula ku kibala ky'omuti, oguli mu makkati g'ennimiro, Katonda yatulagira nti: ‘Temukiryangako era temukikwatangako sikulwa nga mufa.’ ”
4
Omusota ne gugamba omukazi nti: “Temugenda kufa n'akatono.
5
Ye Katonda amanyi nti: Olunaku lwonna lwe muliba mukiriddeko, amaaso gammwe gagenda kuzibuka, mugenda kubeera nga Katonda nga mumanyi ekirungi n'ekibi.”
6
Awo omukazi n'alaba ng'omuti gwali mulungi okulya, nga gusanyusa amaaso, era nga gwegombesa olw'amagezi ge guwa, n'atoola ku kibala kyagwo n'alya, n'awa ne bba gwe yali naye n'alya.
7
Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka. Ne bamanya nga bali bwereere, ne batunga ebikoola by'omukunyu, ne beekolera eby'okwebikkako.
8
Omusajja ne mukazi we bwe baawulira enswagiro z'Omukama Katonda eyali abaalabaala mu nnimiro mu kawewo ak'akawungeezi, ne beekweka Omukama Katonda mu miti gy'ennimiro.
9
Omukama Katonda n'ayita omusajja n'amubuuza nti: “Oli ludda wa?”
10
Ko ye nti: “Mpulidde enswagiro zo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere, ne neekweka.”
11
N'amubuuza nti: “Ani akugambye nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakugaana okulyako?”
12
Omusajja n'ayanukula nti: “Omukazi gwe wampa abeere nange ye yampadde ekibala ekiva ku muti, ne ndya.”
13
Awo Omukama Katonda n'agamba omukazi nti: “Kiki kino ky'okoze?” Omukazi n'ayanukula nti: “Omusota gwannimbye, ne ndya.”
14
Omukama Katonda n'agamba omusota nti: “Kubanga okoze kino, ovumiriddwa mu bisolo byonna eby'awaka n'ebisolo byonna eby'omu nsiko. Oneewaluliranga ku lubuto lwo; onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo.
15
“Nzija kubakyawaganya, ggwe n'omukazi, ezzadde lyo n'ezzadde lye; lyo lirikubetenta omutwe, ate ggwe olibojja ekisinziiro kyalyo.”
16
N'agamba omukazi nti: “Nzija kwongera nnyo okulumwa, abaana bo onoobazaalanga mu bulumi, ojja kuyaayaaniranga musajja wo, ate ye anaakufuganga.”
17
Ye omusajja n'amugamba nti: “Kubanga wawulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nakukomereza nti: ‘Togulyangako,’ “ettaka livumiriddwa olw'okubeera ggwe. Okuggyamu ky'olya onookuluusananga ennaku zonna ez'obulamu bwo.
18
Linaakumereza maggwa na matovu, onoolyanga bimera bya ttale.
19
Onoolyanga emmere ng'evudde mu ntuuyo zo, okutuusa lw'olidda mu ttaka, kubanga mwe waggyibwa, kubanga oli nfuufu, era mu nfuufu mw'olidda.”
20
Omusajja n'atuuma mukazi we Eva, kubanga ye yafuuka nnyina w'abalamu bonna.
21
Omukama Katonda n'akolera omusajja ne mukazi we ebyambalo eby'amaliba n'abambaza.
22
Omukama Katonda n'agamba nti: “Laba, omusajja wuuno afuuse ng'omu ku ffe mu kumanya obulungi n'obubi, kati sikulwa ng'agololera omukono gwe ku muti ogw'obulamu n'alyako n'aba mulamu emirembe gyonna.”
23
Omukama Katonda n'amugoba mu nnimiro y'e Edeni, alimenga ettaka mwe yaggyibwa.
24
Katonda bwe yamala okugoba omusajja, ku ludda olw'ebuvanjuba, n'ateekayo bakerubi n'ekitala eky'omuliro nga kyetala, okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50