bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 28
Genesis 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
1
Awo Yizaake n'ayita Yakobo, n'amuwa omukisa era n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Mukanaani.
2
Situka, genda mu Paddani-Aramu mu nnyumba ya Betweli, kitaawe wa nnyoko, eyo gy'oba weefunira omukazi mu bawala ba Labani kojja wo.
3
Katonda Omuyinza wa buli kantu akuwe omukisa, akuwe ozaale, akuwe weeyongere obungi ofuuke eggwanga;
4
akuwe n'omukisa gwa Yiburayimu, ggwe n'ezzadde lyo; ensi mw'oli ng'omugwira ogitwale, ensi Katonda gye yasuubiza Yiburayimu.”
5
Yizaake n'amusiibula, Yakobo n'agenda mu Paddani-Aramu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwaramu mwannyina Rebekka, nnyina Yakobo ne Ezawu.
6
Ezawu n'amanya nga Yizaake awadde Yakobo omukisa n'amusindika mu Paddani-Aramu gy'aba awasa omukazi, ng'ate bwe yali amuwa omukisa yamukuutira nti: “Towasanga mukazi mu bawala Bakanaani,”
7
era nga ne Yakobo yagondedde kitaawe ne nnyina n'agenda mu Paddani-Aramu,
8
n'ategeera nti abawala Abakanaani kitaawe tebamusanyusa;
9
kwe kugenda ewa Yisimayeli n'awasaayo Makalati muwala wa Yisimayeli mutabani wa Yiburayimu mwannyina Nabayoti, nga tobaze bakazi bali be yali alina.
10
Yakobo n'ava e Beeriseba n'atambula okugenda e Karani.
11
Bwe yatuuka mu kifo ekimu, n'ayagala asule awo kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja agaali awo n'alizizika omutwe ne yeebaka.
12
N'aloota ng'alaba eddaala lisimbye ku nsi ate omutwe gwalyo nga gukutte ku ggulu; bamalayika ba Katonda nga balinnya nga bakka ku lyo.
13
Waggulu ku ddaala nga wayimiriddewo Omukama, n'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa jjajjaawo Yiburayimu era Katonda wa Yizaake. Ensi kwe weebase nzija kugikuwa n'ezzadde lyo.
14
Ezzadde lyo liriba ng'enfuufu y'ettaka; ojja kugaziwa ebugwanjuba n'ebuvanjuba, emambuka n'emaserengeta; amawanga gonna ag'ensi galiweebwa omukisa mu ggwe ne mu zzadde lyo.
15
Ndi naawe, era nzija kukukuuma yonna mu ŋŋendo zo; ndikukomyawo mu nsi eno; mazima sigenda kukwabulira, okutuusa lwe ndituukiriza byonna bye nkusuubizza.”
16
Yakobo bwe yasisimuka mu tulo, n'agamba nti: “Mazima Omukama ali mu kifo kino: nze mbadde sikimanyi.”
17
N'atya, n'agamba nti: “Ekifo kino nga kitiisa! Wano si kirala, wabula nnyumba ya Katonda, wano mulyango gwa ggulu.”
18
Yakobo bwe yazuukuka ku makya n'addira ejjinja lye yali azizise omutwe, n'alisimba ng'empagi, n'aliyiwako omuzigo ku mutwe gwalyo.
19
Ekifo ekyo n'akituuma Beteli; mu kusooka ekibuga kyayitibwanga Luzi.
20
Ne yeeyama nti: “Katonda bw'aliba abadde nange, n'amala ankuuma mu lugendo lwe neetaddemu, n'ampa emmere ey'okulya n'engoye ez'okwambala,
21
mmala nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, Omukama y'aliba Katonda wange;
22
n'ejjinja lino lye nsimbye ng'empagi, liriba nnyumba ya Katonda, byonna by'oliba ompadde ndikuwaako ekyekkumi.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50