bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 43
Genesis 43
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 44 →
1
Yo enjala n'eyinga mu nsi.
2
Emmere gye baali baggye mu Misiri bwe yaggwaawo, Yakobo n'agamba batabani be nti: “Muddeeyo mutugulireyo ku mmere.”
3
Yuda n'ayanukula nti: “Omusajja oli yatulabulira ddala nti: ‘Bwe mutaleeta muganda wammwe, temugenda kuntunula mu maaso.’
4
Bw'okkiriza okusindika muganda waffe awamu naffe, tujja kugenda tukugulire emmere;
5
naye bw'otokkiriza, tetujja kugenda, kubanga omusajja yatukomereza ng'agamba nti: ‘Okuggyako nga muganda wammwe ali nammwe, temugenda kuntunula mu maaso.’ ”
6
Yisirayeli n'abagamba nti: “Lwaki mwayagala okunzisa ennaku, ne mumubuulira nti mulinayo muganda wammwe omulala?”
7
Bo ne baanukula nti: “Omusajja yatubuuza ebitufaako n'ebifa ku b'ennyumba yaffe: ‘Kitammwe akyaliwo? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Naffe twamwanukula ebibuuzo bye nga bwe yabibuuzanga. Twandimanye tutya nti ajja kutugamba nti: ‘Muserengese wano muganda wammwe’?”
8
Yuda n'ayongera n'agamba kitaabwe Yisirayeli nti: “Omwana musindike ng'omunkwasizza nze, tugende tusobole okuwonya obulamu bwaffe, obubwo n'obw'abaana baffe.
9
Nze mmweyimiridde; nze gw'olimubuuza. Bwe sirimuzza ne mmukuddiza, onvunaananga omusango ogwo obulamu bwange bwonna.
10
Singa tetuludde, twandibadde tugenze ne tudda emirundi ebiri.”
11
Kitaabwe Yisirayeli n'abagamba nti: “Oba bwe tulina okukola, kale musse ebimu ku bibala by'ensi ebisingira ddala obulungi mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ebirabo: akatono ku masanda ag'eddagala, akatono ku mubisi gw'enjuki, ebirungo, obubaani bwa mirra, enje za pisitaaki ne ku ndoozi.
12
Ne ssente mutwale za mirundi ebiri; na ziri ze mwasanga mu nsawo muzizzeeyo, sikulwa nga kwali kuwubwa;
13
ne muganda wammwe mumutwale. Musitule mugende ew'omusajja.
14
Katonda wange Omuyinza wa buli kantu abagirire ekisa mu maaso g'omusajja, abateere muganda wammwe oli, n'ono Benyamiini. Nze oba ndi wa kufiirwa baana, ka mbafiirwe.”
15
Ne batwala ebirabo ebyo ne ssente za mirundi ebiri ne Benyamiini, ne basitula ne baserengeta e Misiri; ne beeyanjula mu maaso ga Yozefu.
16
Bwe yabalaba Benyamiini ng'ali nabo, n'alagira omuwanika w'ennyumba ye nti: “Abasajja batwale mu nnyumba ewange, tta ensolo, oteeketeeke ekijjulo, kubanga mu ttuntu bajja kulya nange.”
17
Omusajja naye n'akola nga bwe baamulagira, n'atwala abasajja mu nnyumba ewa Yozefu.
18
Ne batya okutwalibwa mu nnyumba ewa Yozefu, ne bagambagana nti: “Oba lwa ssente ezazzibwa mu nsawo zaffe mu kusooka, kyetuvudde tuleetebwa wano. Ayagala atuvumbagire, atukwate lwa maanyi, atufuule baddu n'endogoyi zaffe azitwale.”
19
Kwe kusemberera omuwanika w'ennyumba ne boogera naye awo ku mulyango gw'enju,
20
ne bamugamba nti: “Ssebo, twajjako dda eno mu kusooka okugula emmere.
21
Naye bwe twatuuka ku mugiini, ne tusumulula ensawo zaffe, buli omu n'asangamu ssente ze, mu muwendo gwazo ddala. Kati tuzikomezzaawo.
22
Naye tuleese n'endala tugule emmere. Tetumanyi ani yateeka ssente mu nsawo zaffe.”
23
Ye n'ayanukula nti: “Mubeere mirembe; muleke kutya. Katonda wammwe, Katonda wa kitammwe ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe; kubanga ssente zammwe zantuukako bulungi.” N'aggyayo Simewoni n'amubaleetera.
24
Omuwanika n'abayingiza mu nnyumba ya Yozefu, n'abawa amazzi okunaaba ebigere, n'endogoyi zaabwe n'aziwa essubi.
25
Bo ne bategeka ebirabo, ne balinda okutuusa Yozefu w'anaatuukira mu ttuntu, anti baali bawulidde nti ba kuliira eyo.
26
Yozefu bwe yadda eka, bo ne bamuleetera ebirabo bye baali baleese mu nnyumba, ne bavunnama nga beeyaze ku ttaka.
27
N'abalamusa na kisa, n'ababuuza nti: “Kitammwe omukadde gwe mwambuulirako akyali mulamu? Akyali mulamu?”
28
Ne baanukula nti: “Omuweereza wo kitaffe ali bulungi, akyali mulamu.” Ne bavunnama ne basinza.
29
Yozefu bwe yasitula amaaso, n'alaba Benyamiini muganda we, nnyina bw'abazaala, n'agamba nti: “Ono ye muganda wammwe omuto gwe mwambuulirako?” N'agamba nti: “Katonda akugirire ekisa, mwana wange.”
30
N'atera n'abaviira, kubanga omutima gwali gumwefuukudde olwa muganda we, n'anoonya aw'okukaabira; n'agenda mu kisenge, n'akaabira eyo.
31
Bwe yamala okunaaba mu maaso, n'avaayo mu kisenge, ne yeefuga, n'agamba nti: “Musoosootole.”
32
Ye ne bamubegerako yekka, ne baganda be ne bababegerako bokka, ate n'Abamisiri abaali ku lujjuliro nabo ne bababegerako bokka, anti Abamisiri benyinyala okulya n'Abeebureeyi.
33
Baali babatuuzizza mu maaso ge nga bwe bagenda baddiriŋŋanwako, nga basooka n'omuggulanda mu bukulu bwe okutuuka ku muto asembayo obuto. Baali mu kuwuniikirira nga buli omu atunula butunuzi ku munne.
34
Yozefu n'abaddizaayo ebibego okuva ku mmeeza ye, naye ekibego kya Benyamiini nga kisinga ekya buli omu ku bali emirundi etaano. Ne balya ne banywa, ne basanyuka wamu naye.
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50