bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 26
Genesis 26
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 27 →
1
Enjala yagwa mu nsi, eyookubiri okuva ku eyo eyagwa mu biseera bya Yiburayimu. Yizaake n'agenda ewa Abimeleki kabaka w'Abafilisitiini e Gerari.
2
Omukama n'amulabikira n'agamba nti: “Toserengeta Misiri, sigala mu nsi gye nnaakugamba.
3
Beerayo akabanga; nzija kubeera naawe, nzija kukuwa n'omukisa, kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa ebitundu by'ensi bino byonna, ntuukirize ekirayiro kye nalayirira Yiburayimu kitaawo.
4
Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale okwenkana emmunyeenye z'eggulu, ne bazzukulu bo ndibawa ebitundu bino byonna, n'amawanga gonna ag'ensi mu zzadde lyo galiweebwa omukisa,
5
kubanga Yiburayimu yagondera eddoboozi lyange n'akwata bye namukuutira, n'ebiragiro byange, empisa zange n'amateeka gange.”
6
Bw'atyo Yizaake n'asigala mu Gerari.
7
Abasajja b'eyo bwe baamubuuza ku mukazi we, yayanukula nti: “Mwannyinaze.” Kubanga yali atidde okwatula nti: “Mukazi wange,” ng'alowooza nti: “Bayinza okunzita olwa mukazi wange kubanga mulungi mu ndabika.”
8
Ebbanga ng'amazeeyo eriwera, olumu Abimeleki kabaka w'Abafilisitiini aba atunudde ebweru wansi ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Yizaake ng'azanyiikiriza Rebekka mukazi we.
9
N'atumya Yizaake n'amugamba nti: “Ono kituufu mukazi wo. Lwaki wagamba nti: ‘Ono mwannyinaze’?” Yizaake n'amugamba nti: “Kuba nalowooza nti nnyinza okufa olw'okubeera ye.”
10
Abimeleki n'amugamba nti: “Kiki kino ky'otukoze? Omu mu bantu bange yandisobodde okwebaka ne mukazi wo n'otuleetera okugwa mu nsobi.” N'alagira abantu bonna nti:
11
“Oli alikola akantu ku muntu ono, oba ku mukazi we, wa kuttibwa.”
12
Yizaake n'asiga mu ttaka eryo; mu mwaka ogwo n'abaza emirundi kikumi, kubanga Omukama yali amuwadde omukisa.
13
N'agaggawala, n'agenda nga yeeyongera obugagga, okutuusa lwe yafuuka omugagga ennyo,
14
n'afuna amagana g'endiga, n'amagana g'ente n'omwandu gw'abaweereza munene. Abafilisitiini ne bamukwatirwa obuggya.
15
Awo enzizi zonna abaweereza ba kitaawe ze baali basimye mu budde bwa Yiburayimu Abafilisitiini ne baziziba nga bajjuzaamu ettaka.
16
Ne Abimeleki n'agamba Yizaake nti: “Tuviire, kubanga otusukkiridde nnyo amaanyi.”
17
Ne Yizaake n'ava awo, n'asiisira mu kiwonvu ky'e Gerari, n'asenga eyo.
18
Yizaake n'azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu budde bwa kitaawe Yiburayimu, Abafilisitiini ze baali bazibye nga kitaawe amaze okufa, n'aziyita amannya ge gamu kitaawe ge yali azituumye.
19
Abaweereza ba Yizaake ne basima mu kiwonvu ne basanga oluzzi olw'ensulo.
20
Naye abalunzi b'e Gerari ne bayombagana n'abalunzi ba Yizaake nga bagamba nti: “Amazzi gaffe.” Oluzzi kyeyava alutuuma Eseki, kubanga baamuyombesa.
21
Ne basima n'oluzzi olulala era nalwo ne baluyomberako, n'alutuuma Situna.
22
N'ava awo, n'asima oluzzi olulala, olwo tebaaluyomberako; n'alutuuma Rekoboti, ng'agamba nti: “Kati Omukama atuwadde okwegaziya, kati tujja kweyongera mu nsi.”
23
N'ava mu kifo ekyo n'ayambuka e Beeriseba.
24
Eyo Omukama gye yamulabikira mu kiro ekyo kyennyini ng'agamba nti: “Nze Katonda wa Yiburayimu kitaawo; totya, kubanga ndi naawe. Ndikuwa omukisa, n'ezzadde lyo ne ndyongera omuwendo olw'okubeera omuweereza wange Yiburayimu.”
25
N'azimbayo eyo omwaliiro, n'akoowoola erinnya ly'Omukama, n'asimba awo weema; abaweereza be ne basimawo oluzzi.
26
Abimeleki n'ava e Gerari n'ajja gy'ali ne Akuzzati omuwi we ow'amagezi, ne Fikoli omukulu w'eggye lye.
27
Yizaake n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi sso nga mwankyawa n'okungoba ne mungoba?”
28
Ne baanukula nti: “Tulabye ng'Omukama ali naawe, kyetuvudde tugamba nti: ‘Wabeerewo ekirayiro mu ffe, wakati waffe naawe, tukole endagaano
29
nti tolitukola kabi nga naffe bwe twakuyisa obulungi; twakusiibula mu ddembe, era kati Omukama akuwadde omukisa.’ ”
30
N'abafumbira embaga, ne balya, ne banywa.
31
Bwe baazuukuka ku makya buli omu n'alayirira munne. Awo Yizaake n'abasiibula, ne bamuvaako mirembe.
32
Ku lunaku olwo lwennyini abaweereza ba Yizaake ne bajja ne bamubuulira eby'oluzzi lwe baali basimye nga bagamba nti: “Tuzudde amazzi.”
33
Oluzzi n'alutuuma Siba, n'ekibuga ne kiyitibwa Beeriseba n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
34
Ezawu yali aweza emyaka amakumi ana n'awasa Yudita, muwala wa Beeri Omukitti, ne Basimati, muwala wa Eloni Omukitti.
35
Bombi baaleetera Yizaake ne Rebekka ennyiike.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50