bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 31
Genesis 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 32 →
1
Yakobo n'awulira nga batabani ba Labani beemulugunya nti: “Yakobo atutte ebya kitaffe byonna, era ku bya kitaffe kw'afunidde obugagga buno.”
2
Era n'alaba nga Labani takyamwagala nga bwe yamwagalanga mu kusooka.
3
Omukama n'agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo ne mu b'eŋŋanda zo; nzija kubeera naawe.”
4
Yakobo n'atumya Rakeli ne Leya bajje ku ttale gye yali n'amagana ge
5
n'abagamba nti: “Ndaba kitammwe takyanjagala nga bwe yanjagalanga mu kusooka. Kyokka Katonda wa kitange abadde nange.
6
Nammwe mumanyi nga kitammwe namuweereza n'amaanyi gange gonna,
7
kyokka kitammwe yandyakula empeera yange n'agiwaanyisa emirundi kkumi; kyokka Katonda teyamuleka kunkolera bubi.
8
Bwe yagambanga nti: ‘Eza bijjagijjagi, y'eneeba empeera yo,’ endiga zonna zaazaalanga za bijjagijjagi. Ate bwe yakyusanga n'agamba nti: ‘Zonna ez'ebiba y'eneeba empeera yo,’ eggana lyonna lyazaalanga za biba.
9
Bw'atyo Katonda yaddira ebintu bya kitammwe n'abimpa.
10
Obudde obw'okuwaka bwe bwatuuka, nali mu kirooto ne nsitula amaaso ne ndaba ng'embuzi ennume ezirinnyira eggana za biba, za bujjagijjagi, na za bitanga.
11
Mu kirooto malayika wa Katonda n'ampita nti: ‘Yakobo.’ Nze ne mmwanukula nti: ‘Nzuuno.’
12
N'agamba nti: ‘Yimusa amaaso, laba embuzi ennume zonna ezirinnyira eggana za biba, za bujjagijjagi, na za bitanga. Nalaba byonna Labani bye yakukola.
13
Nze Katonda w'e Beteli gye wasiigira ejjinja omuzigo, ne weeyama n'okweyama gye ndi. Kale nno situka, vva mu nsi eno, odde mu nsi ey'obuzaale bwo.’ ”
14
Rakeli ne Leya ne baanukula nti: “Ate tukyalina obusika mu by'obugagga bwa kitaffe?
15
Tatubala ng'abagwira? Yatutunda, n'ebintu ebyatusalwako yabirya dda.
16
Obugagga bwonna Katonda bwe yaggya ku kitaffe bwali bwaffe ne batabani baffe; awo nno kola byonna Katonda by'akulagidde.”
17
Yakobo n'asitukiramu, n'assa abaana be ne bakazi be ku ŋŋamiya.
18
N'agoba amagana ge gonna, n'atwala na byonna bye yali afunidde e Paddani-Aramu, n'alaga eri Yizaake kitaawe mu nsi Kanaani.
19
Mu budde obwo Labani yali agenze kumwa ndiga byoya, Rakeli n'abba bulubaale bwa kitaawe.
20
Ne Yakobo yalimba Labani Omwaramu obutamumanyisa ng'agenda.
21
Yadduka na byonna bye yali afunye, n'asomoka Omugga n'alaga mu nsozi ze Gileyaadi.
22
Nga wayise ennaku ssatu ne babuulira Labani nti Yakobo yadduka.
23
N'addira baganda be n'amuwondera okumala ennaku musanvu, n'amukwatira mu nsozi ze Gileyaadi.
24
Katonda n'ajja eri Labani Omwaramu ekiro mu kirooto n'amugamba nti: “Wekkaanye, Yakobo tomuwuunako kigambo, kibeere kirungi oba kibi.”
25
Labani bwe yawondera Yakobo ng'ali wamu ne baganda be, Yakobo yali amaze okusimba weema ye mu nsozi z'e Gileyaadi, ne Labani n'asimba eyiye mu nsozi, mu kitundu ekyo kyennyini.
26
Labani n'agamba Yakobo nti: “Lwaki wakola otyo n'onnimbalimba, n'otwala bawala bange ng'omunyago gw'olutalo?
27
Lwaki wabomba, n'onkisa, n'otombuulira? Nandikusiibudde mu ssanyu, mu nnyimba, n'obugoma, n'ennanga.
28
Tewandeka kunywegera bazzukulu bange na bawala bange. Wakola kya busiru.
29
Nsobola okukukola akabi, naye jjo ekiro Katonda wa jjajjaawo yaŋŋambye nti: ‘Wekkaanye, Yakobo tomuwuunako kigambo, kibeere kirungi oba kibi.’
30
Kale okugenda wagenda kubanga weegomba okudda ewa kitaawo, naye lwaki wabba balubaale bange?”
31
Yakobo n'ayanukula nti: “Natya nga ndowooza nti: ojja kunnyagako bawala bo.
32
Oyo gw'onoosanga ne balubaale bo wa kufa. Fuuza nga ne baganda baffe balaba, buli ekikyo kyonna ky'onoosanga, twala butwazi.” Yakobo yali tamanyi nga Rakeli ye yali abbye bulubaale. Labani n'ayingira weema za Yakobo n'eya Leya n'ey'abaweereza bombi, teyazuula kantu.
33
Bwe yafuluma weema ya Leya n'ayingira mu weema ya Rakeli.
34
Naye Rakeli yali bulubaale abuggyeyo ng'abukwese mu kitebe ky'eŋŋamiya, ng'abutuddeko. Labani yanoonya wonna mu weema naye teyazuula kantu.
35
Rakeli n'amugamba nti: “Mukama wange aleme kunsunguwalira olw'obutasobola kuyimirira ng'oli wano, kubanga ndi mu biseera by'abakazi.” Yanoonya, naye bulubaale teyabulaba.
36
Yakobo n'asunguwala, n'ayombesa Labani nti: “Ensobi yange ye eriwa? Kibi ki kye nakola olyoke ompondere?
37
Ofuuzizza ebyange byonna, oliko ekikyo kyonna eky'omu nnyumba yo ky'osanzeemu? Kiggyeeyo okisse wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo batusalirewo ffembi.
38
Mmaze naawe emyaka amakumi abiri, endiga zo n'embuzi zo tewabanga esowola. Era ku ndiga ennume ez'omu kisibo kyo siryangako.
39
Sikuleeterangayo n'emu nsolo gy'ekutte; nze nafiirizibwanga. Wansabanga okuliwa buli kyonna ekyabbibwanga emisana oba ekiro.
40
Emisana, ebbugumu nga libula kunzita; ekiro, obutiti; otulo ne tunzigwa mu maaso.
41
Bwe ntyo bwe nakuweereza mu nnyumba yo emyaka amakumi abiri. Ekkumi n'ena, lwa bawala bo, ate omukaaga nga nnunda magana go; empeera yange wagiwaanyisa emirundi kkumi.
42
Singa Katonda wa Kitange, Katonda wa Yiburayimu, Entiisa ya Yizaake, teyannyamba, wandinsiibudde ngalo nsa. Jjo ekiro Katonda yalaba ennaku yange n'omulimu gw'emikono gyange, n'asala omusango.”
43
Labani n'amwanukula nti: “Abakazi, bawala bange, abaana, baana bange, amagana, magana gange, na byonna by'olaba byange; Naye nkyayinza kukola ki ku bawala bange ne ku batabani baabwe be bazadde?
44
Nze naawe gira tukole bukozi ndagaano, ebeere ng'obujulizi wakati wange naawe.”
45
Yakobo n'addira ejjinja n'alisimba ng'empagi;
46
n'agamba baganda be nti: “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne bagakuŋŋaanya, ne bakola entuumu y'amayinja, ne baliira kumpi nayo.
47
Labani yagituuma Yegari-Sawaduta, ye Yakobo n'agituuma Galeedi.
48
Labani n'agamba nti entuumu y'amayinja eno ebeere bujulizi wakati waffe olwa leero. Kyeyava agituuma Galeedi,
49
era n'agituuma Mizupa ng'agamba nti: “Omukama akette wakati wange naawe bwe tuliba nga buli omu yeesudde munne.
50
Bw'oliba obonyaabonyezza bawala bange, bw'oliba oleese abakazi abalala n'obabagattako, ne bwe wataliba muntu ali naffe, laba, Katonda ye mujulirwa wakati waffe.”
51
Labani n'agamba Yakobo nti: “Entuumu y'amayinja yiino n'ejjinja liirino, lye ntaddewo wakati wange naawe.
52
Entuumu y'amayinja eno n'ejjinja be bajulirwa okukakasa nti nze siribuuka ntuumu eno kujja gy'oli, naawe tolibuuka ntuumu y'amayinja eno na jjinja lino kujja kunkola kabi.
53
Katonda wa Yiburayimu ne Katonda wa Nakori batusalirewo.” Yakobo n'alayira mu linnya ly'Entiisa ya kitaawe Yizaake.
54
Yakobo n'aweereza ebitambiro ku lusozi, n'ayita baganda be ne balya. Bwe baamala okulya, ekiro ne bakimala mu lusozi.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50