bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Genesis 38
Genesis 38
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 39 →
1
Mu budde obwo Yuda n'aleka baganda be n'aserengeta, n'agenda abeera ew'omusajja Omwadullamu ayitibwa Kira.
2
Eyo Yuda yalabayo omuwala, muwala wa Suwa Omukanaani, n'amuwasa, ne yeebaka naye.
3
Yabeera olubuto n'azaala omwana wa bulenzi n'amutuuma Eri.
4
Yaddamu n'aba olubuto, n'azaala era omwana mulenzi, n'amutuuma Onani.
5
Yayongera n'azaala omulenzi omulala, n'amutuuma Sela. We yamuzaalira, Yuda yali abeera Kezibu.
6
Yuda yafunira Eri, omuggulanda we, omukazi erinnya lye Tamari.
7
Naye Eri omuggulanda wa Yuda yali mubi mu maaso ga Katonda, Katonda n'amutta.
8
Yuda kwe kugamba Onani nti: “Weebake ne muka muganda wo otuukirize obuvunaanyizibwa gy'ali obw'okusitusiza muganda wo ezzadde.”
9
Naye Onani bwe yamanya nti ezzadde teriibe lirye, bwe yeebakanga ne mulamu we, amazzi ng'agayiwa ku ttaka, aleme kufunira muganda we mwana.
10
Kye yakola kyali kibi mu maaso g'Omukama, Omukama naye n'amutta.
11
Olw'okubeera ekyo, Yuda yagamba Tamari mukaamwana nti: “Genda omalire obwannamwandu mu nnyumba ya kitaawo okutuusa mutabani wange Sela lw'anaakula.” Kubanga yali atya nti: “Sikulwa nga naye afa nga baganda be.” Ne Tamari n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
12
Ebbanga nga liyiseewo ddene, muwala wa Suwa, muka Yuda, n'afa. Ennaku ez'okukubagizibwa bwe zaggwa, Yuda n'ayambuka e Timuna ne mukwano gwe Kira Omwadullamu okulaba abamwa endiga ebyoya.
13
Tamari bwe baamubuulira nti: “Ssezaala wo wuuyo ayambuka e Timuna okumwa endiga ebyoya,”
14
n'ayambulamu eby'obwannamwandu, ne yeebikka ekiremba okwefuulafuula, n'atuula ku mulyango oguyingira mu Enayimu ku kkubo erigenda e Timuna, kubanga yalaba nga Sela yali akuze naye nga tamumuweereddwa nga mukazi we.
15
Yuda bwe yamulaba, n'ateebereza nti mukazi malaaya, kubanga yali yeebisse mu maaso.
16
N'akyama we yali ku kkubo n'amugamba nti: “Owange, gira neebakako naawe.” Yali tamanyi nti ye mukaamwana. Ye n'amwanukula nti: “Okwebaka naawe onompa ki?”
17
N'agamba nti: “Nzija kukuweereza akabuzi okuva mu ggana lyange.” Tamari n'amubuuza nti: “Musingo ki gw'onondekera okutuusa ng'oguweerezza?”
18
Yuda n'agamba nti: “Kiki ky'oyagala nkuwe ng'omusingo?” N'ayanukula nti: “Empeta y'akabonero ko, ko ekimyu kyo, n'omuggo gw'okutte mu ngalo.” N'abimuwa. Ne yeebaka naye, omukazi n'aba olubuto lwe.
19
N'asituka n'agenda, n'aggyako ekiremba, n'addamu n'ayambala eby'obwannamwandu.
20
Yuda n'amuweereza akabuzi ng'atuma mukwano gwe Omwadullamu, aggye ku mukazi omusingo gwe, kyokka n'amubulwa.
21
N'abuuza abantu b'omu kifo ekyo nti: “Omuzaana w'omu kiggwa eyabadde atudde ku kkubo Enayimu ali ludda wa?” Ne baanukula nti: “Mu kifo kino temunnabaamu muzaana wa mu kiggwa.”
22
N'addayo eri Yuda n'amugamba nti: “Simusanzeeyo. N'abantu ab'omu kifo ekyo baŋŋambye nti: ‘Eyo tewatuulangayo muzaana wa mu kiggwa.’ ”
23
Yuda n'agamba nti: “Kale asigaze by'alina, sikulwa nga tufuuka eky'okusekerera. Kasita mmuweerezza akabuzi kano, newandibadde nga ggwe tomusanzeeyo.”
24
Nga wayise emyezi esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamari mukaamwana yakola obwamalaaya era wuuno ali lubuto.” Yuda n'agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe omuliro.”
25
Bwe baali bamufulumya, n'atumya ewa ssezaala we ng'agamba nti: “Ndi lubuto lw'oyo nnannyini bintu bino. Weetegereze olabe oba oyinza okumanya nnannyini mpeta eno, n'ekimyu n'omuggo.”
26
N'abitegeera n'agamba nti: “Mutuufu okunsinga, kubanga samuwaayo eri Sela mutabani wange.” Kyokka teyaddayo kwebaka naye.
27
Okuzaala kwali kunaatera, n'asangibwa ng'alina abalongo mu lubuto.
28
Mu kuzaalibwa omwana omu n'afulumya omukono, omuzaalisa n'asibako wuzi entwakaavu ng'agamba nti: “Ono y'asoose okufuluma.”
29
Naye n'azzaayo omukono, ate muganda we n'afuluma; omuzaalisa n'agamba nti: “Bw'otyo bw'owagaanyizza n'owaguza?” Olw'okubeera ekyo n'ayitibwa Perezi.
30
Oluvannyuma muganda we n'afuluma eyalina wuzi entwakaavu ku mukono; ye n'ayitibwa Zeraki.
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50